Kaabakuuku
Nja kutunula ndabe ky’anaayogera ng’ayitira mu nze,
Era ne kye nnaddamu nga nnenyezebwa.
2 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti:
“Wandiika by’olaba mu kwolesebwa, era biwandiike bulungi ku bipande,+
Oyo abisoma mu ddoboozi ery’omwanguka asobole okwanguyirwa okubisoma.*+
3 Kubanga okwolesebwa okwo kwa mu kiseera kyakwo ekigereke,
Era kwanguwa kutuuke ku nkomerero yaakwo;* era tekujja kulimba.
Ne bwe kunaalwa, kulindirire!*+
Kubanga kujja kutuukirira.
Tekujja kulwa!
4 Laba omuntu ow’amalala;
Munda mu ye si mugolokofu.
Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa bwesigwa bwe.*+
5 Olw’okuba omwenge mukuusa,
Omuntu ow’amalala tajja kutuuka ku kiruubirirwa kye.
Agaziyizza okwegomba kwe okukirako amagombe;*
Alinga okufa, era tasobola kumatira.
Akuŋŋaanya amawanga gonna
Era yeekuŋŋaanyiza abantu bonna.+
6 Abo bonna tebalimwogerako nga bagereesa, nga bamuyita ebbali, era nga bakozesa ebikokyo?+
Baligamba nti:
‘Zimusanze oyo akuŋŋaanya ebitali bibye
—Anaakikolera bbanga ki?—
Oyo ayongera ku bunene bw’ebbanja lye!
7 Abo abakubanja tebalisituka omulundi gumu?
Balisituka ne bakuyuuguumya,
Era gye bali olifuuka kya kunyaga.+
8 Olw’okuba wanyaga amawanga mangi,
Abantu b’amawanga ago bonna abaasigalawo balikunyaga,+
Kubanga wayiwa omusaayi gw’abantu
Era n’okola eby’obukambwe ku nsi,
Ne ku bibuga, ne ku abo bonna ababibeeramu.+
9 Zimusanze oyo afunira ennyumba ye ebintu mu makubo amakyamu,
Asobole okuzimba ekisu kye waggulu,
Awone akabi!
10 Oteeserezza ennyumba yo ekintu ekiswaza.
Mu kusaanyaawo amawanga mangi, oyonoonye.+
11 Ejjinja lirikoowoolera ku kisenge,
Era omuti ogw’oku kasolya guliryanukula.
12 Zimusanze oyo azimba ekibuga ng’ayiwa omusaayi,
Era anyweza ekibuga ng’akola ebitali bya butuukirivu!
13 Laba! Yakuwa ow’eggye si y’aleetera amawanga okutegana ennyo nga bakola ebintu ebijja okwokebwa omuliro,
Era si y’aleetera amawanga okuteganira obwereere?+
15 Zimusanze oyo awa banne eky’okunywa
Ng’akitaddemu obusungu n’ekiruyi asobole okubatamiiza,
Atunuulire obwereere bwabwe!
16 Mu kifo ky’okubeera n’ekitiibwa, oliweebuulwa nnyo nnyini ddala.
Naawe olinywa n’oyolesa obutali bukomole bwo.*
Ekikopo ekiri mu mukono gwa Yakuwa ogwa ddyo naawe kirikutuukako,+
Era obuswavu bulibikka ku kitiibwa kyo;
17 Ebikolwa eby’obukambwe ebyakolebwa ku Lebanooni birikubikka,
Era okuzikiriza okwatiisanga ensolo kulikutuukako,
Olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu,
N’olw’ebikolwa eby’obukambwe bye wakola ku nsi,
Ku bibuga, ne ku abo bonna ababibeeramu.+
18 Ekifaananyi kiba na mugaso ki
Ng’omukozi waakyo akikoze?
Ekifaananyi eky’ekyuma* kigasa ki, era n’oyo ayigiriza eby’obulimba agasa ki,
Wadde ng’omukozi waakyo akyesiga,
N’akola bakatonda abatalina mugaso era abatayogera?+
19 Zimusanze oyo agamba ekiti nti, “Golokoka!”
Oba agamba ejjinja eritayogera nti, “Zuukuka! Tuyigirize!”
20 Naye Yakuwa ali mu yeekaalu ye entukuvu.+
Ggwe ensi yonna, sirika mu maaso ge!’”+