Ebikolwa
15 Awo abantu abamu ne bava e Buyudaaya ne batandika okugamba ab’oluganda nti: “Temuyinza kulokolebwa okuggyako nga mukomoleddwa ng’Amateeka ga Musa+ bwe galagira.” 2 Naye bwe waabaawo obutakkaanya n’okuwakana okw’amaanyi wakati waabwe ne Pawulo ne Balunabba, enteekateeka ne zikolebwa ne batuma Pawulo ne Balunabba n’abalala eri abatume n’abakadde e Yerusaalemi+ babategeeze ku nsonga eno.*
3 Ab’oluganda mu kibiina bwe baamala okubawerekerako katono, abasajja abo ne beeyongerayo ne bayita mu Foyiniikiya ne mu Samaliya, nga bategeeza ab’oluganda ng’ab’amawanga bwe baali bakyuka okudda eri Katonda, era kino ne kisanyusa nnyo ab’oluganda. 4 Bwe baatuuka mu Yerusaalemi, ekibiina, n’abatume n’abakadde ne babaaniriza n’essanyu, Pawulo ne Balunabba ne babategeeza ebintu bingi Katonda bye yali akoze okuyitira mu bo. 5 Naye abamu ku abo abaali mu kabiina k’Abafalisaayo abaali bafuuse abakkiriza ne basituka ne bagamba nti: “Ab’amawanga abakkiriza kyetaagisa okubakomola n’okubalagira okukwata Amateeka ga Musa.”+
6 Abatume n’abakadde ne bakuŋŋaana wamu okwekenneenya ensonga eyo. 7 Bwe baamala okukubaganya ebirowoozo,* Peetero n’ayimuka n’abagamba nti: “Ab’oluganda, mukimanyi bulungi nti mu nnaku ezaayita Katonda yannonda mu mmwe, ab’amawanga basobole okuwulira amawulire amalungi, bakkirize.+ 8 Ate era Katonda amanyi emitima+ yawa obukakafu obulaga nti abasiima ng’abawa omwoyo omutukuvu+ nga naffe bwe yagutuwa. 9 Teyayawulawo wakati waffe nabo,+ naye yatukuza emitima gyabwe olw’okukkiriza kwabwe.+ 10 Kale, lwaki kati mugezesa Katonda nga mutikka abayigirizwa omugugu omuzito+ bajjajjaffe gwe bataasobola kwetikka era naffe gwe tutayinza kwetikka?+ 11 Ng’oggyeeko ekyo, tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu,+ era nabo ekyo kye bakkiriza.”+
12 Awo bonna ne basirika, ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza obubonero obungi n’ebyamagero Katonda bye yali akoze mu b’amawanga okuyitira mu bo. 13 Bwe baamala okwogera, Yakobo n’agamba nti: “Ab’oluganda, mumpulirize. 14 Simiyoni+ annyonnyodde bulungi engeri Katonda gye yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.+ 15 Ekyo kikwatagana n’ebigambo bya Bannabbi nga bwe kyawandiikibwa nti: 16 ‘Oluvannyuma lw’ebintu bino, ndidda ne nziramu okuyimusa weema* ya Dawudi eyagwa; ndiddamu okuzimba ebyayo ebyamenyekamenyeka era ne njizzaawo, 17 abantu abasigalawo basobole okunoonya Yakuwa,* awamu n’ab’amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange, bw’ayogera Yakuwa* akola ebintu bino+ 18 ebyamanyibwa okuva edda n’edda.’+ 19 N’olwekyo, nze ŋŋamba* nti tuleme okukaluubiriza ab’amawanga abakyuka okudda eri Katonda,+ 20 naye tubawandiikire tubagambe okwewala ebintu ebyonooneddwa olw’okukozesebwa mu kusinza ebifaananyi,+ ebikolwa eby’obugwenyufu,*+ ebitugiddwa,* n’omusaayi.+ 21 Okuva edda n’edda, mu buli kibuga mubaddengamu ababuulira ebiri mu bitabo bya Musa, kubanga buli ssabbiiti bibaddenga bisomebwa+ mu makuŋŋaaniro mu ddoboozi eriwulikika obulungi.”
22 Awo abatume n’abakadde, awamu n’ekibiina kyonna, ne basalawo okwerondamu abasajja babatume mu Antiyokiya awamu ne Pawulo ne Balunabba; baatuma Yuda ayitibwa Balusabba ne Siira,+ abasajja abaali batwala obukulembeze mu b’oluganda. 23 Baawandiika ebbaluwa eno ne bagiweereza okuyitira mu bo:
“Ffe baganda bammwe abatume n’abakadde, tubalamusa mmwe baganda baffe ab’amawanga abali mu Antiyokiya,+ Busuuli, ne Kirikiya. 24 Okuva bwe tuwulidde nti waliwo abamu abaava eno mu ffe ababateganya olw’ebyo bye boogera,+ nga bagezaako okubatabulatabula wadde nga tetubalagiranga, 25 tukkiriziganyizza ffenna era tusazeewo okulonda abasajja tubatume gye muli nga bali wamu ne Balunabba ne Pawulo abaagalwa, 26 abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.+ 27 N’olw’ekyo tubatumira Yuda ne Siira, nabo bababuulire ebiri mu bbaluwa eno.+ 28 Kubanga omwoyo omutukuvu naffe,+ tusazeewo obutayongera kubatikka mugugu mulala, okuggyako ebintu bino ebyetaagisa: 29 okwewalanga ebintu ebiweereddwayo eri ebifaananyi,+ omusaayi,+ ebitugiddwa,*+ n’ebikolwa eby’obugwenyufu.*+ Bwe muneewalanga ebintu ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba!”
30 Abasajja abo bwe baamala okubasiibula, ne bagenda mu Antiyokiya ne bakuŋŋaanya abayigirizwa bonna ne babakwasa ebbaluwa. 31 Bwe baamala okugisoma, ne basanyuka olw’ebigambo ebizzaamu amaanyi ebyagirimu. 32 Olw’okuba Yuda ne Siira nabo baali bannabbi, baayogera eri ab’oluganda emirundi mingi ne babazzaamu amaanyi era ne babagumya.+ 33 Nga wayiseewo ekiseera nga Yuda ne Siira bali eyo, ab’oluganda baabasiibula ne babaagaliza olugendo olulungi ne baddayo eri abaabatuma. 34 *— 35 Naye Pawulo ne Balunabba ne basigala mu Antiyokiya nga bayigiriza, era nga babuulira awamu n’abalala bangi amawulire amalungi ag’ekigambo kya Yakuwa.*
36 Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n’agamba Balunabba nti: “Kati* ka tuddeyo tukyalire ab’oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Yakuwa,* tulabe bwe bali.”+ 37 Balunabba yali amaliridde okutwala Yokaana eyali ayitibwa Makko,+ 38 naye Pawulo yalaba nga tekisaana kugenda naye, kubanga yali abalese e Panfuliya n’atagenda nabo kukola mulimu.+ 39 Awo ne wabaawo oluyombo olw’amaanyi wakati waabwe, ne baawukana, Balunabba+ n’atwala Makko ne basaabala ne bagenda e Kupulo. 40 Pawulo n’alonda Siira n’agenda naye oluvannyuma lw’ab’oluganda okusaba Yakuwa* alage Pawulo ekisa kye eky’ensusso.+ 41 Awo n’ayita mu Busuuli ne mu Kirikiya ng’agenda azzaamu ebibiina amaanyi.