1 Abakkolinso
8 Ku bikwata ku by’okulya ebiweereddwayo eri ebifaananyi,+ ffenna tumanyi ebikwata ku nsonga eno.+ Okumanya kuleetera omuntu okwegulumiza naye kwo okwagala kuzimba.+ 2 Omuntu yenna bw’alowooza nti amanyi ekintu, aba takimanyidde ddala nga bw’asaanidde okukimanya. 3 Naye omuntu yenna bw’aba ng’ayagala Katonda, Katonda aba amanyi omuntu oyo.
4 Ku bikwata ku by’okulya ebiweereddwayo eri ebifaananyi, tukimanyi nti ekifaananyi tekirina mugaso+ mu nsi, era waliwo Katonda omu yekka.+ 5 Wadde nga waliwo abo abayitibwa “bakatonda,” oba mu ggulu, oba ku nsi,+ nga bwe waliwo “bakatonda” abangi ne “bamukama” bangi, 6 gye tuli waliwo Katonda omu+ Kitaffe,+ omuva ebintu byonna, era naffe tuliwo ku bubwe;+ era waliwo Mukama waffe omu, Yesu Kristo, okuyitira mu ye, ebintu byonna byatondebwa era+ naffe twatondebwa.
7 Naye bonna ebyo tebabimanyi.+ Olw’okuba abamu baasinzanga ebifaananyi, bwe balya emmere bagitwala ng’eweereddwayo eri ebifaananyi,+ era olw’okuba omuntu waabwe ow’omunda munafu, ayonoonebwa.+ 8 Naye eby’okulya si bye bituleetera okusiimibwa Katonda;+ bwe tutalya tetulina kye tufiirwa, ne bwe tulya tetulina kye twongerwako.+ 9 Naye mwegendereze, eddembe lye mulina lireme kufuuka kyesittaza eri abanafu.+ 10 Singa omuntu alaba nga ggwe amanyi oliira emmere mu yeekaalu y’ebifaananyi, omuntu we ow’omunda omunafu taamuleetere kulya mmere eweereddwayo eri ebifaananyi? 11 Mazima ddala, muganda wo oyo omunafu Kristo gwe yafiirira azikirira olw’okumanya kwo.+ 12 Naye bwe mukola ekibi ku baganda bammwe, ne mulumya omuntu waabwe ow’omunda omunafu,+ muba mwonoona eri Kristo. 13 N’olwekyo, eky’okulya bwe kiba kyesittaza muganda wange, sijja kuddamu kulya nnyama nneme kwesittaza muganda wange.+