Mikka
Temusaanidde kumanya bwenkanya?
2 Naye mukyawa ebirungi+ ne mwagala ebibi;+
Muyuza eddiba ku bantu bange n’ennyama ku magumba gaabwe.+
3 Era mulya ennyama y’abantu bange,+
Ne mubabaagako eddiba lyabwe,
Ne mumenyaamenya amagumba gaabwe, ne mugabetenta+
Ne gaba ng’ebifumbibwa mu ntamu,* era ng’ennyama eri mu nsaka.
4 Mu kiseera ekyo mulikoowoola Yakuwa abayambe,
Naye talibaddamu.
5 Bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bannabbi abakyamya abantu bange,+
Abalangirira nti ‘Mirembe!’+ ng’eno bwe baluma* n’amannyo gaabwe+
Ate ne balangirira olutalo ku oyo atassa kintu mu kamwa kaabwe:
Eri bannabbi enjuba erigwa,
Era obudde obw’emisana bulibafuukira kizikiza.+
Bonna balibikka ku mimwa gyabwe,*
Olw’okuba Katonda aliba tabaddamu.’”
8 Naye nze omwoyo gwa Yakuwa gunzijuzza amaanyi,
Era nzijudde obwenkanya n’obuvumu
Nsobole okubuulira Yakobo obujeemu bwe ne Isirayiri ekibi kye.
9 Muwulire kino mmwe abakulu b’ennyumba ya Yakobo
Nammwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,+
Abakyawa obwenkanya era abakyamya buli kintu ekitereevu,+
10 Abazimbisa Sayuuni ebikolwa eby’okuyiwa omusaayi era abazimbisa Yerusaalemi obutali butuukirivu.+
Kyokka Yakuwa gwe beesigamako nga bagamba nti:
“Yakuwa tali naffe?+
Tewali kabi konna kalitutuukako.”+