Abafiripi
4 N’olwekyo, baganda bange abaagalwa, be nnumirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era engule yange,+ munywerenga+ bwe mutyo mu Mukama waffe.
2 Nkubiriza Ewudiya ne Suntuke okuba n’endowooza emu mu Mukama waffe.+ 3 Naawe mukozi munnange omwesigwa, nkusaba oyambenga abakazi abo abafubye okukolera awamu nange ku lw’amawulire amalungi awamu ne Kulementi ne bakozi bannange abalala bonna; amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.+
4 Musanyukirenga mu Mukama waffe. Nziramu nate okubagamba nti, Musanyuke!+ 5 Obutali bukakanyavu bwammwe+ bweyoleke eri abantu bonna. Mukama waffe ali kumpi. 6 Temweraliikiriranga kintu kyonna,+ naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga;+ 7 era emirembe+ gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe+ n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.
8 Eky’enkomerero baganda bange, ebintu byonna ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa, mweyongere okubirowoozangako.*+ 9 Ebintu bye mwayiga, bye mwakkiriza, bye mwawulira era bye mwalaba mu nze, mubikolenga,+ era Katonda ow’emirembe anaabeeranga nammwe.
10 Nsanyuka nnyo mu Mukama waffe nti kaakano muzzeemu okundowoozaako.+ Wadde nga mwali mundowoozaako, mwabulwa akakisa okukiraga. 11 Kino sikyogera lwa kuba nti ndi mu bwetaavu, kubanga njize okubeera omumativu mu buli mbeera.+ 12 Mazima ddala mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebitono,+ era mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebingi. Mu buli kintu kyonna na mu buli mbeera yonna njize ekyama eky’okuba omukkufu n’eky’okulumwa enjala, eky’okuba n’ebintu ebingi n’eky’obutaba na bintu. 13 Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.+
14 Naye mwakola bulungi okunnyamba mu kubonaabona kwange. 15 Mu butuufu mmwe Abafiripi mukimanyi nti bwe nnatandika okubuulira amawulire amalungi, era bwe nnava e Masedoniya, tewali kibiina na kimu ekyassa ekimu nange mu kugaba ne mu kufuna, okuggyako mmwe mmwekka;+ 16 kubanga bwe nnali mu Ssessalonika, mwampeereza obuyambi, si mulundi gumu gwokka wabula ebiri. 17 Tekiri nti njagala ekirabo, wabula njagala ebibala ebyongera ku bugagga bwammwe. 18 Kyokka, nnina byonna bye nneetaaga; mbirina mu bungi era sirina kye njula, okuva Epafulodito+ bwe yampa ebintu bye mwampeereza, evvumbe eriwunya obulungi,+ ssaddaaka ekkirizibwa era esanyusa Katonda. 19 Katonda wange alina eby’obugagga eby’ekitiibwa ajja kubawa byonna bye mwetaaga+ okuyitira mu Kristo Yesu. 20 Katonda era Kitaffe aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
21 Munnamusize buli mutukuvu ali obumu ne Kristo Yesu. Ab’oluganda abali nange babalamusizza. 22 Abatukuvu bonna, naye okusingira ddala abo ab’omu nnyumba ya Kayisaali,+ babalamusizza.
23 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga.