Eseza
2 Ebyo bwe byaggwa, ng’obusungu bwa Kabaka Akaswero+ bukkakkanye, n’ajjukira Vasuti kye yali akoze+ era n’ekibonerezo kye yali asazeewo okumuwa.+ 2 Awo abaweereza ba kabaka ne bagamba nti: “Ka banoonyeze kabaka abawala embeerera abalabika obulungi. 3 Era kabaka k’alonde abantu mu masaza gonna ag’omu bwakabaka bwe,+ bakuŋŋaanyize mu lubiri lw’e Susani,* mu nnyumba y’abakazi, abawala embeerera bonna abalabika obulungi, bakwasibwe Kegayi+ omulaawe wa kabaka alabirira abakazi, era babakoleko eby’okwongera okubalungiya. 4 Omuwala anaasanyusa kabaka y’ajja okuba nnaabakyala mu kifo kya Vasuti.”+ Ekyo kabaka kyamusanyusa era n’akola bw’atyo.
5 Waaliwo omusajja Omuyudaaya mu lubiri lw’e Susani*+ eyali ayitibwa Moluddekaayi+ mutabani wa Yayiri mutabani wa Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini,+ 6 eyatwalibwa mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi n’abo abaawaŋŋangusibwa ne Yekoniya*+ kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka wa Babulooni gwe yatwala mu buwaŋŋanguse. 7 Oyo ye yali alabirira Kadasa, kwe kugamba, Eseza, omwana wa kitaawe omuto,+ kubanga teyalina kitaawe wadde nnyina. Omuwala oyo yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi nnyo, era kitaawe ne nnyina bwe baafa, Moluddekaayi n’amutwala n’amukuza ng’omwana we. 8 Ekigambo kya kabaka n’etteeka lye bwe byalangibwa, era abawala bangi bwe baakuŋŋaanyizibwa mu lubiri lw’e Susani* ne bakwasibwa Kegayi,+ Eseza naye yatwalibwa mu nnyumba* ya kabaka n’akwasibwa Kegayi eyali alabirira abakazi.
9 Omuwala oyo yamusanyusa nnyo, n’amwagala,* bw’atyo n’alagira mangu bamukoleko eby’okwongera okumulungiya+ era bamuwe emmere ey’enjawulo, era n’amuwa abawala abaweereza musanvu abalondemu okuva mu nnyumba ya kabaka. Ate era yamuggyayo n’amutwala awamu n’abaweereza be mu kifo ekisingayo obulungi mu nnyumba y’abakazi. 10 Eseza teyayogera bikwata ku bantu be+ wadde ab’eŋŋanda ze, kubanga Moluddekaayi+ yali amulagidde obutabibuulira muntu yenna.+ 11 Buli lunaku Moluddekaayi yayitaayitanga mu maaso g’oluggya lw’ennyumba y’abakazi okumanya Eseza bw’ali n’engeri gye bamuyisaamu.
12 Buli muwala yalina okugenda eri Kabaka Akaswero oluvannyuma lw’okukolebwako okumala emyezi 12 ng’abakazi bwe baali balagiddwa okukolebwako, kubanga baalina okukolebwako bwe bati—baalina okumala emyezi mukaaga nga basiigibwa amafuta ga miira,+ n’emyezi mukaaga nga basiigibwa amafuta ga basamu+ n’amafuta amalala ag’okubakolako. 13 Ebyo bwe byaggwanga omuwala yabanga atuuse okugenda eri kabaka, era bwe yalinga ava mu nnyumba y’abakazi okugenda mu nnyumba ya kabaka, yaweebwanga buli kye yasabanga. 14 Yagendayo akawungeezi, ate enkeera n’agenda mu nnyumba y’abakazi ey’okubiri eyali erabirirwa Saasugazi omulaawe wa kabaka,+ eyalabiriranga abazaana. Teyaddangayo eri kabaka okuggyako nga kabaka amusiimye n’amutumya ng’akozesa erinnya lye.+
15 Eseza muwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto, era Moluddekaayi gwe yali akuzizza ng’omwana we,+ bwe yatuuka okugenda eri kabaka, teyasaba kintu kyonna okuggyako ebyo Kegayi omulaawe wa kabaka eyalabiriranga abakazi bye yamugamba. (Eseza yaganja mu maaso ga buli muntu eyamulabanga.) 16 Awo Eseza n’atwalibwa eri Kabaka Akaswero mu nnyumba ya kabaka mu mwezi ogw’ekkumi, kwe kugamba, omwezi gwa Tebesi,* mu mwaka ogw’omusanvu+ ogw’obufuzi bwe. 17 Kabaka yayagala Eseza okusinga abawala abalala bonna era Eseza yaganja nnyo eri kabaka era n’asiimibwa* okusinga abawala embeerera abalala bonna. Awo n’amussaako eky’oku mutwe n’amufuula nnaabakyala+ mu kifo kya Vasuti.+ 18 Kabaka n’akolera abaami be bonna n’abaweereza be embaga ennene, embaga ya Eseza, era n’alagira wabeewo okusumululwa* mu masaza, era n’agaba ebirabo nga kabaka bwe yandikoze.
19 Abawala embeerera+ bwe baakuŋŋaanyizibwa omulundi ogw’okubiri, Moluddekaayi yali atudde ku mulyango gwa kabaka. 20 Eseza teyayogera bikwata ku ba ŋŋanda ze na bantu be+ nga Moluddekaayi bwe yamulagira; Eseza yeeyongera okukolera ku ebyo Moluddekaayi bye yamugamba nga bwe yakolanga ng’akyali mu mikono gye.+
21 Mu nnaku ezo nga Moluddekaayi atuula ku mulyango gwa kabaka, Bigusani ne Teresi abakungu ba kabaka ab’omu lubiri abaali abakuumi b’oku mulyango baanyiiga ne bakola olukwe okutta* Kabaka Akaswero. 22 Naye Moluddekaayi bwe yakitegeera, amangu ago n’ategeeza Nnaabakyala Eseza. Eseza n’ayogera ne kabaka mu linnya lya* Moluddekaayi. 23 Ensonga n’enoonyerezebwako ne kizuulibwa nti bwe kityo bwe kyali, era bombi ne bawanikibwa ku muti; oluvannyuma ne kiwandiikibwa mu maaso ga kabaka mu kitabo ky’ebyafaayo by’ebiseera ebyo.+