Eseza
1 Awo mu kiseera kya Akaswero,* ng’ono ye Akaswero eyali afuga amasaza 127,+ okuva e Buyindi okutuuka mu Esiyopiya,* 2 mu nnaku ezo Kabaka Akaswero bwe yali atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eyali mu lubiri lw’e Susani,*+ 3 mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwe, yagabula abaami be bonna n’abaweereza be ekijjulo, era ab’amagye ga Buperusi+ ne Bumeedi,+ n’abakungu, n’abaami b’ebitundu, baali mu maaso ge. 4 Awo n’abalaga eby’obugagga by’obwakabaka bwe obw’ekitiibwa, awamu n’ekitiibwa kye, era n’ettendo lye, okumala ennaku nnyingi, ennaku 180. 5 Ennaku ezo bwe zaggwaako, kabaka n’agabula abantu bonna ekijjulo, ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa, abaali mu lubiri lw’e Susani.* Ekijjulo ekyo kyamala ennaku musanvu, era yakibagabulira mu luggya lw’omu lubiri lwa kabaka. 6 Waaliwo entimbe ez’engoye eza kitaani, n’ez’engoye ezaakolebwa mu ppamba omulungi, n’ez’engoye eza bbulu, nga zisibiddwa ku miyondo egyalukibwa mu lugoye olulungi ne ku miguwa egyalukibwa mu wuzi eza kakobe, nga biyisiddwa mu mpeta eza ffeeza ezaali ku mpagi ez’amayinja agalabika obulungi. Era waaliwo entebe ezigalamirwako eza zzaabu n’eza ffeeza ku mayinja amaalirire amamyufu, ameeru, aga luulu, n’amaddugavu.
7 Omwenge gwagabulirwa mu bikopo* ebya zzaabu, era ebikopo ebyo byali tebifaanagana. Omwenge kabaka gwe yagabula gwali mungi ddala, nga kabaka bwe yandigabudde. 8 Ku olwo tewaaliwo yali awalirizibwa kunywa ng’etteeka bwe lyali liragira, kubanga kabaka n’abakungu b’omu lubiri lwe baali bakoze entegeka nti buli muntu akole nga bw’ayagala.
9 Nnaabakyala Vasuti+ naye yagabula abakazi ekijjulo mu nnyumba* ya Kabaka Akaswero.
10 Ku lunaku olw’omusanvu, kabaka bwe yanywa omwenge n’asanyuka, n’agamba Mekumani ne Bizusa ne Kalubona+ ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abakungu omusanvu ab’omu lubiri abaaweerezanga Kabaka Akaswero, 11 baleete Nnaabakyala Vasuti mu maaso ga kabaka ng’ataddeko eky’oku mutwe eky’obwa nnaabakyala, alage abantu n’abaami obulungi bwe, kubanga yali alabika bulungi nnyo. 12 Naye Nnaabakyala Vasuti n’agaana okujja nga kabaka bwe yali alagidde ng’ayitira mu bakungu b’omu lubiri. Kino kyanyiiza nnyo kabaka, n’aswakiira.
13 Awo kabaka n’ayogera n’abasajja ab’amagezi abaali bamanyi ebintu ebyaliwo emabega* (bw’etyo ensonga ya kabaka bwe yategeezebwanga abo bonna abaali bamanyi amateeka n’ebikwata ku misango; 14 era abo abaali ab’oku lusegere ennyo naye be bano: Kalusena, Sesali, Adumasa, Talusiisi, Meresi, Malusena, ne Memukani, abaami musanvu+ ab’omu Buperusi ne Bumeedi abajjanga mu maaso ga kabaka era abaali mu bifo eby’oku mwanjo mu bwakabaka). 15 Awo kabaka n’ababuuza nti: “Okusinziira ku mateeka, Nnaabakyala Vasuti akolebwe ki olw’obutagondera ekyo Kabaka Akaswero ky’amulagidde okuyitira mu bakungu b’omu lubiri?”
16 Memukani n’ayogera mu maaso ga kabaka n’abaami nti: “Nnaabakyala Vasuti ekintu ekyo takikoze kabaka yekka,+ naye akikoze n’abaami bonna n’abantu bonna abali mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero. 17 Kubanga ekyo nnaabakyala ky’akoze, abakazi bonna bajja kukiwulira batandike okunyooma babbaabwe nga bagamba nti, ‘Kabaka Akaswero yalagira batwale Nnaabakyala Vasuti mu maaso ge naye n’agaana okugenda.’ 18 Era ku lunaku luno abakyala b’abaami b’omu Buperusi ne Bumeedi abategedde nnaabakyala ky’akoze bajja kwogera mu ngeri y’emu eri babbaabwe, abaami ba kabaka, era wajja kubaawo obunyoomi bungi n’obusungu. 19 Bwe kiba nga kirungi eri kabaka, kabaka ayise ekiragiro era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatasobola kusazibwamu,+ nti Vasuti taddangamu okujja mu maaso ga Kabaka Akaswero, era mu kifo kye eky’obwannaabakyala kabaka ateekewo omukazi omulala amusinga. 20 Era ekiragiro kya kabaka bwe kinaawulirwa mu bwakabaka bwe bwonna obunene ennyo, abakazi bonna bajja kuwa babbaabwe ekitiibwa, ka babe abo ab’ebitiibwa oba abatali ba bitiibwa.”
21 Ekintu ekyo kyasanyusa kabaka n’abaami be era kabaka n’akola nga Memukani bwe yateesa. 22 Bw’atyo n’aweereza amabaluwa mu masaza g’obwakabaka gonna,+ buli ssaza mu mpandiika yaalyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo, buli musajja okubeeranga n’obuyinza mu nnyumba ye era n’okwogera olulimi lw’eggwanga lye.