Olubereberye
13 Awo Ibulaamu n’ava mu Misiri ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti, ne bagenda mu Negebu.+ 2 Ibulaamu yalina ebisibo bingi ne ffeeza ne zzaabu.+ 3 Bwe yali ava e Negebu ng’agenda e Beseri, yagendanga asiisira mu bifo eby’enjawulo okutuusa lwe yatuuka mu kifo weema ye we yali okusooka, wakati wa Beseri ne Ayi,+ 4 era we yali yazimba ekyoto. Ibulaamu n’akoowoola erinnya lya Yakuwa ng’ali eyo.
5 Lutti eyali atambula ne Ibulaamu naye yalina endiga, ente, ne weema. 6 N’olwekyo, baali tebasobola kubeera mu kifo kye kimu kubanga ekitundu kyali tekibamala. Ebintu byabwe byali byaze nnyo nga tebakyasobola kubeera wamu. 7 Bwe kityo ne wabalukawo enkaayana wakati w’abalunzi b’ebisolo bya Ibulaamu n’abalunzi b’ebisolo bya Lutti. (Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperizi baali bakyabeera mu nsi eyo.)+ 8 Awo Ibulaamu n’agamba Lutti+ nti: “Waleme kubaawo nkaayana wakati wo nange, ne wakati w’abalunzi bange n’ababo, kubanga tuli ba luganda. 9 Oyinza okutwala ekitundu kyonna ky’oyagala. Twawukane. Bw’onoogenda ku luuyi olwa kkono, nze nga ŋŋenda ku lwa ddyo; bw’onoogenda ku luuyi olwa ddyo, nze nga ŋŋenda ku lwa kkono.” 10 Awo Lutti n’ayimusa amaaso ge n’alaba ekitundu kyonna ekya Yoludaani+ okutuukira ddala e Zowaali+ nga kirimu amazzi mangi, nga kiringa olusuku lwa Yakuwa,+ era ng’ensi ya Misiri (Yakuwa yali tannazikiriza Sodomu ne Ggomola). 11 Lutti n’alondawo ekitundu kyonna ekya Yoludaani, n’agenda ebuvanjuba. Bwe batyo ne baawukana. 12 Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, naye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu kitundu kya Yoludaani.+ Oluvannyuma Lutti n’asimba weema ze okumpi ne Sodomu. 13 Abantu b’omu Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo mu maaso ga Yakuwa.+
14 Lutti bwe yamala okwawukana ne Ibulaamu, Yakuwa n’agamba Ibulaamu nti: “Nkusaba oyimuse amaaso go ng’oyima w’oli otunule ebukiikakkono, n’ebukiikaddyo, n’ebuvanjuba, n’ebugwanjuba, 15 kubanga ensi yonna gy’olaba nja kugikuwa ggwe n’ezzadde lyo ebeere yammwe lubeerera.+ 16 Era ezzadde lyo ndirifuula ng’enfuufu y’ensi, era singa omuntu yenna asobola okubala enfuufu y’ensi, n’ezzadde lyo lyandisobose okubalibwa.+ 17 Yimuka otambule mu nsi, mu buwanvu bwayo ne mu bugazi bwayo, kubanga ndigikuwa.” 18 Ibulaamu ne yeeyongera okubeera mu weema. Oluvannyuma n’agenda n’abeera okumpi n’emiti eminene egy’e Mamule+ egiri e Kebbulooni,+ era n’azimbira Yakuwa ekyoto+ mu kifo ekyo.