Okuva
35 Oluvannyuma Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri, n’abagamba nti: “Bino Yakuwa by’alagidde bikolebwenga:+ 2 Emirimu gijja kukolebwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga lutukuvu gye muli; lunaabanga lunaku lwa ssabbiiti, olunaku olw’okuwummula olutukuvu eri Yakuwa.+ Omuntu yenna anaakolanga emirimu ku lunaku olwo anattibwanga.+ 3 Temukumanga muliro ku lunaku lwa Ssabbiiti yonna gye mubeera.”
4 Awo Musa n’agamba ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri nti: “Kino Yakuwa ky’alagidde, 5 ‘Muterekeewo bye munaawa Yakuwa.+ Buli alina omutima ogwagala+ aleete eky’okuwaayo eri Yakuwa: zzaabu, ffeeza, ekikomo, 6 wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, wuzi ennungi eza kitaani, ebyoya by’embuzi,+ 7 amaliba g’endiga ennume amannyike mu langi emmyufu, amaliba amagonvu,* embaawo z’omuti gwa sita, 8 amafuta ag’okussa mu ttaala, basamu ow’okukolamu amafuta amatukuvu n’obubaani obw’akaloosa,+ 9 amayinja ga sokamu, n’amayinja amalala ag’okuteeka ku efodi+ ne ku ky’omu kifuba.+
10 “‘Abakugu* bonna+ mu mmwe ka bajje bakole byonna Yakuwa by’alagidde, 11 weema entukuvu n’eky’okugibikkako, amalobo gaayo, fuleemu zaayo, emiti gyayo, empagi zaayo, n’obutoffaali bwayo obulimu ebituli; 12 Essanduuko+ n’emisituliro gyayo,+ eky’okubikkako,+ n’olutimbe+ olwawulamu; 13 emmeeza+ n’emisituliro gyayo n’ebintu byayo byonna n’emigaati egy’okulaga;+ 14 ekikondo ky’ettaala+ n’ebintu byakyo byonna, n’ettaala zaakyo n’amafuta ag’okussa mu ttaala;+ 15 ekyoto ky’obubaani+ n’emisituliro gyakyo; amafuta amatukuvu n’obubaani obw’akaloosa;+ olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu weema entukuvu; 16 ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa+ n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo n’ebintu byakyo byonna; ebbenseni n’ekintu kw’etuula;+ 17 entimbe z’oluggya,+ n’empagi zaalwo n’obutoffaali bwalwo obulimu ebituli; olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya; 18 enninga za weema entukuvu n’enninga z’oluggya n’emiguwa gyazo;+ 19 ebyambalo ebirukiddwa obulungi+ eby’okuweererezaamu mu kifo ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni+ kabona, n’ebyambalo bya batabani be eby’okuweererezaamu nga bakabona.’”
20 Awo ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ne kiva mu maaso ga Musa. 21 Oluvannyuma ne bajja, buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza,+ ne baleeta eby’okuwaayo eri Yakuwa bikozesebwe ku weema ey’okusisinkaniramu, mu buweereza bwayo bwonna, ne mu kukola ebyambalo ebitukuvu. 22 Abasajja n’abakazi ne beeyongera okujja, buli muntu eyalina omutima ogwagala okuwaayo, ne baleeta ebikwaso, eby’oku matu, empeta, n’amajolobero amalala, awamu n’ebintu ebya zzaabu ebya buli ngeri. Bonna ne bawaayo eri Yakuwa ebiweebwayo byabwe* ebya zzaabu.+ 23 Era abo bonna abaalina wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, wuzi ennungi eza kitaani, ebyoya by’embuzi, amaliba g’endiga ennume amannyike mu langi emmyufu, n’amaliba amagonvu,* baabireeta. 24 Abo bonna abaawaayo ffeeza n’ekikomo ne baleeta eky’okuwaayo eri Yakuwa, era n’abo bonna abaalina embaawo ez’omuti gwa sita ez’okukozesa mu mulimu gwa weema entukuvu ne bazireeta.
25 Abakazi abakugu bonna+ ne balanga wuzi n’emikono gyabwe, ne baleeta bye baali balanze: wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani. 26 Era abakazi bonna abakugu emitima gyabwe be gyakubiriza ne balanga ebyoya by’embuzi.
27 Abaami ne baleeta amayinja ga sokamu n’amayinja amalala ag’okuteeka ku efodi ne ku ky’omu kifuba,+ 28 ne basamu, n’amafuta ag’okukozesa mu ttaala n’okukolamu amafuta amatukuvu+ n’obubaani obw’akaloosa.+ 29 Abasajja n’abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza baabaako kye baleeta olw’omulimu Yakuwa gwe yali alagidde okuyitira mu Musa gukolebwe; Abayisirayiri baabireeta ng’ekiweebwayo ekya kyeyagalire eri Yakuwa.+
30 Awo Musa n’agamba Abayisirayiri nti: “Laba, Yakuwa alonze Bezaleeri mutabani wa Wuli, mutabani wa Kuli ow’omu kika kya Yuda.+ 31 Amujjuzza omwoyo gwa Katonda, era amuwadde amagezi, okutegeera, n’okumanya okukwata ku mirimu gy’emikono egya buli ngeri, 32 okuyiiya ebintu, okukola ebintu mu zzaabu ne ffeeza n’ekikomo, 33 okusala amayinja n’okugawanga, n’okukola ebintu eby’ekikugu ebya buli ngeri mu mbaawo. 34 Era ye ne Okoliyaabu+ mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Katonda abawadde obusobozi obw’okuyigiriza abalala. 35 Abawadde obukugu*+ okukola emirimu gyonna egy’emikono, okutunga amasiira, n’okulukisa wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani, era n’okuluka engoye. Abasajja bano bajja kukola emirimu egya buli kika era bajja kuyiiya ebintu ebya buli ngeri.