Okuva
36 “Bezaleeri ajja kukolera wamu ne Okoliyaabu era n’abasajja bonna abakugu* Yakuwa b’awadde amagezi n’okutegeera basobole okumanya engeri y’okukolamu emirimu gyonna egy’obuweereza obutukuvu, nga Yakuwa bw’alagidde.”+
2 Awo Musa n’ayita Bezaleeri ne Okoliyaabu n’abasajja bonna abakugu Yakuwa be yawa amagezi,+ bonna emitima gyabwe be gyakubiriza okwewaayo okukola omulimu.+ 3 Ne baggya ku Musa ebintu byonna+ Abayisirayiri bye baali baleese olw’okukola omulimu gw’obuweereza obutukuvu. Kyokka, buli ku makya Abayisirayiri beeyongera okumuleetera ebiweebwayo ebya kyeyagalire.
4 Bwe baatandika okukola omulimu omutukuvu, abasajja bonna abakugu ne bajja, omu ku omu, 5 ne bagamba Musa nti: “Abantu baleeta ebintu bingi nnyo era bisusse ku ebyo ebyetaagibwa okukola omulimu Yakuwa gw’alagidde gukolebwe.” 6 Musa n’alagira balangirire mu lusiisira lwonna nti: “Abasajja n’abakazi, temwongera kuleeta bintu birala ebya weema entukuvu.” Awo abantu ne bayimirizibwa okwongera okuleeta ebintu ebirala. 7 Ebintu byali bimalira ddala omulimu gwonna ogwali gulina okukolebwa, era nga bisukka ku ebyo ebyali byetaagibwa.
8 Awo abakugu bonna+ ne bakola weema entukuvu+ nga ya mitanda kkumi egya wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, ne wuzi eza bbulu, ne wuzi eza kakobe, ne wuzi emmyufu; yagitungako* ebifaananyi bya bakerubi.+ 9 Buli mutanda gwali emikono 28 obuwanvu, ate obugazi emikono* 4. Emitanda gyonna gyali gyenkanankana. 10 Emitanda etaano yagigatta gyokka, n’emitanda emirala etaano n’agigatta gyokka. 11 Oluvannyuma yakola eŋŋango mu wuzi eza bbulu n’aziteeka ku lukugiro lw’omutanda ogumu ebitundu we byegattira. Era bw’atyo bwe yakola ne ku lukugiro lw’omutanda ogusembayo ebitundu byombi we byegattira. 12 Yateeka eŋŋango 50 ku mutanda ogumu, n’eŋŋango 50 ku lukugiro olulala olw’omutanda ebitundu byombi eby’emitanda we byegattira, eŋŋango z’ekitundu ekimu ne ziba nga zitunuuliganye n’ez’ekitundu ekirala. 13 Oluvannyuma yakola amalobo 50 aga zzaabu n’agatta wamu emitanda ng’akozesa amalobo ago, emitanda gya weema gyonna ne giba nga gigattiddwa wamu.
14 Era yakola emitanda mu byoya by’embuzi egy’okubikka ku weema entukuvu. Yakola emitanda 11.+ 15 Buli mutanda gwali emikono 30 obuwanvu, ate obugazi emikono 4. Emitanda gyonna 11 gyali gyenkanankana. 16 Yagatta wamu emitanda etaano ne giba gyokka, n’emitanda emirala omukaaga ne giba gyokka. 17 Bwe yamala, n’ateeka eŋŋango 50 ku lukugiro lw’omutanda ogusembayo ebitundu byombi we byegattira, era n’ateeka eŋŋango 50 ku lukugiro lw’omutanda omulala ogwegatta nagwo. 18 Oluvannyuma yakola amalobo 50 ag’ekikomo ag’okugatta emitanda gya weema gyonna gibe wamu.
19 Era yakola eky’okubikka ku weema mu maliba g’endiga ennume amannyike mu langi emmyufu, era n’akola n’eky’okubikkako ekirala mu maliba amagonvu* eky’okuteeka kungulu ku kyo.+
20 Yakola fuleemu za weema entukuvu mu muti gwa sita,+ nga ziyimiridde busimba.+ 21 Buli fuleemu yali emikono kkumi obuwanvu, ate obugazi omukono gumu n’ekitundu. 22 Buli fuleemu yalina ennimi bbiri nga zitunudde oluuyi lumu. Bw’atyo bwe yakola fuleemu zonna eza weema entukuvu. 23 Bw’atyo n’akola fuleemu 20 ez’oku luuyi olw’ebukiikaddyo olwa weema entukuvu. 24 Yakola obutoffaali obwa ffeeza 40 obulimu ebituli, obw’okussa wansi wa fuleemu 20; obutoffaali bubiri obw’okussa wansi wa fuleemu emu, omuyingira ennimi zaayo ebbiri, n’obutoffaali bubiri bubiri obw’okussa wansi wa fuleemu endala zonna, omuyingira ennimi zaazo ebbiri ebbiri.+ 25 Oluuyi olulala olwa weema, oluuyi olw’ebukiikakkono, yalukolera fuleemu 20, 26 n’obutoffaali bwazo obwa ffeeza 40 obulimu ebituli; obutoffaali bubiri wansi wa fuleemu emu, n’obutoffaali bubiri bubiri wansi wa fuleemu endala zonna.
27 Ekitundu eky’emabega ekya weema entukuvu, ku luuyi olw’ebugwanjuba, yakikolera fuleemu mukaaga.+ 28 Yakola fuleemu bbiri ezaakola ng’enkondo ez’oku nsonda ebbiri eza weema ku luuyi olw’emabega. 29 Fuleemu yazikola nga za bitundu bibiri ebyenkanankana okuva wansi okutuuka waggulu. Ebitundu byagattibwa wamu ku mpeta esooka. Bw’atyo bwe yakola enkondo ebbiri ez’oku nsonda. 30 Fuleemu zonna awamu zaali munaana n’obutoffaali bwazo 16 obwa ffeeza obulimu ebituli; obutoffaali bubiri bubiri wansi wa buli fuleemu.
31 Era yakola emiti mu muti gwa sita; emiti etaano gyali gya ku fuleemu ez’oku luuyi olumu olwa weema entukuvu,+ 32 n’emirala etaano gyali gya ku fuleemu ez’oku luuyi olulala olwa weema entukuvu, era n’emirala etaano gyali gya ku fuleemu ez’oku luuyi lwa weema olw’emabega, oluuyi olw’ebugwanjuba. 33 Yakola omuti ogwa wakati n’aguyisa wakati ku fuleemu, nga guva ku luuyi olumu okutuuka ku lulala. 34 Fuleemu yazibikkako zzaabu, era empeta zaazo yazikola mu zzaabu ziwanirire emiti; n’emiti yagibikkako zzaabu.+
35 Era yakola olutimbe+ mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezaali zirangiddwa. Yalutungako+ ebifaananyi bya bakerubi.+ 36 Era yalukolera empagi nnya mu muti gwa sita n’azibikkako zzaabu. Amalobo gaazo gaali ga zzaabu, era yazikolera obutoffaali buna obwa ffeeza obwalimu ebituli. 37 Omulyango oguyingira mu weema yagukolera olutimbe mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezaali zirangiddwa, nga zonna zirukiddwa wamu;+ 38 era yagukolera n’empagi ttaano n’amalobo gaazo. Emitwe gy’empagi n’ebiyunga* byazo yabibikkako zzaabu, naye obutoffaali bwazo obutaano obulimu ebituli bwali bwa kikomo.