Nekkemiya
5 Awo ne wabaawo abasajja ne bakazi baabwe abeemulugunya ennyo ku baganda baabwe Abayudaaya.+ 2 Abamu baali bagamba nti: “Ffe ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi. Tulina okufuna emmere tulye tusobole okusigala nga tuli balamu.” 3 Abalala baali bagamba nti: “Ebibanja byaffe n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu n’amayumba gaffe tubiwaayo ng’omusingo tusobole okufuna emmere mu kiseera eky’enjala.” 4 Ate abalala baali bagamba nti: “Twasingayo ebibanja byaffe n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu okusobola okwewola ssente okusasula omusolo gwa kabaka.+ 5 Omubiri gwaffe n’omusaayi gwaffe bye bimu n’ebya baganda baffe, era abaana baffe balinga abaana baabwe; kyokka tulina okuwaayo batabani baffe ne bawala baffe mu buddu, era abamu ku bawala baffe baatandika dda okuweereza ng’abaddu.+ Naye tetulina kye tusobola kukola kukikomya, kubanga ebibanja byaffe n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu biri mu mikono gya bantu balala.”
6 Bwe nnawulira okwemulugunya okwo n’ebigambo ebyo ne nsunguwala nnyo. 7 Awo ne nfumiitiriza ku bintu ebyo mu mutima gwange, ne nnyombesa abakungu n’abaami, era ne mbagamba nti: “Buli omu ku mmwe asaba muganda we amagoba ku ky’aba amuwola.”+
Ate era olw’ekyo kye baali bakoze nnakola enteekateeka wabeewo olukuŋŋaana olunene. 8 Awo ne mbagamba nti: “Twakola kyonna ekisoboka okununula baganda baffe Abayudaaya abaali batundiddwa mu mawanga, kyokka mmwe kaakano mwagala kutunda baganda bammwe,+ era ffe tuddemu tubanunule?” Ne basirika ne batabaako kye baddamu. 9 Awo ne mbagamba nti: “Kye mukola si kirungi. Temwanditambulidde mu kutya Katonda waffe,+ tuleme kuswala mu b’amawanga, abalabe baffe? 10 Nze ne baganda bange n’abaweereza bange naffe tuwola abalala ssente n’emmere. Mbeegayiridde, tulekere awo okusaba amagoba.+ 11 Mubaddize olwa leero ebibanja byabwe+ n’ennimiro zaabwe ez’emizabbibu n’ez’emizeyituuni n’ennyumba zaabwe. Mubaddize n’amagoba* ge mwabaggyako olwa ssente n’emmere n’omwenge omusu n’amafuta bye mwabawola.”
12 Ne bagamba nti: “Tujja kubibaddiza era tetujja kubasaba kintu kyonna. Tujja kukolera ddala nga bw’ogambye.” Awo ne mpita bakabona, ne ndayiza abasajja abo okukola nga bwe baali basuubizza. 13 Era nnakunkumula n’olugoye lwange* ne ŋŋamba nti: “Omuntu yenna ataakolere ku bigambo ebyo, Katonda ow’amazima bw’atyo bw’aba amukunkumula okumuggya mu nnyumba ye ne mu bintu bye, era bw’atyo bw’aba akunkumulwa asigale nga talina kantu.” Awo ekibiina kyonna ne kiddamu nti: “Amiina!”* Ne batendereza Yakuwa, era abantu ne bakola nga bwe baali basuubizza.
14 Ate era, okuva kabaka lwe yannonda okuba gavana waabwe+ mu nsi ya Yuda, okuva mu mwaka ogw’amakumi abiri+ ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugiizi+ okutuuka mu mwaka gwe ogw’amakumi asatu mu ebiri,+ gye myaka 12, nze ne baganda bange tetwalyanga mmere erina kuweebwa gavana.+ 15 Kyokka bo bagavana abansookawo baanyigirizanga abantu era baabaggyangako sekeri* za ffeeza 40 ez’emmere n’omwenge buli lunaku. N’abaweereza baabwe baanyigirizanga abantu. Naye nze saakola bwe ntyo+ olw’okuba ntya Katonda.+
16 Ate era nneenyigira mu mulimu gw’okuzimba bbugwe oyo, era abaweereza bange bonna baakuŋŋaanira eyo okukola omulimu, era tetwefunira bibanja.+ 17 Waaliwo Abayudaaya n’abaami 150, awamu n’abo abajjanga gye tuli okuva mu mawanga agaali gatuliraanye, abaalyanga ku mmeeza yange. 18 Buli lunaku banfumbiranga ente ennume emu, endiga ennungi ennyo mukaaga, awamu n’enkoko,* era buli luvannyuma lwa nnaku kkumi twabanga n’omwenge mungi ogwa buli kika. Wadde ng’ebyo byali bwe bityo, saasabanga mmere erina kuweebwa gavana olw’okuba abantu baali bazitoowereddwa nnyo. 19 Ai Katonda wange, onzijukiranga n’ondaga ekisa olw’ebyo byonna bye nkoledde abantu bano.+