2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
23 Mu mwaka ogw’omusanvu, Yekoyaada yayoleka obuvumu n’akola endagaano n’abakulu bano abaakuliranga ebikumi:+ Azaliya mutabani wa Yekolaamu ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani ne Azaliya mutabani wa Obedi ne Maaseya mutabani wa Adaya ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. 2 Oluvannyuma baayitaayita mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi+ okuva mu bibuga bya Yuda byonna n’abakulu b’ennyumba mu Isirayiri. Bwe bajja e Yerusaalemi, 3 ekibiina kyonna ne kikola endagaano+ ne kabaka mu nnyumba ya Katonda ow’amazima, era oluvannyuma Yekoyaada n’abagamba nti:
“Laba! Omwana wa kabaka ajja kufuga, nga Yakuwa bwe yasuubiza ng’ayogera ku baana ba Dawudi.+ 4 Kino kye mujja okukola: Kimu kya kusatu ekya bakabona n’eky’Abaleevi abanaakola+ ku Ssabbiiti bajja kukuuma ku miryango;+ 5 ekimu eky’okusatu ekirala bajja kuba ku nnyumba* ya kabaka,+ n’ekimu eky’okusatu ekirala babeere ku Mulyango gw’Omusingi; abantu abalala bonna bajja kubeera mu mpya z’ennyumba ya Yakuwa.+ 6 Temukkiriza muntu yenna kuyingira mu nnyumba ya Yakuwa okuggyako bakabona n’Abaleevi abaweereza.+ Abo be bajja okuyingira kubanga bo kibinja kitukuvu, era abantu abalala bonna bajja kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Yakuwa. 7 Abaleevi bajja kwetooloola kabaka nga buli omu akutte eby’okulwanyisa bye. Omuntu yenna anaayingira mu nnyumba ajja kuttibwa. Mubeere ne kabaka buli w’anaagenda.”*
8 Awo Abaleevi ne Yuda yonna ne bakolera ddala nga Yekoyaada kabona bwe yabalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be abaalina okukola ku Ssabbiiti n’abo abataali ba kukola ku Ssabbiiti,+ kubanga Yekoyaada kabona yali talagidde bibinja+ kunnyuka. 9 Awo Yekoyaada kabona n’awa abakulu abaakuliranga ebikumi+ amafumu n’engabo entono* n’engabo enneetooloovu ebyali ebya Kabaka Dawudi+ ebyali mu nnyumba ya Katonda ow’amazima.+ 10 N’assaawo abantu bonna okwetooloola kabaka, nga buli omu akutte eky’okulwanyisa kye, okuva ku ludda olwa ddyo olw’ennyumba okutuuka ku ludda lwayo olwa kkono, okuliraana ekyoto n’ennyumba. 11 Ne bafulumya omwana wa kabaka+ ne bamussaako engule n’omuzingo gw’Amateeka ga Katonda*+ ne bamufuula kabaka, era Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta ne bagamba nti: “Kabaka awangaale!”+
12 Asaliya bwe yawulira abantu abadduka era nga batendereza kabaka, amangu ago n’agenda eri abantu ku nnyumba ya Yakuwa.+ 13 Bwe yalaba kabaka ng’ayimiridde okumpi n’empagi ye ku mulyango, era ng’abaami+ n’abafuuyi b’amakondeere baali ne kabaka, era nga ne bannansi bonna bajaganya+ era nga bafuuwa amakondeere, nga n’abayimbi abaalina ebivuga bakulembera ennyimba ez’okutendereza, n’ayuza ebyambalo bye n’agamba nti: “Luno lukwe! Luno lukwe!” 14 Naye Yekoyaada kabona n’afulumya abakulu b’ebikumi, abaalondebwa okukulira amagye, n’abagamba nti: “Mumuggye mu nnyiriri, era omuntu yenna amugoberera attibwe n’ekitala!” Kubanga kabona yali agambye nti: “Temumuttira mu nnyumba ya Yakuwa.” 15 Awo ne bamukwata. Bwe baamutuusa awayingirirwa ku Mulyango gw’Embalaasi ogw’ennyumba* ya kabaka, amangu ago ne bamuttira awo.
16 Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna ne kabaka, beeyongere okuba abantu ba Yakuwa.+ 17 Oluvannyuma abantu bonna baagenda awaali ennyumba* ya Bbaali ne bagimenya+ era ne bamenyaamenya ebyoto bye n’ebifaananyi bye,+ era ne Matani kabona wa Bbaali+ ne bamuttira mu maaso g’ebyoto. 18 Awo Yekoyaada omulimu gw’okulabirira ennyumba ya Yakuwa n’agukwasa bakabona n’Abaleevi Dawudi be yayawulamu ebibinja n’abateeka mu nnyumba ya Yakuwa okuwangayo ssaddaaka za Yakuwa ezookebwa+ nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa,+ ekyo nga bakikola bajaganya era nga bayimba nga Dawudi bwe yalagira. 19 Era yateekawo n’abakuumi+ ku miryango gy’ennyumba ya Yakuwa waleme kubaawo muntu yenna atali mulongoofu mu ngeri yonna ayingira. 20 Awo n’akuŋŋaanya abakulu abaakuliranga ebikumi+ n’abakungu n’abafuzi b’abantu ne bannansi bonna ne bawerekera kabaka okuva mu nnyumba ya Yakuwa. Ne bayita mu mulyango ogw’eky’engulu ne bagenda mu nnyumba* ya kabaka ne batuuza kabaka ku ntebe+ y’obwakabaka.+ 21 Bannansi bonna ne bajaganya, era ekibuga kyali kisirifu olw’okuba Asaliya yali attiddwa n’ekitala.