2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
24 Yekowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka,+ era yafugira emyaka 40 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Zibiya ow’e Beeru-seba.+ 2 Yekowaasi yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa ekiseera kyonna Yekoyaada kabona+ kye yamala nga mulamu. 3 Yekoyaada yamuwasiza abakazi babiri, era yazaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.
4 Awo Yekowaasi n’ayagala* okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa.+ 5 N’akuŋŋaanya bakabona n’Abaleevi n’abagamba nti: “Mugende mu bibuga bya Yuda musolooze ssente mu Isirayiri yonna ez’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe+ buli mwaka, era ekyo mukikole mu bwangu.” Kyokka Abaleevi ne batakikola mu bwangu.+ 6 Awo kabaka n’ayita Yekoyaada kabona omukulu n’amugamba nti:+ “Lwaki tewagamba Baleevi kuleeta omusolo omutukuvu okuva mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Musa+ omuweereza wa Yakuwa gwe yalagira, omusolo omutukuvu ogwa weema ey’Obujulirwa+ ekibiina kya Isirayiri gwe kirina okuwa? 7 Kubanga abaana ba Asaliya+ omukazi omubi, baakozesa eryanyi ne bayingira mu nnyumba ya Katonda ow’amazima+ ne baggyamu ebintu ebitukuvu byonna eby’omu nnyumba ya Yakuwa ne babikozesa mu kusinza Babbaali.” 8 Awo kabaka n’alagira ne bakola essanduuko+ ne bagiteeka wabweru ku mulyango gw’ennyumba ya Yakuwa.+ 9 Ne balangirira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi abantu baleete eri Yakuwa omusolo+ Musa omuweereza wa Katonda ow’amazima gwe yalagira mu ddungu Abayisirayiri okuwa. 10 Awo abaami bonna n’abantu bonna ne basanyuka,+ ne baleeta eby’okuwaayo ne babiteeka mu ssanduuko okutuusa lwe yajjula.*
11 Buli Abaleevi lwe baaleetanga essanduuko eri kabaka, ne balaba nga mulimu ssente nnyingi, ng’omuwandiisi wa kabaka n’oyo eyayambangako kabona omukulu bajja baziggyamu,+ ng’essanduuko bagizzaayo mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, era baakuŋŋaanya ssente nnyingi nnyo. 12 Kabaka ne Yekoyaada ssente ezo baazikwasanga abaalabiriranga omulimu gw’ennyumba ya Yakuwa, bo ne basasulanga abatemi b’amayinja ne baffundi okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa,+ era n’abaweesi b’ekyuma n’ekikomo okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa. 13 Abo abaali ab’okulabirira omulimu ne batandika okukola, era omulimu gw’okuddaabiriza ne gugenda mu maaso nga bagulabirira bulungi, ennyumba ya Katonda ow’amazima ne bagizzaawo nga bwe yali edda, ne baginyweza n’ebeerera ddala ŋŋumu. 14 Olwali okugimaliriza, ne baleeta eri kabaka ne Yekoyaada ssente ezaali zifisseewo, ne bazikozesa okukola ebintu eby’okukozesa mu nnyumba ya Yakuwa, ebintu ebikozesebwa mu buweereza ne mu kuwaayo ebiweebwayo n’ebikopo n’ebintu ebya zzaabu n’ebya ffeeza.+ Era baawangayo ssaddaaka ezookebwa+ mu nnyumba ya Yakuwa bulijjo ennaku zonna Yekoyaada ze yamala nga mulamu.
15 Yekoyaada bwe yali ng’akaddiye era ng’amatidde emyaka gy’obulamu bwe, n’afa. Yafa nga wa myaka 130. 16 Ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi gye baaziikanga bakabaka,+ olw’ebirungi bye yali akoledde Isirayiri,+ ne Katonda ow’amazima, n’ennyumba ya Katonda.
17 Yekoyaada bwe yamala okufa, abaami ba Yuda ne bajja ne bavunnamira kabaka; kabaka n’abawuliriza. 18 Ne baleka ennyumba ya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe ne batandika okusinza ebikondo n’ebifaananyi; Katonda n’asunguwalira* Yuda ne Yerusaalemi olw’ekibi kyabwe. 19 Yakuwa n’abatumiranga bannabbi okubakomyawo gy’ali; ne babalabulanga naye ne bagaana okuwuliriza.+
20 Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku* Zekkaliya mutabani wa Yekoyaada+ kabona, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’abagamba nti: “Bw’ati Katonda ow’amazima bw’agamba, ‘Lwaki mumenya ebiragiro bya Yakuwa? Ebintu tebijja kubagendera bulungi? Olw’okuba mulese Yakuwa, naye ajja kubaleka.’”+ 21 Kyokka ne beekobaana+ ne bamukubira amayinja mu luggya lw’ennyumba ya Yakuwa+ nga bakolera ku kiragiro kya kabaka. 22 Bw’atyo Kabaka Yekowaasi n’atajjukira kwagala okutajjulukuka Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kwe yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali afa yagamba nti: “Yakuwa akubonereze olw’ekyo ky’okoze.”+
23 Awo omwaka bwe gwali gutandika, eggye lya Busuuli lyajja okulwanyisa Yekowaasi, ne lirumba Yuda ne Yerusaalemi.+ Ne batta abaami bonna+ ab’abantu, era ebintu byonna bye baabanyagako ne babiweereza kabaka wa Ddamasiko. 24 Wadde ng’eggye lya Busuuli ery’abalumba lyalimu abantu batono, Yakuwa yawaayo mu mukono gwabwe eggye lya Yuda eryali eddene ennyo,+ kubanga baali balese Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe; bwe batyo Abasuuli ne babonereza Yekowaasi. 25 Bwe baagenda (baamuleka alina ebisago eby’amaanyi*), abaweereza be ne bamwekobaanira olw’okuyiwa omusaayi gw’abaana ba* Yekoyaada+ kabona, ne bamuttira ku kitanda kye.+ Bw’atyo n’afa era ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi,+ naye tebaamuziika we baaziikanga bakabaka.+
26 Bano be baamwekobaanira:+ Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu. 27 Ebikwata ku baana be n’ebyo ebyalangirirwa nti bijja kumutuukako,+ era n’ebikwata ku ngeri gye yaddaabirizaamu ennyumba ya Katonda ow’amazima,+ byawandiikibwa mu biwandiiko eby’Ekitabo kya Bakabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.