Eby’Abaleevi
7 “‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo olw’omusango:+ Kitukuvu nnyo. 2 Ensolo y’ekiweebwayo olw’omusango enettirwanga mu kifo awattirwa ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa, era omusaayi gwayo+ gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 3 Anaawangayo amasavu gaayo+ gonna nga mw’otwalidde n’omukira omusava, amasavu agali ku byenda, 4 n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko agali okumpi n’ekiwato. Ate era anaggyangako ensigo n’amasavu agali ku kibumba.+ 5 Kabona anaabyokeranga ku kyoto ng’ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.+ Ekyo kiweebwayo olw’omusango. 6 Buli musajja aweereza nga kabona anaakiryanga,+ era kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu. Kintu kitukuvu nnyo.+ 7 Etteeka ery’ekiweebwayo olw’ekibi likwata ne ku kiweebwayo olw’omusango; kinaabanga kya kabona anaabanga akiwaddeyo okutangirira ebibi.+
8 “‘Kabona bw’anaaweerangayo omuntu ekiweebwayo ekyokebwa, y’anaatwalanga eddiba+ ly’ensolo y’ekiweebwayo ekyokebwa omuntu oyo gy’anaabanga aleese gy’ali.
9 “‘Buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu kabiga oba mu ntamu oba ku kikalango,+ kinaabanga kya kabona akiwaddeyo. Kinaabanga kikye.+ 10 Naye ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaabanga kitabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni+ oba ekikalu,+ kinaabanga kya batabani ba Alooni bonna, era banaakigabananga kyenkanyi.
11 “‘Lino lye tteeka erya ssaddaaka ey’emirembe+ omuntu gy’anaawangayo eri Yakuwa: 12 Bw’anaagiwangayo olw’okwebaza,+ anaagiwangayo wamu n’obugaati obwetooloovu obutali buzimbulukuse obuteekeddwamu amafuta g’ezzeyituuni, n’obugaati obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta g’ezzeyituuni, era n’obugaati obwetooloovu* obukoleddwa mu buwunga obutaliimu mpulunguse obukandiddwa obulungi nga buteekeddwamu amafuta g’ezzeyituuni. 13 Ekiweebwayo kye anaakiweerangayo wamu n’obugaati obwetooloovu* obuzimbulukuse, ne ssaddaaka ze ez’emirembe ez’okwebaza. 14 Ku buli kika ky’obugaati obwo anaatoolangako kamu n’akawaayo ng’ekiweebwayo ekitukuvu eri Yakuwa; bunaabanga bwa kabona anaamansiranga omusaayi gw’ensolo za ssaddaaka ez’emirembe.+ 15 Ennyama ya ssaddaaka ze ez’emirembe ez’okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw’anaagiwangayo. Tabangako gy’afissaawo okutuusa ku makya.+
16 “‘Ssaddaaka gy’awaayo bw’eba nga ya kutuukiriza bweyamo+ oba nga kiweebwayo ekya kyeyagalire,+ eneeriibwanga ku lunaku lw’agiwaddeyo, era eneebanga efisseewo esobola okuliibwa enkeera. 17 Naye ennyama ya ssaddaaka eneebanga esigaddewo okutuusa ku lunaku olw’okusatu eneeyokebwanga omuliro.+ 18 Kyokka ennyama ya ssaddaaka ye ey’emirembe bw’eneeriibwanga ku lunaku olw’okusatu, oyo anaabanga agiwaddeyo taasiimibwenga, era taagiganyulwengamu; kintu ekyenyinyaza, era oyo anaagiryangako anaabonerezebwanga olw’ensobi ye.+ 19 Ennyama eneekoonanga ku kintu ekitali kirongoofu teeriibwenga. Eneeyokebwanga omuliro. Omuntu yenna omulongoofu ayinza okulya ku nnyama ennongoofu.
20 “‘Naye omuntu yenna atali mulongoofu anaalyanga ku nnyama ya ssaddaaka ya Yakuwa ey’emirembe, anattibwanga.+ 21 Omuntu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu, ka bube obutali bulongoofu bw’omuntu,+ oba ensolo etali nnongoofu,+ oba ekintu kyonna ekitali kirongoofu ekyenyinyaza,+ n’alya ku nnyama ya ssaddaaka ey’emirembe eya Yakuwa, omuntu oyo anattibwanga.’”
22 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 23 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Temulyanga masavu+ ag’ente ennume oba ag’endiga ento ennume oba ag’embuzi. 24 Amasavu g’ensolo esangiddwa ng’efudde n’ago ag’ensolo ettiddwa ensolo ginnaayo, gayinza okukozesebwa mu ngeri endala yonna, naye temugalyanga.+ 25 Omuntu yenna anaalyanga ku masavu g’ensolo gy’awaddeyo ng’ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, anattibwanga.
26 “‘Temulyanga ku musaayi gwonna+ yonna gye munaabeeranga, ka gube ogw’ekinyonyi oba ogw’ensolo. 27 Omuntu yenna anaalyanga ku musaayi, anattibwanga.’”+
28 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 29 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Buli anaaleetanga ssaddaaka ye ey’emirembe eri Yakuwa, anaabangako ky’aggyako n’akiwa Yakuwa.+ 30 Anaaleeteranga mu ngalo ze amasavu+ n’ekifuba, n’abiwaayo ng’ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, era anaabiwuubirawuubiranga mu maaso ga Yakuwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.+ 31 Amasavu kabona anaagookeranga ku kyoto,+ naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be.+
32 “‘Kabona munaamuwanga okugulu okwa ddyo ng’ekitundu ekitukuvu ekiggiddwa ku ssaddaaka zammwe ez’emirembe.+ 33 Mutabani wa Alooni anaawangayo omusaayi gwa ssaddaaka ez’emirembe n’amasavu y’anaatwalanga okugulu okwa ddyo ng’omugabo gwe.+ 34 Kubanga ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa n’okugulu kw’ekitundu ekitukuvu mbiggya ku ssaddaaka ez’emirembe ez’Abayisirayiri, ne mbiwa Alooni kabona ne batabani be ng’etteeka ery’olubeerera eri Abayisirayiri.+
35 “‘Ogwo gwe mugabo oguggibwa ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, ogwaweebwa bakabona, Alooni ne batabani be, ku lunaku lwe yabaleeta okuweereza Yakuwa nga bakabona.+ 36 Yakuwa yalagira Abayisirayiri okuwa Alooni ne batabani be omugabo ogwo ku lunaku lwe yabafukako amafuta.+ Lino tteeka lya lubeerera mu mirembe gyabwe gyonna.’”
37 Eryo lye tteeka erikwata ku kiweebwayo ekyokebwa,+ ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ ekiweebwayo olw’ekibi,+ ekiweebwayo olw’omusango,+ ssaddaaka ey’okutongozebwa ku bwakabona,+ ne ssaddaaka ey’emirembe,+ 38 nga Yakuwa bwe yalagira Musa ku Lusozi Sinaayi+ ku lunaku lwe yalagira Abayisirayiri okuwangayo ebiweebwayo byabwe eri Yakuwa mu ddungu lya Sinaayi.+