Eby’Abaleevi
10 Awo Nadabu ne Abiku,+ batabani ba Alooni, buli omu n’akwata ekyoterezo kye n’akissaako omuliro n’obubaani.+ Ne baleeta mu maaso ga Yakuwa omuliro ogutakkirizibwa,+ gwe yali tabalagidde kuwaayo. 2 Awo omuliro ne guva eri Yakuwa ne gubookya,+ ne bafiira mu maaso ga Yakuwa.+ 3 Musa n’agamba Alooni nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nnaatukuzibwa mu abo abali okumpi nange,+ era nnaagulumizibwa mu maaso g’abantu bonna.’” Alooni n’asirika.
4 Awo Musa n’ayita Misayeri ne Erizafani batabani ba Wuziyeeri+ taata wa Alooni omuto, n’abagamba nti: “Mujje musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye mu kifo ekitukuvu mugitwale ebweru w’olusiisira.” 5 Awo ne bajja ne bagisitula nga gikyali mu makanzu ne bagitwala ebweru w’olusiisira, nga Musa bwe yali abagambye.
6 Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abalala nti: “Temulema kufaayo ku nviiri zammwe era temuyuza byambalo byammwe,+ muleme okufa, era Katonda aleme okusunguwalira ekibiina kyonna. Baganda bammwe, ekibiina kyonna ekya Isirayiri, be banaakaabira abo Yakuwa b’asse n’omuliro. 7 Musigale kumpi n’omulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, muleme okufa, kubanga mwafukibwako amafuta ga Yakuwa amatukuvu.”*+ Ne bakola nga Musa bwe yabagamba.
8 Awo Yakuwa n’agamba Alooni nti: 9 “Ggwe ne batabani bo temunywanga ku mwenge wadde ekitamiiza kyonna nga mujja mu weema ey’okusisinkaniramu,+ muleme okufa. Tteeka lya lubeerera eri ggwe ne bazzukulu bo. 10 Kino kijja kubasobozesa okwawula ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, ekirongoofu n’ekitali kirongoofu,+ 11 era n’okuyigiriza Abayisirayiri amateeka gonna Yakuwa g’abawadde okuyitira mu Musa.”+
12 Musa n’agamba Alooni ne batabani be, Eriyazaali ne Isamaali, abaali basigaddewo nti: “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekifisseewo ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, mukiriire okumpi n’ekyoto+ ng’omugaati ogutali muzimbulukuse, kubanga kintu kitukuvu nnyo.+ 13 Mukiriire mu kifo ekitukuvu,+ kubanga gwe mugabo gwo era gwe mugabo gwa batabani bo okuva ku biweebwayo eri Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, kubanga ekyo kye bandagidde. 14 Era ggwe ne batabani bo ne bawala bo,+ munaaliiranga mu kifo ekirongoofu ekifuba ky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’okugulu kw’ekiweebwayo ekitukuvu,+ kubanga bikuweereddwa ng’omugabo gwo era ng’omugabo gwa batabani bo oguggiddwa ku ssaddaaka ez’emirembe ez’Abayisirayiri. 15 Okugulu kw’ekiweebwayo ekitukuvu era n’ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa awamu n’ebiweebwayo eby’amasavu ebyokebwa n’omuliro, binaaleetebwanga ne biwuubibwawuubibwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa; binaabanga mugabo gwa lubeerera gy’oli n’eri batabani bo,+ nga Yakuwa bw’alagidde.”
16 Awo Musa n’anoonya embuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi,+ era n’akizuula nti yali eyokeddwa. N’asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, era n’abagamba nti: 17 “Lwaki ekiweebwayo olw’ekibi temwakiriiridde mu kifo ekitukuvu,+ okuva bwe kiri nti kitukuvu nnyo era nga yakibawa musobole okwetikka ebibi by’ekibiina era n’okutangirira ebibi byabwe mu maaso ga Yakuwa? 18 Laba! Omusaayi gwakyo tegwaleeteddwa mu kifo ekitukuvu.+ Mwandibadde mukiriira mu kifo ekitukuvu nga bwe nnalagirwa.” 19 Awo Alooni n’agamba Musa nti: “Laba! Leero abantu baleese mu maaso ga Yakuwa ekiweebwayo kyabwe olw’ekibi n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa,+ naye era ne ntuukibwako ebintu bino. Kyandisanyusizza Yakuwa singa ndidde ekiweebwayo olw’ekibi leero?” 20 Musa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’amatira.