Eby’Abaleevi
11 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 2 “Mugambe Abayisirayiri nti, ‘Bino bye biramu ebiri ku nsi* bye muyinza okulya:+ 3 Buli nsolo erina ebinuulo ebyeyawuliddemu ddala era ezza obwenkulumu eyinza okuliibwa.
4 “‘Naye temulyanga nsolo zino ezizza obwenkulumu oba ezirina ebinuulo ebyeyawuddemu: eŋŋamira, ezza obwenkulumu naye terina binuulo byawulemu. Si nnongoofu gye muli.+ 5 N’akamyu ak’omu njazi,+ kubanga kazza obwenkulumu naye tekalina binuulo byeyawuddemu. Si kalongoofu gye muli. 6 N’akamyu ak’omu nsiko, kubanga kazza obwenkulumu naye tekalina binuulo byeyawuddemu. Si kalongoofu gye muli. 7 N’embizzi,+ kubanga erina ebinuulo ebyeyawuliddemu ddala, naye tezza bwenkulumu. Si nnongoofu gye muli. 8 Temulyanga nnyama yaabyo, era temubikwatangako nga bifudde. Si birongoofu gye muli.+
9 “‘Bino bye munaalyanga mu ebyo byonna ebibeera mu mazzi: Buli ekibeera mu mazzi ekirina amaggwa n’ebigalagamba munaakiryanga,+ ka kibe nga kibeera mu nnyanja oba mu migga. 10 Naye buli ekiri mu nnyanja ne mu migga ekitalina maggwa na bigalagamba, ku biramu byonna ebibeera mu bibinja ne ku biramu ebirala ebibeera mu mazzi, binaabanga bya muzizo gye muli. 11 Ebyo binaabanga bya muzizo gye muli era temubiryanga;+ ebifudde binaabanga bya muzizo gye muli. 12 Buli ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na bigalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.
13 “‘Bino bye biramu ebibuuka ebinaabanga eby’omuzizo gye muli; temubiryanga kubanga bya muzizo: empungu,+ makwanzi, ensega enzirugavu,+ 14 kamunye omumyufu n’ebika byonna ebya kamunye omuddugavu, 15 ebika bya nnamuŋŋoona byonna, 16 mmaaya, ekiwuugulu, enkunga, ebika bya magga byonna, 17 ekiwuugulu ekitono, sseddindi, ekiwuugulu eky’amatu amawanvu, 18 embaata ey’oku mazzi, kimbala, ensega, 19 enkoonamasonko, ebika byonna ebya ssekanyolya, dukipaasi, n’ekinyira. 20 Buli kiramu ekibeera mu bibinja ekirina ebiwaawaatiro* era ekitambuza amagulu ana, kinaabanga kya muzizo gye muli.
21 “‘Ku biramu byonna ebibeera mu bibinja ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana, munaalyanga ebyo byokka ebirina amagulu ag’okubuukisa agali waggulu w’ago ge bitambuza. 22 Ku ebyo, bino bye munaalyanga: ebika by’enzige ebitali bimu, amayenje, n’enseenene. 23 Ebiramu ebirala byonna ebibeera mu bibinja ebirina ebiwaawaatiro era ebirina amagulu ana bijja kuba bya muzizo gye muli. 24 Ebyo bijja kubafuulanga abatali balongoofu. Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 25 Omuntu yenna anaabisitulanga nga bifudde, anaayozanga ebyambalo bye,+ era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26 “‘Ensolo zonna ezirina ebinuulo ebyeyawuliddemu ddala naye nga tezizza bwenkulumu, teziibenga nnongoofu gye muli. Buli anaazikwatangako taabenga mulongoofu.+ 27 Ebiramu byonna ebitambuza ebibatu byabyo ku biramu byonna ebitambuza amagulu ana, si birongoofu gye muli. Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Buli anaabisitulanga nga bifudde anaayozanga ebyambalo bye,+ era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ Si birongoofu gye muli.
29 “‘Bino bye biramu eby’oku nsi ebibeera mu bibinja ebitali birongoofu gye muli: effukuzi, emmese,+ ebika byonna eby’eminya, 30 ekkonkome, enswaswa, omunya, omunya ogw’omu musenyu, ne nnawolovu. 31 Ebiramu ebyo ebibeera mu bibinja si birongoofu gye muli.+ Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+
32 “‘Buli kintu kye binaagwangako nga bifudde tekiibenga kirongoofu, ka kibe ekibya eky’omuti, oba ekyambalo, oba eddiba, oba ekibukutu. Ekintu kyonna ekikozesebwa kinannyikibwanga mu mazzi, era tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi, olwo ne kiryoka kiba ekirongoofu nate. 33 Bwe bigwanga mu kintu eky’ebbumba, mukyasanga, era ekintu kyonna ekibaddemu tekiibenga kirongoofu.+ 34 Emmere yonna eneegendangako amazzi agavudde mu kibya ekyo, teebenga nnongoofu, era eky’okunywa kyonna ekinaabanga mu kibya ekyo tekiibenga kirongoofu. 35 Ekintu kyonna kye binaagwangako nga bifudde, tekiibenga kirongoofu. Ka kabe kabiga oba ssigiri, kinaayasibwanga. Si birongoofu, era tebiibenga birongoofu gye muli. 36 Kyokka, singa bigwa mu luzzi oba mu kinnya omuterekebwa amazzi, ebyo bisigala birongoofu, naye buli anaakwatanga ku biramu ebyo nga bifudde taabenga mulongoofu. 37 Ebifudde bwe bigwanga ku nsigo y’ekimera egenda okusigibwa, ensigo eyo eneebanga nnongoofu. 38 Naye singa amazzi gafukibwa ku nsigo era ekimu ku bitundu by’ekyo ekifudde ne kigigwaako, teebenga nnongoofu gye muli.
39 “‘Singa ensolo yonna gye mukkirizibwa okulya efa, anaagikwatangako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 40 Omuntu yenna anaagiryangako anaayozanga ebyambalo bye era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ Omuntu yenna anaagisitulanga anaayozanga ebyambalo bye, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 41 Buli kiramu eky’oku nsi ekibeera mu bibinja kinaabanga kya muzizo+ gye muli. Tekiiriibwenga. 42 Temulyanga kiramu kyonna ekyewalula, oba obusolo obutono obutambuza amagulu ana, oba ebiramu byonna eby’oku nsi ebibeera mu bibinja ebirina amagulu amangi, kubanga bya muzizo.+ 43 Temwefuulanga eky’omuzizo olw’ekiramu kyonna ekibeera mu bibinja, era temweyonoonanga ne mufuuka abatali balongoofu olw’ebintu ebyo.+ 44 Nze Yakuwa Katonda wammwe;+ mwetukuzenga era mubenga batukuvu,+ kubanga nze ndi mutukuvu.+ N’olwekyo temwefuulanga abatali balongoofu olw’ebiramu ebibeera mu bibinja ebitambula ku nsi. 45 Kubanga nze Yakuwa eyabaggya mu nsi ya Misiri, ndyoke nkyoleke nti ndi Katonda wammwe;+ mubenga batukuvu+ kubanga ndi mutukuvu.+
46 “‘Eryo lye tteeka erikwata ku nsolo, ne ku biramu ebibuuka, ne ku buli kiramu ekibeera mu mazzi, ne ku buli kiramu ekibeera mu bibinja ekitambula ku nsi, 47 musobole okwawula ebitali birongoofu n’ebirongoofu, ebiramu ebirina okuliibwa n’ebyo ebitalina kuliibwa.’”+