2 Samwiri
19 Awo Yowaabu n’ategeezebwa nti: “Kabaka akaaba era akungubagira Abusaalomu.”+ 2 Ku lunaku olwo abantu bonna abaali bajaganya olw’obuwanguzi* ne batandika okukungubaga, olw’okuba baawulira nti Kabaka akungubagira mutabani we. 3 Abantu baakomawo mu kibuga kimpoowooze+ ku lunaku olwo, nga balinga abantu abakwatiddwa ensonyi olw’okuba badduse mu lutalo. 4 Kabaka yeebikka mu maaso n’atema emiranga ng’agamba nti: “Omwana wange Abusaalomu! Abusaalomu omwana wange, omwana wange!”+
5 Awo Yowaabu n’ajja eri kabaka mu nnyumba n’agamba nti: “Olwa leero oswazizza abaweereza bo bonna abawonyezza obulamu bwo leero, awamu n’obulamu bwa batabani bo,+ n’obwa bawala bo,+ n’obwa bakyala bo, n’obw’abazaana bo.+ 6 Oyagala abo abakukyawa n’okyawa abo abakwagala, kubanga olwa leero okiraze nti abaami bo n’abaweereza bo tebalina mugaso gy’oli; kubanga ndi mukakafu nti singa Abusaalomu abadde mulamu ng’abalala ffenna tufudde, ekyo kyandibadde kirungi mu maaso go. 7 Kale kaakano yimuka ogende oyogere n’abaweereza bo obazzeemu amaanyi,* kubanga ndayira mu linnya lya Yakuwa nti bw’otoogende, tewali muntu n’omu anaasigala naawe ekiro kya leero. Ekyo kijja kuba kibi nnyo gy’oli n’okusinga emitawaana gyonna gy’ofunye okuva mu buvubuka bwo okutuusa leero.” 8 Awo kabaka n’ayimuka n’agenda n’atuula ku mulyango gw’ekibuga, ne bagamba abantu bonna nti: “Kabaka atudde ku mulyango gw’ekibuga.” Abantu bonna ne bajja mu maaso ga kabaka.
Naye Abayisirayiri baali badduse nga buli omu azzeeyo ewuwe.+ 9 Abantu bonna ab’ebika bya Isirayiri baali bakaayana nga bagamba nti: “Kabaka ye yatununula mu mukono gw’abalabe baffe,+ era ye yatununula mu mukono gw’Abafirisuuti; naye kaakano adduse mu nsi ye olwa Abusaalomu.+ 10 Ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga,+ afiiridde mu lutalo.+ Kale kati lwaki temubaako kye mukola okukomyawo kabaka?”
11 Kabaka Dawudi n’atumira Zadooki+ ne Abiyasaali+ bakabona, n’abagamba nti: “Mwogere n’abakadde ba Yuda,+ mubagambe nti, ‘Lwaki mmwe mwandisembyeyo okukomyawo kabaka mu nnyumba ye, ng’ate ebigambo bya Isirayiri yonna bituuse ku kabaka gy’abeera? 12 Mmwe muli baganda bange; muli ggumba lyange era muli mubiri gwange.* Kale lwaki mmwe mwandisembyeyo okukomyawo kabaka?’ 13 Ate era mugambe Amasa+ nti, ‘Toli ggumba lyange era mubiri gwange? Kale Katonda ambonereze era ayongere ku kibonerezo kyange bw’otoofuuke mukulu wa ggye lyange okuva leero mu kifo kya Yowaabu.’”+
14 Bw’atyo n’akyusa* emitima gy’abasajja ba Yuda bonna ne bassa kimu, ne batumira kabaka ne bamugamba nti: “Komawo ggwe n’abaweereza bo bonna.”
15 Awo kabaka n’asitula okuddayo n’atuuka ku Yoludaani, era abantu ba Yuda ne bajja e Girugaali+ okusisinkana kabaka bamusomose Yoludaani. 16 Simeeyi+ mutabani wa Gera Omubenyamini, ow’e Bakulimu, n’ayanguwa okugenda ng’ali wamu n’abasajja ba Yuda okusisinkana Kabaka Dawudi, 17 era yali n’abasajja 1,000 okuva mu Benyamini. Ne Ziba+ omuweereza w’omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be 15 era n’abaweereza be 20 baayanguwa ne batuuka ku Yoludaani nga kabaka tannatuukawo. 18 Yayita* awasomokerwa okusomosa ab’omu nnyumba ya kabaka n’okumukolera byonna bye yali ayagala. Kabaka bwe yali anaatera okusomoka Yoludaani, Simeeyi mutabani wa Gera n’avunnama mu maaso ga kabaka. 19 Awo n’agamba kabaka nti: “Mukama wange nsonyiwa ensobi gye nnakola, era tojjukira kibi omuweereza wo kye yakola+ ku lunaku mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi. Kabaka k’aleme kukissaako mwoyo, 20 kubanga omuweereza wo akimanyi bulungi nti yayonoona; n’olwekyo, olwa leero mu b’ennyumba ya Yusufu yonna nze nsoose okujja okusisinkana mukama wange kabaka.”
21 Amangu ago Abisaayi+ mutabani wa Zeruyiya+ n’addamu nti: “Simeeyi tagwanidde kuttibwa olw’okukolimira oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta?”+ 22 Naye Dawudi n’agamba nti: “Kino kibakwatirako wa mmwe batabani ba Zeruyiya,+ mulyoke munziyize okukola kye njagala olwa leero? Ddala olwa leero omuntu yenna yandibadde attibwa mu Isirayiri? Sikimanyi nti olwa leero nze kabaka wa Isirayiri?” 23 Kabaka n’agamba Simeeyi nti: “Tojja kufa.” Awo kabaka n’amulayirira.+
24 Awo Mefibosesi+ muzzukulu wa Sawulo naye n’ajja okusisinkana kabaka. Yali tanaabanga bigere, wadde okumwa ebirevu,* wadde okwoza ebyambalo bye okuva ku lunaku kabaka lwe yagenda okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. 25 Mefibosesi bwe yatuuka* e Yerusaalemi okusisinkana kabaka, kabaka n’amubuuza nti: “Mefibosesi, lwaki tewagenda nange?” 26 Mefibosesi n’addamu nti: “Mukama wange kabaka, omuweereza wange+ ye yansalira amagezi. Kubanga omuweereza wo yali agambye nti, ‘Nteera amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende ne kabaka,’ kubanga omuweereza wo mulema.+ 27 Kyokka ye n’awaayiriza omuweereza wo eri mukama wange kabaka.+ Naye mukama wange kabaka alinga malayika wa Katonda ow’amazima. Kale kola ekyo ky’olaba nga kirungi mu maaso go. 28 Ab’ennyumba ya kitange bonna bandibadde battibwa mukama wange kabaka, naye wateeka omuweereza wo mu abo abalya ku mmeeza yo.+ Kale nnina nsonga ki kwe nnandibadde nsinziira okweyongera okukaabirira kabaka?”
29 Naye kabaka n’amugamba nti: “Lwaki weeyongera okwogera bw’otyo? Nsazeewo nti ggwe ne Ziba mugabane ekibanja.”+ 30 Mefibosesi n’agamba kabaka nti: “K’akitwale kyonna, kasita mukama wange kabaka akomyewo mirembe mu nnyumba ye.”
31 Awo Baluzirayi+ Omugireyaadi n’ava e Logerimu awerekereko kabaka amutuuse ku Yoludaani. 32 Baluzirayi yali mukadde nnyo; yalina emyaka 80, era yawanga kabaka emmere ebbanga lyonna kabaka lye yamala e Makanayimu,+ olw’okuba yali musajja mugagga nnyo. 33 Awo kabaka n’agamba Baluzirayi nti: “Somoka nange era ojja kuliiranga wamu nange e Yerusaalemi.”+ 34 Naye Baluzirayi n’agamba kabaka nti: “Nkyasigazzaayo emyaka* emeka nga ndi mulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi? 35 Kaakano nnina emyaka 80.+ Nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Omuweereza wo akyayinza okuwoomerwa by’alya ne by’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja n’abakazi abayimbi?+ Kati olwo lwaki omuweereza wo afuukira mukama wange kabaka omugugu? 36 Kiba kimala omuweereza wo okuwerekerako kabaka n’amutuusa ku Yoludaani. Kale lwaki kabaka yandimpadde empeera eno? 37 Nkwegayiridde, kkiriza omuweereza wo addeyo afiire mu kibuga ky’ewaabwe okumpi ne gye baaziika kitaawe ne nnyina.+ Naye omuweereza wo Kimamu+ wuuno. K’asomoke naawe mukama wange kabaka, era oyinza okumukolera kyonna ky’olaba nga kye kirungi mu maaso go.”
38 Awo kabaka n’agamba nti: “Kimamu ajja kusomoka nange, era nja kumukolera kyonna ekirabika nga kirungi mu maaso go; kyonna ky’onoonsaba okukukolera nja kukikukolera.” 39 Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka naye n’asomoka; kabaka n’anywegera Baluzirayi+ n’amwagaliza emikisa, oluvannyuma Baluzirayi n’addayo ewuwe. 40 Kabaka bwe yasomoka okugenda e Girugaali,+ Kimamu yasomoka naye. Abantu bonna aba Yuda n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’abantu ba Isirayiri baasomosa kabaka.+
41 Awo abasajja ba Isirayiri bonna ne bajja eri kabaka, ne bamugamba nti: “Lwaki baganda baffe abasajja b’omu Yuda baakuleese mu bubba ne bakusomosa Yoludaani, ggwe n’ab’omu nnyumba yo, n’abasajja bo bonna abali naawe?”+ 42 Awo abasajja bonna ab’omu Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti: “Olw’okuba kabaka atulinako oluganda olw’okumpi.+ Lwaki ekyo kibasunguwazizza? Waliwo ekintu kya kabaka kyonna kye tulidde, oba ekirabo ekituweereddwa?”
43 Naye abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti: “Tulina emigabo kkumi mu bwakabaka, era ne mu Dawudi tulina emigabo mingi okubasinga. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twandisoose okukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo abasajja ba Yuda bye baayogera by’asinza amaanyi* ebyo abasajja ba Isirayiri bye baayogera.