Engero
24 Tokwatirwanga abantu ababi obuggya,
Era teweegombanga kubeera nabo,+
2 Kubanga emitima gyabwe girowooza ku bikolwa bya bukambwe,
N’emimwa gyabwe gibeera gyogera ku kukola bintu bya mutawaana.
5 Omuntu ow’amagezi aba wa maanyi,+
Era olw’okumanya, omuntu yeeyongera okuba n’obuyinza.
6 Okusobola okulwana olutalo kyetaagisa obulagirizi obulungi,*+
Era bwe wabaawo abawi b’amagezi* abangi wabaawo obuwanguzi.*+
8 Ateekateeka okukola ebintu eby’akabi
Ajja kuyitibwa kalinkwe.+
11 Nunula abo abatwalibwa okuttibwa,
Era wonya abo abagenda okusanjagibwa.+
Mazima ddala, oyo akulaba ajja kukitegeera
Era ajja kusasula buli muntu okusinziira ku bikolwa bye.+
13 Mwana wange, lyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi;
Omubisi oguva mu bisenge by’omubisi gw’enjuki guwoomerera.
14 Kale, kimanye nti n’amagezi ga muganyulo gy’oli.+
Bw’ogafuna, ebiseera byo eby’omu maaso bijja kuba birungi
Era n’essuubi lyo teririggwaawo.+
15 Toba ng’omuntu omubi n’oteega okumenya ennyumba y’omutuukirivu;
Tosaanyaawo kifo ky’abeeramu.
16 Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka,+
Naye omubi yeesittala ng’afunye ekizibu.+
17 Omulabe wo bw’agwa, tosanyukanga,
Era bwe yeesittala, omutima gwo tegujaganyanga;+
18 Kubanga Yakuwa bw’akulaba ng’okola bw’otyo, anyiiga,
19 Tokwatibwanga busungu olw’abantu abakola ebibi;
Abantu ababi tobakwatirwanga buggya,
20 Kubanga ababi tebalina biseera bya mu maaso;+
Ettaala y’ababi ejja kuzikizibwa.+
21 Mwana wange, otyanga Yakuwa ne kabaka.+
Era tokolagananga na bawakanyi,*+
22 Kubanga emitawaana giribagwako mbagirawo.+
23 Era na bino byayogerwa ba magezi:
Okusaliriza mu kusala omusango si kirungi.+
24 Buli agamba omuntu omubi nti, “Oli mutuukirivu,”+
Abantu bajja kumukolimira era amawanga gajja kumuvumirira.
26 Abantu bajja kunywegera emimwa gy’omuntu addamu mu bwesimbu.*+
27 Teekateeka emirimu gyo egy’ebweru, era otereeze bulungi ennimiro yo,
Oluvannyuma ozimbe ennyumba yo.
28 Tolumirizanga muntu munno awatali nsonga.+
Era tokozesanga mimwa gyo kulimba balala.+
30 Nnayita ku nnimiro y’omugayaavu,+
Ku nnimiro y’emizabbibu ey’omuntu atalina magezi.
32 Nnagyetegereza ne nfumiitiriza nnyo;
Nnagitunuulira ne njiga essomo lino:
33 Bwe weebakamu katono, bw’osumagiramu katono,
Era bw’ozinga emikono owummuleko,
34 Obwavu bujja kukuzinda ng’omuzigu,
N’obwetaavu bukuzinde ng’omusajja akutte eby’okulwanyisa.+