Engero
23 Bw’otuulanga okuliira awamu ne kabaka,
Ogendereranga nnyo ebiba biteekeddwa mu maaso go;
2 Weefuganga*
Bw’oba oyagala nnyo okulya.
3 Teweegombanga mmere ye ewooma,
Kubanga ebuzaabuza.
4 Teweekooya kunoonya bya bugagga.+
Lekera awo era yoleka amagezi.*
6 Tolyanga mmere ya mukodo;*
Teweegombanga mmere ye ewooma,
7 Kubanga aba ng’oyo alina ky’aluubirira.
Akugamba nti: “Lya era onywe,” naye nga takitegeeza.*
8 Ojja kusesema by’olidde,
N’ebigambo ebirungi by’oyogedde bijja kukufa bwereere.
10 Tojjululanga kabonero ak’edda akalamba olusalosalo,+
Era toyingiriranga kibanja ky’abaana abatalina bakitaabwe.
11 Kubanga Omununuzi waabwe wa maanyi;
Ajja kubalwanirira.+
12 Ssaayo omwoyo ku ebyo ebikuyigirizibwa
Era wuliriza ebigambo eby’amagezi.
13 Tolekangayo kukangavvula mwana.*+
Bw’omukuba n’omuggo, tajja kufa.
14 Mukube n’omuggo,
Omuwonye okugenda emagombe.*
17 Omutima gwo ka guleme okukwatirwanga aboonoonyi ensaalwa,+
Naye tyanga Yakuwa olunaku lwonna,+
18 Ebiseera byo eby’omu maaso biryoke bibe birungi+
Era n’eby’osuubira bireme kugwa butaka.
19 Mwana wange, wuliriza ofuuke wa magezi,
Omutima gwo guluŋŋamizibwe mu kkubo ettuufu.
20 Tobanga mu abo abeekatankira omwenge,+
Wadde mu abo abavaabira ennyama,+
21 Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,+
Era okwebakiriza kwambaza omuntu enziina.
24 Kitaawe w’omutuukirivu anaabanga musanyufu,
Era buli azaala omwana ow’amagezi anaamwenyumiririzangamu.
25 Kitaawo ne nnyoko bajja kusanyuka,
Era omukazi eyakuzaala ajja kujaganya.
26 Mwana wange, mpa omutima gwo,
Era amaaso go ka gasanyukirenga amakubo gange.+
28 Ateega ng’omunyazi,+
Era ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa.
29 Baani abalina ennaku? Baani abeeraliikirira?
Baani abayomba? Baani abeemulugunya?
Baani abalina ebiwundu eby’obwereere? Baani abalina amaaso agamyuse?
31 Totunuulira bumyufu bwa mwenge
Nga gutangalijja mu kikopo era nga gukka bulungi mu mumiro,
32 Kubanga oluvannyuma gubojja ng’omusota,
Era guvaamu obusagwa ng’obw’omusota.
34 Era ojja kuba ng’omuntu agalamidde wakati mu nnyanja,
Oba ng’omuntu agalamidde waggulu ku mulongooti gw’ekyombo.
35 Ojja kugamba nti: “Bankubye, naye sirumiddwa.
Bankubye naye ne simanya.
Nnaazuukuka ddi+
Nzireyo ngunoonye nate?”