Danyeri
6 Daliyo yalaba nga kirungi okussaawo ab’amasaza 120 mu bwakabaka bwe bwonna.+ 2 Waaliwo abakungu basatu abaali babakulira, ng’omu ku bo ye Danyeri.+ Ab’amasaza+ baategeezanga abakungu abo ebintu byonna, kabaka aleme okufiirwa. 3 Danyeri yasukkuluma ku bakungu banne, ne ku b’amasaza, kubanga yalina omwoyo ogw’enjawulo;+ era kabaka yali ayagala okumuwa obuyinza ku bwakabaka bwonna.
4 Abakungu n’ab’amasaza ne banoonya kye bayinza okusinziirako okuvunaana Danyeri ku ngeri gye yali addukanyaamu emirimu gy’obwakabaka, naye ne batasobola kufuna kye bayinza kusinziirako kumuvunaana, era tebaamuzuulamu bukumpanya bwonna, kubanga yali mwesigwa, teyali mulagajjavu, era teyali mukumpanya. 5 Awo abasajja abo ne bagamba nti: “Tetujja kufuna kintu kyonna kye tuyinza kusinziirako kuvunaana Danyeri, okuggyako nga kikwata ku mateeka ga Katonda we.”+
6 Awo abakungu abo n’ab’amasaza ne bagenda bonna wamu mu maaso ga kabaka, ne bamugamba nti: “Wangaala emirembe n’emirembe, Ai kabaka Daliyo. 7 Abaami bonna, ab’amagombolola, ab’amasaza, abakungu, ne bagavana, bateesezza okuteekawo ekiragiro era n’okukwasisa etteeka, nti okumala ennaku 30, omuntu yenna anaasaba katonda yenna oba omuntu yenna okuggyako ggwe, Ai kabaka, alina okusuulibwa mu kinnya omuli empologoma.+ 8 Kaakano Ai kabaka, ssaawo etteeka era olisseeko omukono,+ libe nga terisobola kukyusibwa, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali, agatasobola kusazibwamu.”+
9 Awo Kabaka Daliyo n’assa omukono ku tteeka n’ekiragiro ekyo.
10 Naye Danyeri olwali okukitegeera nti etteeka lyali lissiddwako omukono, n’agenda mu nnyumba ye; amadirisa gaayo ag’ekisenge ekya waggulu agaali gatunudde e Yerusaalemi gaali maggule.+ Yafukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu olunaku n’asaba era n’atendereza Katonda we, nga bwe yalinga akola bulijjo. 11 Awo abasajja abo ne bayingira bonna wamu ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we amukwatirwe ekisa.
12 Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro kye yassaawo, ne bagamba nti: “Tewassa mukono gwo ku kiragiro ekyali kigamba nti okumala ennaku 30, omuntu yenna anaasaba katonda yenna oba omuntu yenna okuggyako ggwe, Ai kabaka, alina okusuulibwa mu kinnya omuli empologoma?” Kabaka n’addamu nti: “Bwe kityo bwe kiri ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali, agatasobola kusazibwamu.”+ 13 Amangu ago ne bagamba kabaka nti: “Ai kabaka, Danyeri, omu ku baawambibwa mu Yuda+ akunyoomye, era n’ekiragiro kye wassaako omukono takiwadde kitiibwa; asaba emirundi esatu buli lunaku.”+ 14 Kabaka olwawulira ebigambo ebyo, n’anakuwala nnyo, era n’alowooza engeri gye yali ayinza okuwonyaamu Danyeri; yamala olunaku lwonna ng’anoonya engeri y’okumuwonyaamu. 15 Oluvannyuma abasajja abo baagendera wamu bonna eri kabaka, ne bamugamba nti: “Ai kabaka, kijjukire nti okusinziira ku mateeka g’Abameedi n’Abaperusi, ekiragiro kyonna oba etteeka kabaka ly’assaawo terisobola kukyusibwa.”+
16 Awo kabaka n’alagira ne baleeta Danyeri ne bamusuula mu kinnya ekyalimu empologoma.+ Kabaka n’agamba Danyeri nti: “Katonda wo gw’oweereza obutayosa ajja kukuwonya.” 17 Ejjinja ne lireetebwa ne liteekebwa ku mulyango* gw’ekinnya, era kabaka n’assaako akabonero k’empeta ye n’akabonero k’empeta y’abaami be, waleme kubaawo kintu kyonna kikyusibwa ku bikwata ku Danyeri.
18 Kabaka n’agenda mu lubiri lwe, era ekiro ekyo teyalya kintu kyonna. Yagaana okusanyusibwa mu ngeri yonna* era otulo twamubula.* 19 Ku makya ennyo ng’emmambya yaakasala, kabaka yagolokoka n’agenda mangu ku kinnya ekyalimu empologoma. 20 Bwe yali anaatera okukituukako, n’akoowoola Danyeri mu ddoboozi ery’ennaku. Kabaka n’abuuza Danyeri nti: “Danyeri, omuweereza wa Katonda omulamu, Katonda wo gw’oweereza obutayosa yasobodde okukuwonya empologoma?” 21 Amangu ago Danyeri n’agamba kabaka nti: “Ai kabaka, wangaala emirembe n’emirembe. 22 Katonda wange yatumye malayika we n’aziba emimwa gy’empologoma,+ era tezinkozeeko kabi konna,+ kubanga mbadde sirina musango mu maaso ge, era nga sirina kikyamu kyonna kye nnakukola, Ai kabaka.”
23 Awo kabaka n’asanyuka nnyo era n’alagira nti Danyeri aggibwe mu kinnya. Danyeri bwe yaggibwa mu kinnya yali tatuusiddwako kabi konna, kubanga yali yeesize Katonda we.+
24 Awo kabaka n’alagira, ne baleeta abasajja abaali bavunaanye* Danyeri omusango, ne basuulibwa mu kinnya ekyalimu empologoma awamu n’abaana baabwe ne bakazi baabwe. Empologoma zaabavumbagira ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna nga tebannaba na kutuuka wansi mu kinnya.+
25 Awo Kabaka Daliyo n’awandiikira abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’ennimi ez’enjawulo abaali babeera mu nsi yonna nti:+ “Mube n’emirembe mingi! 26 Ntaddewo etteeka nti, mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwange, abantu bonna balina okutyanga Katonda wa Danyeri n’okumussangamu ekitiibwa,+ kubanga ye Katonda omulamu, era abeerawo emirembe n’emirembe. Obwakabaka bwe tebulizikirizibwa n’obufuzi bwe bwa mirembe gyonna.+ 27 Awonya,+ alokola, era akola obubonero n’ebyamagero mu ggulu ne ku nsi,+ kubanga yawonyezza Danyeri amaala g’empologoma.”
28 Danyeri n’ayitimuka mu bwakabaka bwa Daliyo+ ne mu bwakabaka bwa Kuulo Omuperusi.+