Danyeri
10 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo+ owa Buperusi, Danyeri, eyali ayitibwa Berutesazza,+ yafuna okubikkulirwa; obubaka obwo bwali bwa mazima era bwali bukwata ku lutalo olw’amaanyi. Danyeri yategeera obubaka obwo, era yayambibwa okutegeera bye yalaba.
2 Mu nnaku ezo, nze Danyeri nnali mmaze wiiki ssatu nnamba nga nkungubaga.+ 3 Nnali sirya mmere nnungi, nga sirya nnyama, wadde okunywa omwenge, era mu wiiki ezo essatu seesiiga mafuta. 4 Ku lunaku olw’abiri mu ennya olw’omwezi ogusooka, bwe nnali ku lubalama lw’omugga omunene, Omugga Tiguliisi,*+ 5 nnayimusa amaaso ne ndaba omusajja eyali ayambadde olugoye olwa kitaani+ era nga yeesibye mu kiwato omusipi ogwa zzaabu ow’e Yufazi. 6 Omubiri gwe gwalinga kirisoliti,+ obwenyi bwe bwali bwakaayakana ng’ekimyanso, amaaso ge gaali ng’emimuli egyaka, emikono gye n’ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule,+ ate eddoboozi lye lyali ng’eddoboozi ly’ekibiina ky’abantu ekinene. 7 Nze nzekka Danyeri, nze nnalaba okwolesebwa okwo; abasajja be nnali nabo tebaalaba kwolesebwa okwo.+ Naye baakankana nnyo era ne badduka ne beekweka.
8 Nnasigala nzekka, era bwe nnafuna okwolesebwa okwo okw’ekitalo ne nzigweeramu ddala amaanyi, endabika yange n’ekyukira ddala, era ne nnafuyira ddala.+ 9 Awo ne mmuwulira ng’ayogera; naye bwe nnamuwulira, ne nneebaka otulo tungi nga nneevuunise ku ttaka.+ 10 Naye omukono ne gunkwatako+ ne gunnyeenya, ne nzuukuka ne nfukamira ku maviivi ne nsimba emikono ku ttaka. 11 Awo n’aŋŋamba nti:
“Ggwe Danyeri, omusajja ow’omuwendo ennyo,*+ ssaayo omwoyo ku bye ŋŋenda okukugamba. Yimirira, kubanga ntumiddwa gy’oli.”
Bwe yaŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana.
12 Awo n’aŋŋamba nti: “Totya ggwe Danyeri,+ kubanga okuva ku lunaku lwe watandika okussaayo omutima okutegeera amakulu g’ebintu bino era n’okwetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era kaakano nzize olw’ebigambo byo.+ 13 Kyokka omulangira+ w’obwakabaka bwa Buperusi yanziyiza okumala ennaku 21. Naye Mikayiri,*+ omu ku balangira abakulu* yajja n’annyamba, era nnasigala eyo okumpi ne bakabaka ba Buperusi. 14 Nzize okukuyamba okutegeera ebirituuka ku bantu bo mu nnaku ezisembayo,+ kubanga okwolesebwa kukwata ku biribaawo mu biseera eby’omu maaso.”+
15 Bwe yaŋŋamba ebigambo ebyo, ne ntunula wansi ne nnemererwa okwogera. 16 Awo oyo eyali afaanana ng’omuntu n’akwata ku mimwa gyange,+ ne njasamya akamwa ne ŋŋamba oyo eyali ayimiridde mu maaso gange nti: “Mukama wange, okwolesebwa kuno kundeetedde okukankana era mpeddemu amaanyi.+ 17 Kale nze omuweereza wo, nnyinza ntya okwogera naawe mukama wange?+ Kubanga mpeddemu amaanyi era n’omukka gumpeddemu.”+
18 Oyo eyali afaanana ng’omuntu n’addamu n’ankwatako n’anzizaamu amaanyi.+ 19 N’aŋŋamba nti: “Totya+ ggwe omusajja ow’omuwendo ennyo.*+ Emirembe gibe naawe.+ Ddamu amaanyi, era guma.” Bwe yayogera nange ne nziramu amaanyi ne ŋŋamba nti: “Mukama wange k’ayogere, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”
20 Awo n’aŋŋamba nti: “Omanyi lwaki nzize gy’oli? Kaakano ŋŋenda kuddayo nnwane n’omulangira wa Buperusi.+ Bwe nnaagenda, omulangira wa Buyonaani ajja kujja. 21 Naye ŋŋenda kukubuulira ebintu ebiwandiikiddwa mu biwandiiko eby’amazima. Tewali mulala annyamba mu bintu bino wabula Mikayiri,+ omulangira wammwe.+