Yokaana
1 Ku lubereberye waaliwo Kigambo.+ Kigambo yali ne Katonda,+ era Kigambo yali katonda.+ 2 Ono ku lubereberye yali ne Katonda. 3 Ebintu byonna byakolebwa okuyitira mu ye,+ era w’ataali tewali kintu kyonna kyakolebwa.
4 Obulamu okubaawo bwayitira mu ye, era obulamu bwali kitangaala eri abantu.+ 5 Era ekitangaala kyakira mu kizikiza,+ naye ekizikiza tekikisinzizza maanyi.
6 Waaliwo omusajja eyatumibwa ng’omubaka wa Katonda; yali ayitibwa Yokaana.+ 7 Omusajja ono yajja ng’omujulirwa okusobola okuwa obujulirwa ku kitangaala,+ abantu aba buli kika basobole okukkiriza nga bayitira mu ye. 8 Si ye yali ekitangaala ekyo,+ naye yajja okuwa obujulirwa ku kitangaala ekyo.
9 Ekitangaala eky’amazima ekyakira abantu aba buli kika kyali kinaatera okujja mu nsi.+ 10 Yali* mu nsi,+ era ensi yakolebwa okuyitira mu ye,+ naye teyamumanya. 11 Yajja mu nsi ye, naye abantu be tebaamukkiriza. 12 Naye abo bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda,+ kubanga bakkiririza mu linnya lye.+ 13 Era okuzaalibwa kwabwe tekwava mu musaayi, oba mu kwagala okw’omubiri oba okw’abantu wabula kwava eri Katonda.+
14 Kigambo yafuuka omuntu*+ n’abeera mu ffe, era twalaba ekitiibwa kye, ekitiibwa omwana eyazaalibwa omu yekka+ ky’afuna okuva eri Kitaawe; era yali ajjudde ekisa eky’ensusso n’amazima. 15 (Yokaana yamuwaako obujulirwa era yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Ono gwe nnayogerako nti ‘Oyo anvaako emabega ansinga, kubanga yansooka okubaawo.’”)+ 16 Ffenna twafuna ekisa eky’ensusso kingi okuva gy’ali olw’okuba ajjudde ekisa eky’ensusso. 17 Kubanga Amateeka gaaweebwa okuyitira mu Musa,+ naye ekisa eky’ensusso+ n’amazima byo byayitira mu Yesu Kristo.+ 18 Tewali muntu yali alabye Katonda;+ omwana eyazaalibwa omu yekka alinga Katonda,*+ ali ku lusegere lwa Kitaawe,*+ y’annyonnyola ebimukwatako.+
19 Buno bwe bujulirwa Yokaana bwe yawa, Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva e Yerusaalemi okumubuuza nti: “Ggwe ani?”+ 20 Teyagaana kwanukula, naye yayogera kaati nti: “Si nze Kristo.” 21 Ne bamubuuza nti: “Kati olwo ggwe ani? Ggwe Eriya?”+ N’abaddamu nti: “Nedda!” “Ggwe Nnabbi?”+ N’addamu nti: “Nedda!” 22 Awo ne bamugamba nti: “Ggwe ani? Tubuulire tusobole okubaako kye tuddamu abo abaatutumye. Ggwe weeyogerako otya?” 23 N’abagamba nti: “Nze ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu mu ddoboozi ery’omwanguka nti, ‘Mutereeze ekkubo lya Yakuwa,’*+ nga nnabbi Isaaya bwe yagamba.”+ 24 Abo baali batumiddwa Bafalisaayo. 25 Awo ne bamubuuza nti: “Kati olwo lwaki obatiza bw’oba nga si ggwe Kristo, oba Eriya, oba Nnabbi?” 26 Yokaana n’abaddamu nti: “Nze mbatiza mu mazzi. Waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, 27 y’oyo anvaako emabega, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”+ 28 Ebintu bino byaliwo mu Bessaniya emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yali abatiriza.+
29 Olunaku olwaddako n’alaba Yesu ng’ajja gy’ali, n’agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga+ owa Katonda, aggyawo ebibi+ by’ensi!+ 30 Ono gwe nnayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ansinga, kubanga ye yansooka okubaawo.’+ 31 Nange nnali simumanyi, naye nnajja mbatiza mu mazzi asobole okumanyibwa eri Isirayiri.”+ 32 Era Yokaana yawa obujulirwa ng’agamba nti: “Nnalaba omwoyo nga gukka ng’ejjiba okuva mu ggulu, ne gumusigalako.+ 33 Nange nnali simumanyi, naye Oyo eyantuma okubatiza mu mazzi yaŋŋamba nti, ‘Gw’onoolaba ng’omwoyo gumukkako era ne gumusigalako,+ y’oyo abatiza n’omwoyo omutukuvu.’+ 34 Ekyo nnakiraba, era mpadde obujulirwa nti ono ye Mwana wa Katonda.”+
35 Olunaku olwaddako Yokaana yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36 era bwe yalaba Yesu ng’ayitawo, n’agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga+ owa Katonda!” 37 Abayigirizwa abo ababiri bwe baamuwulira ng’ayogera ekyo, ne bagoberera Yesu. 38 Yesu n’akyuka, n’abalaba nga bamugoberera, n’ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamugamba nti: “Labbi, (nga bwe kiba kivvuunuddwa kitegeeza, “Omuyigiriza”), obeera wa?” 39 N’abagamba nti: “Mujje mulabeyo.” Awo ne bagenda ne balaba gye yali abeera, ne babeera naye ku lunaku olwo; zaali ssaawa nga kkumi.* 40 Andereya+ muganda wa Simooni Peetero y’omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana bye yayogera, ne bagoberera Yesu. 41 Yasooka kusanga muganda we Simooni, n’amugamba nti: “Tuzudde Masiya”+ (nga bwe kiba kivvuunuddwa kitegeeza, “Kristo”), 42 era n’amutwala eri Yesu. Yesu bwe yamulaba n’amugamba nti: “Ggwe Simooni+ omwana wa Yokaana; ojja kuyitibwanga Keefa” (erivvuunulwa nti, “Peetero”).+
43 Olunaku olwaddako, Yesu n’ayagala okugenda e Ggaliraaya. Awo n’asanga Firipo+ n’amugamba nti: “Beera mugoberezi wange.” 44 Firipo yali abeera Besusayida, ekibuga Andereya ne Peetero gye baali babeera. 45 Firipo n’asanga Nassanayiri+ n’amugamba nti: “Tusanze Yesu omwana wa Yusufu+ ow’e Nazaaleesi, Musa gwe yawandiikako mu Mateeka era ne Bannabbi gwe baawandiikako.” 46 Naye Nassanayiri n’amuddamu nti: “Waliwo ekirungi ekiyinza okuva e Nazaaleesi?” Firipo n’amugamba nti: “Jjangu olabe.” 47 Yesu bwe yalaba Nassanayiri ng’ajja gy’ali n’agamba nti: “Laba Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”+ 48 Nassanayiri n’agamba nti: “Kijja kitya okuba nti ommanyi?” Yesu n’amuddamu nti: “Nnakulabye ng’otudde wansi w’omutiini nga Firipo tannakuyita.” 49 Nassanayiri n’amuddamu nti: “Labbi, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Isirayiri.”+ 50 Yesu n’amuddamu nti: “Okkirizza olw’okuba nkugambye nti nnakulabye wansi w’omutiini? Ojja kulaba ebintu ebisinga bino.” 51 Era n’amugamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti mujja kulaba eggulu nga libikkuse, nga bamalayika ba Katonda bambuka era nga bakka eri Omwana w’omuntu.”+