2 Samwiri
16 Dawudi bwe yali ng’ayisizza katono ku ntikko y’olusozi,+ n’asisinkana Ziba+ omuweereza wa Mefibosesi+ ng’alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati 200, n’ebitole 100 eby’ezzabbibu enkalu, n’ebitole 100 eby’ebibala eby’omu kiseera eky’omusana,* n’ensumbi ennene ey’omwenge.+ 2 Kabaka n’abuuza Ziba nti: “Bino oleese byaki?” Ziba n’amuddamu nti: “Endogoyi za kwebagalwa ab’omu nnyumba ya kabaka; emigaati n’ebibala eby’omu kiseera eky’omusana bya kuliibwa basajja bo; ate omwenge gwa kunywebwa abo abanaaba bakooyedde mu ddungu.”+ 3 Kabaka kyeyava amubuuza nti: “Omwana* wa mukama wo ali ludda wa?”+ Ziba n’amuddamu nti: “Ali mu Yerusaalemi, kubanga yagambye nti, ‘Olwa leero ennyumba ya Isirayiri ejja kunziriza obwakabaka bwa kitange.’”+ 4 Kabaka n’agamba Ziba nti: “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi bibyo.”+ Ziba n’amuddamu nti: “Nvunnamye mu maaso go, era ka nsiimibwe mu maaso ga mukama wange kabaka.”+
5 Kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, ne wavaayo omusajja ow’omu nnyumba ya Sawulo ayitibwa Simeeyi,+ mutabani wa Gera, n’ajja ng’akolima.+ 6 N’akasukira Dawudi n’abaweereza be bonna amayinja, awamu n’abantu bonna, n’abasajja ab’amaanyi abaali ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo n’ogwa kkono. 7 Simeeyi n’akolimira Dawudi ng’agamba nti: “Genda eri, genda eri, ggwe omusajja omutemu era atalina mugaso! 8 Yakuwa akusasudde olw’okutta ab’ennyumba ya Sawulo ne weddiza obwakabaka bwe. Obwakabaka bwo Yakuwa kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo, era kaakano emitawaana gikujjidde olw’okuba oli mutemu!”+
9 Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya+ n’agamba kabaka nti: “Lwaki embwa eno enfu+ ekolimira mukama wange kabaka?+ Ka ŋŋende mmutemeko omutwe.”+ 10 Naye kabaka n’agamba nti: “Kino kibakwatirako wa mmwe batabani ba Zeruyiya?+ Mumuleke ankolimire+ kubanga Yakuwa amugambye nti,+ ‘Kolimira Dawudi! Kale ani ayinza okugamba nti, ‘Lwaki okoze bw’otyo?’” 11 Dawudi n’agamba Abisaayi n’abaweereza be bonna nti: “Bwe kiba nti mutabani wange gwe nneezaalira ayagala kunzita,+ ate ye Omubenyamini+ anaakola ki? Mumuleke ankolimire kubanga Yakuwa y’amugambye! 12 Oboolyawo Yakuwa anaalaba ennaku yange+ era Yakuwa anampa emikisa mu kifo ky’ebikolimo ebinkolimiddwa olwa leero.”+ 13 Awo Dawudi n’abasajja be ne beeyongerayo mu kkubo, ate ye Simeeyi n’atambulira ku mabbali g’olusozi mu maaso ga Dawudi, ng’agenda akolima,+ ng’akasuka amayinja, era ng’afuumuula enfuufu nnyingi.
14 Kabaka n’abantu bonna abaali naye ne batuuka gye baali bagenda nga bakooye, era ne bawummulako.
15 Awo Abusaalomu n’abasajja ba Isirayiri bonna ne batuuka mu Yerusaalemi, era Akisoferi+ yali naye. 16 Kusaayi+ Omwaluki+ mukwano gwa Dawudi* bwe yagenda eri Abusaalomu, n’agamba Abusaalomu nti: “Kabaka awangaale!+ Kabaka awangaale!” 17 Awo Abusaalomu n’abuuza Kusaayi nti: “Kuno kwe kwagala okutajjulukuka kw’olaze mukwano gwo? Lwaki tewagenda ne mukwano gwo Dawudi?” 18 Kusaayi n’agamba Abusaalomu nti: “Nnali siyinza kugenda naye. Nze mbeera ku ludda lw’oyo alondeddwa Yakuwa, abantu bano, n’abasajja ba Isirayiri bonna, era oyo gwe nnaabeeranga naye. 19 Ate era kino nkiddamu nti, Ani gwe nnaaweereza? Si mutabani we? Nga bwe nnaweerezanga kitaawo, bwe ntyo bwe nja okukuweereza.”+
20 Awo Abusaalomu n’agamba Akisoferi nti: “Mutuwe amagezi,+ kiki kye tuba tukola?” 21 Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti: “Weegatte n’abazaana ba kitaawo+ be yaleka okukuuma ennyumba.*+ Abayisirayiri bonna bajja kuwulira nti weekyayisizza eri kitaawo, era abo abakuwagira bajja kweyongera amaanyi.” 22 Awo ne basimbira Abusaalomu weema waggulu ku nnyumba,+ Abusaalomu ne yeegatta n’abazaana ba kitaawe+ nga Isirayiri yonna eraba.+
23 Mu biro ebyo amagezi Akisoferi+ ge yawanga gaali gatwalibwa ng’agavudde eri* Katonda ow’amazima. Bwe gatyo amagezi gonna Akisoferi ge yawanga bwe gaatwalibwanga Dawudi ne Abusaalomu.