2 Samwiri
4 Isu-bosesi+ mutabani wa Sawulo bwe yawulira nti Abuneeri yali afiiridde e Kebbulooni,+ amaanyi ne gamuggwaamu* era Abayisirayiri bonna ne beeraliikirira. 2 Waaliwo abasajja babiri abaali bakulira ebibinja by’abazigu ebya mutabani wa Sawulo; omu yali ayitibwa Bbaana ate omulala ng’ayitibwa Lekabu, era baali batabani ba Limmoni Omubeerosi, ow’omu kika kya Benyamini. (Beerosi+ nakyo kyali kitwalibwa okuba ekitundu kya Benyamini. 3 Ababeerosi baddukira e Gittayimu,+ era babeera eyo ng’abagwira n’okutuusa leero.)
4 Yonasaani+ mutabani wa Sawulo yalina omwana ayitibwa Mefibosesi,+ eyali yalemala ebigere.+ Amawulire agakwata ku Sawulo ne Yonasaani we gaatuukira okuva e Yezuleeri,+ Mefibosesi yalina emyaka etaano; era omulezi we yamusitula adduke, naye mu kupapa okudduka, omwana yamusimattukako n’agwa n’alemala.
5 Batabani ba Limmoni Omubeerosi, Lekabu ne Bbaana, baagenda ewa Isu-bosesi ng’omusana gwaka nnyo mu ttuntu, era baasanga awummuddeko. 6 Lekabu ne muganda we Bbaana+ baayingira munda mu nnyumba nga balinga abagenze okuggyayo eŋŋaano, ne bamufumita ekiso mu lubuto, ne badduka. 7 Bwe baayingira mu nnyumba baamusanga yeebase ku kitanda kye mu kisenge, ne bamufumita ne bamutta, oluvannyuma ne bamusalako omutwe ne bagutwala, ne batambula ekiro kyonna nga bayita mu luguudo olugenda mu Alaba. 8 Omutwe gwa Isu-bosesi+ ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni ne bamugamba nti: “Omutwe gwa Isu-bosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo+ eyali ayagala okukutta+ guuguno. Olwa leero Yakuwa asobozesezza mukama wange okuwoolera eggwanga ku Sawulo ne ku bazzukulu be.”
9 Kyokka Dawudi n’agamba Lekabu ne Bbaana muganda we, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti: “Nga Yakuwa eyannunula mu nnaku yange yonna bw’ali omulamu,+ 10 omuntu bwe yajja n’aŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’+ ng’alowooza nti andeetedde mawulire malungi, nnamukwata ne muttira e Zikulagi.+ Eyo ye mpeera gye yafuna okuva gye ndi olw’okuleeta obubaka obwo! 11 Kati ate olwo kinaaba kitya ku bantu ababi abasanze omuntu omutuukirivu ng’ali mu nnyumba ye ku kitanda kye ne bamutta! Siibavunaane omusaayi gwe,+ ne mbaggya mu nsi?” 12 Awo Dawudi n’alagira abavubuka babatte.+ Ne babatemako emikono n’ebigere ne babawanika+ okumpi n’oluzzi oluli mu Kebbulooni. Naye ne batwala omutwe gwa Isu-bosesi ne baguziika gye baaziika Abuneeri e Kebbulooni.