Okuva
7 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Laba, nkufudde nga Katonda* eri Falaawo ate Alooni muganda wo ajja kuba nnabbi wo.+ 2 Ojja kubuulira Alooni muganda wo buli kye nnaakulagira, era Alooni y’ajja okwogera eri Falaawo, era oluvannyuma Falaawo ajja kuleka Abayisirayiri bave mu nsi ye. 3 Naye nze nja kuleka omutima gwa Falaawo gube mukakanyavu+ era nja kukola obubonero bungi n’ebyamagero bingi mu nsi ya Misiri.+ 4 Naye Falaawo tajja kubawuliriza, era nja kussa omukono gwange ku Misiri nzigyeyo abantu bange abangi,* Abayisirayiri, era mbonereze ensi ya Misiri.+ 5 Abamisiri bajja kumanya nti nze Yakuwa+ bwe nnaagolola omukono gwange ne nnwanyisa Misiri, ne nzigya Abayisirayiri mu bo.” 6 Musa ne Alooni baakola nga Yakuwa bwe yabalagira; baakolera ddala bwe batyo. 7 We baayogerera ne Falaawo,+ Musa yalina emyaka 80, ate nga Alooni alina emyaka 83.
8 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 9 “Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleewo ekyamagero,’ ojja kugamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo.’ Gujja kufuuka omusota omunene.”+ 10 Musa ne Alooni ne bagenda eri Falaawo ne bakolera ddala nga Yakuwa bwe yali abalagidde. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota omunene. 11 Kyokka Falaawo n’atumya abasajja abagezigezi n’abalogo, era bakabona b’e Misiri+ abaakolanga eby’obufumu nabo ne bakola ekintu kye kimu nga bakozesa eddogo* lyabwe.+ 12 Buli omu ku bo yasuula omuggo gwe wansi ne gufuuka omusota omunene, naye omuggo gwa Alooni gwamira emiggo gyabwe. 13 Kyokka omutima gwa Falaawo ne gukakanyala,+ n’atabawuliriza, nga Yakuwa bwe yali agambye.
14 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Omutima gwa Falaawo mukakanyavu.+ Agaanye okuleka abantu okugenda. 15 Ojja kugenda eri Falaawo enkya ku makya. Laba! Ajja kuba agenda ku mugga. Ojja kuyimirira ku mabbali g’Omugga Kiyira omulinde, era ojja kutwala omuggo ogwafuuka omusota.+ 16 Ojja kumugamba nti, ‘Yakuwa Katonda w’Abebbulaniya antumye gy’oli,+ era agambye nti: “Leka abantu bange bagende bampeereze mu ddungu,” naye n’okutuusa kaakano okyagaanye. 17 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Ku kino kw’onoomanyira nti nze Yakuwa.+ Omuggo gwe nkutte mu ngalo ŋŋenda kugukuba ku mazzi g’Omugga Kiyira, era gajja kufuuka omusaayi. 18 Ebyennyanja ebiri mu Kiyira bijja kufa, Omugga Kiyira gujja kuwunya ekivundu, era Abamisiri tebajja kusobola kunywa mazzi ga Kiyira.”’”
19 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Alooni nti, ‘Kwata omuggo gwo ogolole omukono gwo ku mazzi g’e Misiri,+ ku migga gyayo, ku bugga bwayo,* ku ntobazi zaayo,+ ne ku ebyo byonna omuterekebwa amazzi, amazzi gonna gafuuke omusaayi.’ Omusaayi gujja kuba mu nsi yonna eya Misiri ne mu bibya byabwe eby’emiti n’eby’amayinja.” 20 Amangu ago Musa ne Alooni ne bakola nga Yakuwa bwe yali abalagidde. Alooni n’agalula omuggo n’akuba ku mazzi ag’Omugga Kiyira nga Falaawo n’abaweereza be balaba, amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi.+ 21 Ebyennyanja ebyali mu mugga ne bifa,+ omugga ne gutandika okuwunya ekivundu, era Abamisiri baali tebayinza kunywa ku mazzi ga Kiyira;+ omusaayi gwali mu nsi ya Misiri yonna.
22 Naye bakabona b’e Misiri abaakolanga eby’obufumu nabo ne bakola ekintu kye kimu nga beeyambisa amagezi ag’ekyama;+ omutima gwa Falaawo ne gweyongera okuba omukakanyavu n’atawuliriza Musa ne Alooni nga Yakuwa bwe yali agambye.+ 23 Falaawo n’addayo mu nnyumba ye, era na kino n’atakissaako mwoyo. 24 Abamisiri bonna ne bagenda ne basima okumpi ne Kiyira bafune amazzi ag’okunywa kubanga baali tebasobola kunywa ku mazzi ga Kiyira. 25 Ne wayitawo ennaku musanvu nga Yakuwa amaze okufuula amazzi g’Omugga Kiyira omusaayi.