Okuva
4 Kyokka Musa n’amuddamu nti: “Naye bwe batakkirize kye mbagamba era ne batawuliriza ddoboozi lyange,+ ne bagamba nti, ‘Yakuwa teyakulabikidde.’” 2 Yakuwa n’amubuuza nti: “Kiki ky’okutte mu mukono gwo?” N’amuddamu nti: “Muggo.” 3 N’amugamba nti: “Gusuule wansi.” N’agusuula wansi ne gufuuka omusota;+ Musa n’agudduka. 4 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo.” N’agolola omukono gwe n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. 5 Katonda n’agamba nti: “Ojja kukola bw’otyo balyoke bakkirize nti Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo,+ akulabikidde.”+
6 Yakuwa era n’agamba Musa nti: “Teeka omukono gwo mu kyambalo kyo.” N’ateeka omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaamu, laba, gwali guzzeeko ebigenge era nga mweru ng’omuzira!+ 7 Oluvannyuma n’amugamba nti: “Omukono gwo guzzeeyo mu kyambalo kyo.” N’aguzzaayo. Bwe yaguggyaayo, gwali guzzeewo bulungi era nga gufaanana ng’ebitundu ebirala eby’omubiri gwe! 8 N’amugamba nti: “Bwe batakkirize ky’obagamba era ne batassaayo mwoyo ku kabonero akasooka, bajja kukkiriza akabonero ak’okubiri.+ 9 Naye ne bwe batakkirize bubonero buno bwombi, era ne bagaana okuwuliriza eddoboozi lyo, ojja kusena amazzi mu Mugga Kiyira ogayiwe ku lukalu, era amazzi ago g’onooba osenye mu Kiyira gajja kufuuka musaayi ku lukalu.”+
10 Musa n’agamba Yakuwa nti: “Ai Yakuwa, sibangako mwogezi mulungi, okuviira ddala mu biseera eby’emabega oba okuva lwe watandise okwogera n’omuweereza wo, kubanga soogera mangu* era olulimi lwange luzito.”+ 11 Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Ani eyakolera omuntu akamwa oba aleetera abantu okuba nga teboogera, oba okuba bakiggala, oba okuba nga balaba bulungi, oba okuba bamuzibe? Si nze Yakuwa? 12 Kale kaakano genda, nja kuba naawe* ng’oyogera, era nja kukuyigiriza by’onooyogera.”+ 13 Naye Musa n’agamba nti: “Ai Yakuwa, nkwegayiridde tuma omuntu omulala yenna gw’oyagala.” 14 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Musa, n’amugamba nti: “Naye olina muganda wo Alooni+ Omuleevi. Mmanyi nti asobola okwogera obulungi, era kaakano ali mu kkubo ajja okukusisinkana. Bw’anaakulaba, ajja kusanyuka.+ 15 Ojja kwogera naye era ojja kumubuulira ebigambo byange;+ nja kuba naye era nja kuba naawe ng’oyogera,+ era nja kubayigiriza bye munaakola. 16 Alooni ajja kukwogerera eri abantu; ajja kuba mwogezi wo era ojja kuba nga Katonda gy’ali.*+ 17 Ojja kugenda n’omuggo guno mu mukono gwo ogweyambise okukola obubonero obwo.”+
18 Awo Musa n’addayo eri Yesero kitaawe wa mukazi we+ n’amugamba nti: “Njagala kuddayo eri baganda bange abali e Misiri ndabe obanga bakyali balamu.” Yesero n’amugamba nti: “Genda mirembe.” 19 Oluvannyuma, Yakuwa n’agamba Musa ng’ali e Midiyaani nti: “Ddayo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta baafa.”+
20 Awo Musa ne yeebagaza mukazi we ne batabani be endogoyi, n’asitula okuddayo mu nsi ya Misiri. Era Musa yagenda n’omuggo gwa Katonda ow’amazima mu mukono gwe. 21 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Bw’onooba otuuse e Misiri, kakasa nti okola mu maaso ga Falaawo ebyamagero byonna bye nkuwaddeko obuyinza okukola.+ Naye nja kuleka omutima gwa Falaawo gube mukakanyavu,+ era tajja kuleka bantu bange kugenda.+ 22 Era ojja kugamba Falaawo nti: ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Isirayiri ye mwana wange omubereberye.+ 23 Era nkugamba nti, Leka omwana wange agende ampeereze. Naye bw’onoogaana okumuleka agende, nja kutta mutabani wo omubereberye.”’”+
24 Awo bwe baali mu kifo ekisulwamu nga bali ku lugendo, Yakuwa+ n’amusisinkana ng’ayagala okumutta.+ 25 Zipola+ n’addira ejjinja ery’obwogi* n’akomola mutabani we n’asuula ekikuta kye ku bigere bye n’agamba nti: “Kubanga oli mugole musajja ow’omusaayi gye ndi.” 26 Awo Katonda n’amuleka n’agenda. Zipola n’agamba nti, “omugole omusajja ow’omusaayi,” olw’okukomolebwa.
27 Awo Yakuwa n’agamba Alooni nti: “Genda mu ddungu osisinkane Musa.”+ N’agenda n’amusisinkana ku lusozi lwa Katonda ow’amazima,+ n’amulamusa ng’amunywegera. 28 Musa n’ategeeza Alooni ebigambo byonna Yakuwa eyamutuma+ bye yamugamba, era n’obubonero bwonna bwe yamulagira okukola.+ 29 Oluvannyuma lw’ekyo, Musa ne Alooni baagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab’Abayisirayiri.+ 30 Alooni n’ababuulira ebigambo byonna Yakuwa bye yali agambye Musa, era n’akola obubonero+ ng’abantu balaba. 31 Awo abantu ne bakkiriza.+ Bwe baawulira nti Yakuwa yali alowoozezza nate ku Bayisirayiri+ era nti yali alabye okubonaabona kwabwe,+ ne bakka ku maviivi ne bavunnama.