Abaggalatiya
4 Kaakano ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, taba na njawulo na muddu wadde nga y’aba nnannyini bintu byonna, 2 naye abeera mu mikono gy’abo abamulabirira n’egy’abawanika okutuusa olunaku kitaawe lwe yassaawo. 3 Mu ngeri y’emu, naffe bwe twali tukyali bato, twalinga baddu ba bintu eby’omu nsi ebisookerwako.+ 4 Naye ekiseera ekigereke bwe kyatuuka, Katonda yatuma Omwana we eyazaalibwa omukazi+ era eyali wansi w’amateeka,+ 5 asobole okununula abo abali wansi w’amateeka+ ng’abagula, tulyoke tufuulibwe abaana.+
6 Kati olw’okuba muli baana, Katonda asindise omwoyo+ gw’Omwana we mu mitima gyaffe,+ era gwogerera waggulu nti: “Abba!”*+ 7 N’olwekyo, tokyali muddu, wabula oli mwana; era bw’oba ng’oli mwana, Katonda era akufudde musika.+
8 Naye bwe mwali nga temumanyi Katonda, mwali baddu b’abo abatali bakatonda. 9 Naye kaakano nga bwe mumanyi Katonda, oba kaakano nga Katonda bw’abamanyi, kijja kitya okuba nti muddayo nate eri ebintu ebisookerwako ebinafu+ era ebitalina mugaso, ne mwagala okuddamu okubeera abaddu baabyo?+ 10 Mukwata butiribiri ennaku, n’emyezi,+ n’ebiro, n’emyaka. 11 Ndi mweraliikirivu nti oboolyawo nnateganira bwereere okubayamba.
12 Ab’oluganda, mbeegayiridde, mubeere nga nze, kubanga nange nnali nga mmwe.+ Temulina kibi kye mwankola. 13 Mukimanyi nti olw’obulwadde bwange, nnafuna akakisa okubabuulira amawulire amalungi omulundi ogwasooka. 14 Wadde ng’obulwadde bwe nnalina bwali kigezo gye muli, temwanneewala wadde okunneenyinyala;* naye mwansembeza ng’abasembeza malayika wa Katonda, era ng’abasembeza Kristo Yesu. 15 Kati olwo essanyu eryo lye mwalina lyadda wa? Kubanga ndi mukakafu nti singa kyali kisoboka, mwandiggyemu amaaso gammwe ne mugampa.+ 16 Kati olwo nfuuse mulabe wammwe kubanga mbabuulira amazima? 17 Abantu abo bagezaako nnyo okulaba nti mudda ku ludda lwabwe, naye si lwa kigendererwa kirungi; baagala munneesambe, mubagoberere. 18 Kyokka kiba kirungi bulijjo omuntu bw’agezaako okubazza ku ludda lwe olw’ekigendererwa ekirungi, so si ku olwo lwokka lwe mba nammwe, 19 mmwe abaana bange abato+ abandeetedde okuddamu okulumwa ebisa okutuusa Kristo lw’alibeeyolekeramu. 20 Kyandibadde kirungi singa mbadde ndi nammwe kaakano ne njogera mu ngeri endala, kubanga munneewuunyisizza nnyo.
21 Mumbuulire mmwe abaagala okuba wansi w’amateeka, Temumanyi Mateeka kye gagamba? 22 Ng’ekyokulabirako, kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, ng’omu yamuzaala mu muzaana+ ate ng’omulala yamuzaala mu mukazi ow’eddembe;+ 23 naye ng’oyo ow’omuzaana yazaalibwa mu ngeri eya bulijjo,+ ate ng’ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa okuyitira mu kisuubizo.+ 24 Ebintu bino bya kabonero; kubanga abakazi bano bategeeza endagaano bbiri, eyo eyakolebwa ku Lusozi Sinaayi,+ y’oyo azaala abaana ab’omu buddu era nga ye Agali. 25 Kati Agali aba akiikirira Olusozi Sinaayi+ oluli mu Buwalabu, era ye Yerusaalemi ekiriwo leero, ekiri mu buddu n’abaana baakyo. 26 Naye Yerusaalemi ekya waggulu kya ddembe, era ye nnyaffe.
27 Kubanga kyawandiikibwa nti: “Sanyuka ggwe omukazi omugumba atazaala; leekaana era yogerera waggulu n’essanyu ggwe omukazi atalumwa bisa; kubanga abaana b’omukazi eyayabulirwa bangi okusinga ab’oyo alina omusajja.”+ 28 Kale ab’oluganda, muli baana ba kisuubizo nga Isaaka bwe yali.+ 29 Naye ng’oyo eyazaalibwa mu ngeri eya bulijjo bwe yatandika okuyigganya oyo eyazaalibwa okuyitira mu mwoyo,+ ne kaakano bwe kiri.+ 30 Naye ekyawandiikibwa kigamba kitya? “Goba omuzaana ne mutabani we, kubanga omwana w’omuzaana tagenda kuba musika wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.”+ 31 N’olwekyo ab’oluganda, tetuli baana ba muzaana wabula tuli baana ba mukazi ow’eddembe.