Yobu
16 Yobu n’addamu nti:
2 “Mpulidde bingi ebiringa ebyo.
Mu kifo ky’okumbudaabuda mwongedde kunnakuwaza!+
3 Ebigambo ebyo ebitaliimu tebiikome?
Kiki ekibaleetera okunnyanukula bwe mutyo?
4 Nange nsobola okwogera nga bwe mwogera.
Singa mmwe mubadde mu mbeera gye ndimu,
Nnandibadde nsobola okuboogerera ebigambo,
Ne mbanyeenyeza n’omutwe.+
5 Naye mu kifo ky’ekyo, nnandyogedde ebigambo ebyandibazzizzaamu amaanyi,
Era ebigambo byange byandibaleetedde obuweerero.+
6 Bwe njogera obulumi bwange tebukendeera,+
Era bwe ndekera awo okwogera, obulumi bwange bukendeera kyenkana wa?
8 Era onkutte, ekyo kifuuse mujulirwa,
Obukovvu bwange bunnumiriza mu maaso gange.
9 Obusungu bwe buntaaguddetaagudde, era ansibidde ekiruyi.+
Annumidde obugigi.
Omulabe wange antunuuliza bukambwe.+
11 Katonda ampaayo eri abavubuka,
Era ansuula mu mikono gy’ababi.+
12 Nnali mu mirembe, naye n’ammenyaamenya;+
Yankwata ku nsingo n’ambetenta;
Era n’andasa obusaale bwe.
13 Abalasi be ab’obusaale banzingiza enjuyi zonna;+
Afumita ensigo zange+ era tansaasira;
Ayiwa amazzi g’omu kalulwe kange ku ttaka.
14 Ambomolabomola ng’abomola ekisenge;
Annumba ng’omulwanyi omuzira.
16 Amaaso gange gamyuse olw’okukaaba amaziga,+
Era gazzeeko ekifu eky’amaanyi,*
17 Wadde ng’emikono gyange tegikolangako kintu kyonna kibi,
Era nga n’okusaba kwange kulongoofu.
18 Ggwe ensi, tobikka musaayi gwange!+
N’okukaaba kwange kuleme kubaako we kuwummulira!
19 Ne kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
Oyo asobola okumpolereza ali waggulu.
21 Ka wabeewo asala omusango wakati w’omuntu ne Katonda,
Ng’omuntu bwe yandisaze omusango wakati w’omuntu ne munne.+