Engero
2 Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
Wabula ky’ayagala kyokka kwe kwogera ekyo ky’alowooza.+
3 Omubi bw’ajja, n’okunyoomebwa kujja,
Era n’awaba okuweebuulwa wabaawo okuswazibwa.+
4 Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba.+
Ensibuko y’amagezi eringa omugga ogukulukuta.
7 Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,+
Era emimwa gye gisuula obulamu bwe mu mutego.
9 Akola emirimu n’obugayaavu
Aba muganda w’oyo asaanyaawo ebintu.+
10 Erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi.+
Omutuukirivu addukira omwo n’afuna obukuumi.*+
14 Omutima omugumu guyamba omuntu okugumira obulwadde,+
Naye ani ayinza okuguma omutima gwe bwe guba nga mwennyamivu?*+
16 Ekirabo ky’omuntu kimuggulirawo ekkubo;+
Kimusobozesa okutuuka ku bantu ab’ekitiibwa.
17 Asooka okwanja ensonga ze alabika ng’omutuufu,+
Okutuusa omulala lw’ajja n’amusoya ebibuuzo awe obukakafu.*+
19 Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe okusinga okusemberera ow’oluganda anyiize,+
Era wabaawo ennyombo eziringa ebisiba eby’ekigo.+
20 Omuntu by’ayogera n’akamwa ke biringa emmere ejjula mu lubuto lwe;+
Ajja kwolekagana n’ebyo ebiva mu by’ayogera.
23 Omwavu yeegayirira omugagga amuyambe,
Naye omugagga amuddamu na bukambwe.