2 Samwiri
24 Awo obusungu bwa Yakuwa ne buddamu okubuubuukira Isirayiri,+ bwe waaliwo eyasendasenda Dawudi ng’amugamba* nti: “Genda obale abantu+ b’omu Isirayiri n’ab’omu Yuda.”+ 2 Awo kabaka n’agamba Yowaabu+ omukulu w’eggye eyali naye nti: “Genda oyiteeyite mu bika byonna ebya Isirayiri, okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba,+ mubale abantu, mmanye omuwendo gwabwe.” 3 Naye Yowaabu n’agamba kabaka nti: “Yakuwa Katonda wo k’ayongere ku bungi bw’abantu emirundi 100, era naawe mukama wange kabaka okyerabireko n’amaaso go. Naye lwaki mukama wange kabaka ayagala okukola ekintu ng’ekyo?”
4 Kyokka ekigambo kya kabaka ne kisinza ekya Yowaabu n’eky’abakulu b’eggye amaanyi. Bw’atyo Yowaabu n’abakulu b’eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isirayiri.+ 5 Baasomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri,+ ku luuyi olwa ddyo olw’ekibuga* ekiri mu makkati g’ekiwonvu, ne boolekera ekitundu ky’Abagaadi, ne beeyongerayo e Yazeri.+ 6 Oluvannyuma baagenda e Gireyaadi+ ne mu kitundu ky’e Tatimu-kodusi, ne beeyongerayo ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola ne bagenda e Sidoni.+ 7 Awo ne bagenda ku kigo ky’e Ttuulo+ ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi+ n’eby’Abakanani, ne bakoma e Beeru-seba+ ekiri mu Negebu+ ekya Yuda. 8 Bwe batyo ne bayitaayita mu kitundu ekyo kyonna ne batuuka e Yerusaalemi oluvannyuma lw’emyezi mwenda n’ennaku 20. 9 Yowaabu n’awa kabaka omuwendo gw’abantu abaali babaliddwa; Abayisirayiri baali abasajja abazira 800,000 abaali bakwata ekitala, ate abasajja ba Yuda baali 500,000.+
10 Naye omutima gwa* Dawudi gwamulumiriza+ oluvannyuma lw’okubala abantu, n’agamba Yakuwa nti: “Nnyonoonye+ nnyo olw’okukola ekintu kino. Kaakano, Ai Yakuwa, nkwegayiridde sonyiwa omuweereza wo ensobi gy’akoze,+ kubanga nkoze kya busirusiru nnyo.”+ 11 Dawudi bwe yagolokoka ku makya, Yakuwa n’ayogera ne nnabbi Gaadi+ eyategeezanga Dawudi okwolesebwa okwavanga eri Katonda, n’amugamba nti: 12 “Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Nkuteereddewo ebibonerezo bisatu. Londako kimu kye mba nkuwa.”’”+ 13 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Kibonerezo ki ku bino ebisatu ky’olondako: Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu,+ oba ggwe okumala emyezi esatu ng’odduka abalabe bo nga bakuwondera,+ oba endwadde ey’amaanyi okuba mu nsi yo okumala ennaku ssatu?+ Kaakano salawo n’obwegendereza kye mba nziramu Oyo antumye.” 14 Dawudi n’agamba Gaadi nti: “Kino kinzitooweredde nnyo. Ka tugwe mu mukono gwa Yakuwa,+ kubanga musaasizi nnyo;+ naye tondeka kugwa mu mukono gwa muntu.”+
15 Awo Yakuwa n’aleeta endwadde ey’amaanyi+ mu Isirayiri, okuva ku makya okutuuka ku kiseera ekyali kigerekeddwa, abantu 70,000 ne bafa,+ okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba.+ 16 Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Yakuwa n’akwatirwa abantu be ekisa olw’endwadde gye yali aleese,+ n’agamba malayika eyali azikiriza abantu nti: “Ekyo kimala! Omukono gwo gusse.” Malayika wa Yakuwa yali kumpi n’egguuliro lya Alawuna+ Omuyebusi.+
17 Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n’agamba Yakuwa nti: “Nze nnayonoona era ne nkola ekibi; naye endiga zino+ zikoze ki? Nkwegayiridde, omukono gwo ka gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange.”+
18 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi ku lunaku olwo n’amugamba nti: “Genda ozimbire Yakuwa ekyoto ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”+ 19 Dawudi n’agenda nga Gaadi bwe yamugamba, nga Yakuwa bwe yali alagidde. 20 Alawuna bwe yalaba kabaka n’abaweereza be nga bajja gy’ali, amangu ago n’afuluma n’avunnamira kabaka. 21 Alawuna n’abuuza nti: “Lwaki mukama wange kabaka azze eri omuweereza we?” Dawudi n’amuddamu nti: “Nzize okukugulako egguuliro nzimbire Yakuwa ekyoto, ekirwadde kisobole okuggibwa ku bantu.”+ 22 Naye Alawuna n’agamba Dawudi nti: “Mukama wange kabaka k’alitwale aweeyo ekirabika nga kirungi gy’ali.* Ente ez’ekiweebwayo ekyokebwa ziizino, era n’ebibaawo ebiwuula n’ekikoligo ky’ente biibino bibe enku. 23 Byonna Alawuna abikuwadde, Ai kabaka.” Awo Alawuna n’agamba kabaka nti: “Yakuwa Katonda wo akukwatirwe ekisa.”
24 Kyokka kabaka n’agamba Alawuna nti: “Nedda, nja kulikugulako buguzi. Sijja kuwaayo eri Yakuwa Katonda wange ssaddaaka ezookebwa nga sirina kye nsasudde.” Awo Dawudi n’agula egguuliro n’ente sekeri* 50 eza ffeeza.+ 25 Dawudi n’azimbira Yakuwa ekyoto+ mu kifo ekyo era n’awaayo ssaddaaka ezookebwa ne ssaddaaka ez’emirembe. Yakuwa n’awulira okwegayirira kwabwe,+ ekirwadde ne kiggibwa ku Isirayiri.