Yeremiya
16 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nate nti: 2 “Towasa mukazi era tozaala baana ba buwala na ba bulenzi mu kifo kino. 3 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku baana ab’obulenzi n’ab’obuwala abazaalibwa mu kifo kino, ne ku bannyaabwe ne ku bakitaabwe abali mu nsi eno: 4 ‘Bajja kufa endwadde embi ennyo,+ naye tewali ajja kubakungubagira wadde okubaziika; bajja kuba ng’obusa ku ttaka.+ Bajja kufa ekitala n’enjala,+ era emirambo gyabwe gijja kuba mmere ya binyonyi n’ebisolo.’
5 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Toyingira mu nnyumba omuli ekijjulo ky’abakungubaga,
Era togendayo kukuba biwoobe wadde okubasaasira.’+
‘Kubanga abantu bano mbaggyeeko emirembe gyange,’
‘Awamu n’okwagala kwange okutajjulukuka n’obusaasizi,’+ Yakuwa bw’agamba.
6 ‘Abantu ab’ebitiibwa n’aba wansi bajja kufiira mu nsi eno.
Tebajja kuziikibwa,
Tewali n’omu ajja kubakungubagira,
Wadde okwesala emisale ku lwabwe oba okwemwa omutwe.*
7 Era abakungubaga tewali ajja kubawa mmere,
Okubabudaabuda olw’okufiirwa;
Era tewali ajja kubawa kikopo kya kubudaabuda
Okunywa olw’okufiirwa kitaabwe oba nnyaabwe.
8 Era toyingira mu nnyumba mwe baliira ekijjulo
Okutuula nabo okulya n’okunywa.’
9 “Kubanga bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Mu kifo kino, mu nnaku zammwe, era nga mukyerabirako n’amaaso gammwe, nja kukomya okusanyuka n’okujaguza, era nja kusirisa eddoboozi ly’omugole omusajja n’omugole omukazi.’+
10 “Bw’onoogamba abantu bano ebigambo ebyo byonna, bajja kukubuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa alangiridde akabi ak’amaanyi bwe katyo okututuukako? Nsobi ki era kibi ki kye tukoze mu maaso ga Yakuwa Katonda waffe?’+ 11 Ojja kubaddamu nti, ‘“Kubanga bakitammwe banvaako,”+ Yakuwa bw’agamba, “ne bagoberera bakatonda abalala, ne babaweereza, era ne babavunnamira.+ Nze banvaako, era tebaakwata mateeka gange.+ 12 Mweyisizza bubi n’okusinga bajjajjammwe,+ era buli omu agugubidde ku ky’okugoberera omutima gwe omubi mu kifo ky’okuŋŋondera.+ 13 Nja kubaggya mu nsi eno mbakasuke mu nsi gye mutamanyi era ne bajjajjammwe gye bataamanya,+ era eyo gye munaaweererezanga bakatonda abalala emisana n’ekiro,+ kubanga sijja kubasaasira.”’
14 “‘Naye ekiseera kijja,’ Yakuwa bw’agamba, ‘lwe bataligamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, eyaggya abantu ba Isirayiri mu nsi ya Misiri!”+ 15 wabula nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu eyaggya abantu ba Isirayiri mu nsi ey’ebuvanjuba ne mu nsi zonna gye yali abasaasaanyirizza!” Nja kubakomyawo mu nsi yaabwe, gye nnawa bajjajjaabwe.’+
16 ‘Laba, ŋŋenda kutumya abavubi bangi,’ Yakuwa bw’agamba,
‘Era bajja kubavubayo.
Oluvannyuma nja kutumya abayizzi bangi,
Era bajja kubayigga ku buli lusozi ne ku buli kasozi
Era ne mu mpampagama z’enjazi.
17 Kubanga amaaso gange galaba byonna bye bakola.*
Tebinkisiddwa,
Era n’ensobi zaabwe tezikisiddwa maaso gange.
18 Okusooka, nja kubasasula mu bujjuvu ekyo ekigwanira ensobi zaabwe n’ebibi byabwe,+
Kubanga boonoonye ensi yange n’ebifaananyi* byabwe ebyenyinyaza ebitalina bulamu
Era obusika bwange babujjuzza ebintu byabwe eby’omuzizo.’”+
19 Ai Yakuwa, ggwe maanyi gange era ekigo kyange,
Ggwe kifo kyange eky’okuddukiramu mu kiseera eky’okulaba ennaku,+
Ab’omu mawanga baliva mu nsi yonna ne bajja gy’oli,
Ne bagamba nti: “Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere,
Obutaliimu n’ebintu ebitalina mugaso.”+
20 Omuntu asobola okwekolera bakatonda?
Baaba akoze tebaba bakatonda ba ddala.+
21 “Kale ndibamanyisa,
Ku olwo ndibamanyisa amaanyi gange n’obuyinza bwange,
Era balimanya nti erinnya lyange nze Yakuwa.”