1 Timoseewo
3 Ebigambo bino byesigika: Omusajja yenna bw’aluubirira okuba omulabirizi,+ aba yeegomba omulimu omulungi. 2 Omulabirizi asaanidde okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, ng’alina omukazi omu, ng’alina empisa ezisaana, ng’alina endowooza ennuŋŋamu,*+ ng’obulamu bwe abutambuliza ku nteekateeka ennungi, ng’asembeza abagenyi,+ ng’asobola okuyigiriza,+ 3 nga si mutamiivu,+ nga talwana,* nga si mukakanyavu,+ nga si muyombi,+ nga si mwagazi wa ssente,+ 4 ng’afuga bulungi amaka ge, ng’alina abaana abawulize era ab’empisa ennungi;+ 5 (mazima ddala omuntu bw’aba nga tamanyi ngeri ya kufugamu ba mu maka ge, anaalabirira atya ekibiina kya Katonda?) 6 talina kuba oyo eyaakafuuka omukkiriza,+ kubanga ayinza okufuna amalala n’asalirwa omusango ogwasalirwa Omulyolyomi. 7 Ate era, asaanidde okuba ng’ayogerwako bulungi* abantu ab’ebweru,+ aleme okuvumirirwa* n’okugwa mu mutego gw’Omulyolyomi.
8 Abaweereza mu kibiina nabo basaanidde okuba ab’obuvunaanyizibwa, nga si ba nnimibbirye,* nga tebanywa mwenge mungi, nga tebalulunkana kufuna bintu mu makubo makyamu,+ 9 nga banywerera ku kyama ekitukuvu eky’okukkiriza nga balina omuntu ow’omunda omuyonjo.+
10 Ate era basookenga kugezesebwa okulaba obanga basobola, olwo balyoke bakole ng’abaweereza nga tebaliiko kya kunenyezebwa.+
11 Mu ngeri y’emu, abakazi nabo basaanidde okuba ab’obuvunaanyizibwa, nga tebawaayiriza,+ nga balina empisa ezisaana, era nga beesigwa mu bintu byonna.+
12 Omuweereza mu kibiina abeerenga n’omukazi omu, ng’afuga bulungi abaana be n’ab’omu maka ge. 13 Kubanga abasajja abaweereza mu ngeri ennungi baba n’ennyimirira ennungi era basobola okwogera n’obuvumu ku kukkiriza kwe balina mu Kristo Yesu.
14 Bino mbikuwandiikidde wadde nga nsuubira okujja eyo mangu, 15 naye ne bwe ndirwawo okujja, obeere ng’omanyi engeri gy’oteekeddwa okweyisaamu mu nnyumba ya Katonda,+ nga kino kye kibiina kya Katonda omulamu, empagi era omusingi ogw’amazima. 16 Mazima ddala, ekyama kino ekitukuvu eky’okwemalira ku Katonda kikulu nnyo: ‘Yesu yalabikira mu mubiri,+ yalangirirwa mu mwoyo nti mutuukirivu,+ yalabikira bamalayika,+ yabuulirwa mu mawanga,+ yakkirizibwa ab’omu nsi,+ yatwalibwa mu ggulu mu kitiibwa.’