Yeremiya
52 Zeddeekiya+ yatandika okufuga nga kabaka ng’alina emyaka 21, era yafugira emyaka 11 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Kamutali+ muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 2 Yeeyongera okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yakola.+ 3 Ebyo byonna byatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda olw’obusungu bwa Yakuwa, okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.+ Ate era Zeddeekiya yajeemera kabaka wa Babulooni.+ 4 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya, mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olw’ekkumi, Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni yagenda n’eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemi. Baasiisira okukirwanyisa era ne bakizimbako ekigo.+ 5 Ekibuga kyazingizibwa okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya.
6 Mu mwezi ogw’okuna, ku lunaku olw’omwenda,+ enjala yali ya maanyi nnyo mu kibuga, era abantu ab’omu nsi tebaalina mmere.+ 7 Awo bbugwe w’ekibuga n’akubibwamu ekituli; Abakaludaaya bwe baali nga bazingizza ekibuga, abasirikale bonna baakiddukamu ekiro nga bayita mu mulyango ogwali wakati w’ebisenge ebibiri okumpi n’ennimiro ya kabaka; baakwata ekkubo erigenda mu Alaba.+ 8 Naye eggye ly’Abakaludaaya lyawondera Kabaka Zeddeekiya,+ era ne limusanga mu ddungu lya Yeriko, era eggye lye lyonna ne limwabulira ne lisaasaana. 9 Ne bakwata Kabaka Zeddeekiya ne bamutwala eri kabaka wa Babulooni e Libula mu kitundu ky’e Kamasi, n’amusalira omusango. 10 Ate era kabaka wa Babulooni n’atta batabani ba Zeddeekiya nga Zeddeekiya alaba, era n’attira awo e Libula abakungu b’omu Yuda bonna. 11 Awo kabaka wa Babulooni n’aggyamu Zeddeekiya amaaso,+ n’amusiba empingu ez’ekikomo ne bamutwala e Babulooni ne bamusibira mu kkomera okutuusa lwe yafa.
12 Mu mwezi ogw’okutaano, ku lunaku olw’ekkumi, nga gwe gwali omwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni, Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi, era eyali omuweereza wa kabaka wa Babulooni, yagenda e Yerusaalemi.+ 13 Yayokya ennyumba ya Yakuwa,+ n’ennyumba ya* kabaka, n’amayumba gonna ag’omu Yerusaalemi; buli nnyumba ennene yagyokya omuliro. 14 Ate era eggye ly’Abakaludaaya lyonna eryali n’omukulu w’abakuumi lyamenya bbugwe wa Yerusaalemi.+
15 Nebuzaladaani omukulu w’abakuumi yatwala mu buwaŋŋanguse abamu ku bantu abanaku abaali basigadde mu kibuga. Ate era yatwala n’abaali bakyuse ne beegatta ku kabaka wa Babulooni awamu n’abakugu mu mirimu egy’emikono abaali basigaddewo.+ 16 Naye abamu ku bantu abaali basingayo okuba abaavu mu nsi Nebuzaladaani omukulu w’abakuumi yabalekamu okukolanga mu nnimiro ez’emizabbibu n’okukolanga emirimu egy’obuwaze.+
17 Abakaludaaya baamenyaamenya empagi ez’ekikomo+ ezaali mu nnyumba ya Yakuwa n’ebigaali+ ne ttanka ey’ekikomo*+ ebyali mu nnyumba ya Yakuwa, era ne batwala n’ekikomo kyonna e Babulooni.+ 18 Ate era baatwala n’ebiyoolerwamu evvu, ebitiiyo, ebizikiza omuliro, ebbakuli,+ ebikopo,+ n’ebintu ebirala byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu buweereza mu yeekaalu. 19 Omukulu w’abakuumi yatwala ebbenseni,+ ebiyoolerwamu olunyata, ebbakuli, ebiyoolerwamu evvu, ebikondo by’ettaala,+ ebikopo, n’ebbakuli eza ssaddaaka, ebyali ebya zzaabu ne ffeeza.+ 20 Ekikomo eky’akozesebwa ku bintu bino byonna Kabaka Sulemaani bye yakolera ennyumba ya Yakuwa: empagi ebbiri, ttanka,* ente ennume 12 ez’ekikomo+ ezaali wansi wa ttanka, n’ebigaali, kyali kingi nnyo nga tekiyinza na kupimibwa.
21 Buli mpagi yali ya mikono* 18 obuwanvu, era omuguwa ogupima ogw’emikono 12 gwali gusobola okugyetooloola;+ obugazi bwayo bwali bwenkanankana obugazi bw’engalo* nnya, era yalimu omuwulenge. 22 Omutwe gw’empagi emu gwali gwa kikomo era gwali emikono etaano obugulumivu;+ omutwe gwali gwetooloddwa obutimba n’enkomamawanga nga byonna bya kikomo. Empagi ey’okubiri yali egifaanana, era n’enkomamawanga zaali bwe zityo. 23 Obuntu obulinga enkomamawanga obwali bwetoolodde omutwe gwayo bwali 96; bwonna awamu okwetooloola akatimba bwali 100.+
24 Omukulu w’abakuumi yatwala ne Seraya+ eyali kabona omukulu, Zeffaniya+ kabona eyali amuddirira, n’abakuumi abasatu ab’oku mulyango.+ 25 Mu kibuga yaggyamu omukungu omu ow’omu lubiri eyali akulira abasirikale, banne ba kabaka ab’oku lusegere musanvu abaasangibwa mu kibuga, omuwandiisi ow’omukulu w’eggye eyakunganga abantu, era n’abasajja 60 ku bantu aba bulijjo ab’omu nsi abaali bakyali mu kibuga. 26 Nebuzaladaani omukulu w’abakuumi yabatwala eri kabaka wa Babulooni e Libula. 27 Kabaka wa Babulooni yabattira e Libula+ mu kitundu ky’e Kamasi. Bwe batyo abantu b’omu Yuda ne baggibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.+
28 Bano be bantu Nebukadduneeza* be yatwala mu buwaŋŋanguse: mu mwaka ogw’omusanvu, Abayudaaya 3,023.+
29 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza,*+ abantu 832 baggibwa mu Yerusaalemi.
30 Mu mwaka ogw’abiri mu esatu ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza,* Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi yatwala Abayudaaya mu buwaŋŋanguse, abantu 745.+
Abantu abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse bonna awamu baali abantu 4,600.
31 Mu mwaka ogw’asatu mu omusanvu nga Yekoyakini+ kabaka wa Yuda ali mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’abiri mu ettaano, Kabaka Eviru-merodaaki owa Babulooni yasumulula* Kabaka Yekoyakini owa Yuda n’amuggya mu kkomera.+ Ekyo kyaliwo mu mwaka gwe yafuukiramu kabaka. 32 Eviru-merodaaki yayogera ne Yekoyakini mu ngeri ey’ekisa, n’agulumiza entebe ye ey’obwakabaka okusinga entebe za bakabaka abalala abaali naye mu Babulooni. 33 Yekoyakini yaggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera, n’aliiranga emmere mu maaso ga kabaka obulamu bwe bwonna. 34 Yaweebwanga omugabo gw’emmere okuva eri kabaka wa Babulooni buli lunaku, obulamu bwe bwonna, okutuusa lwe yafa.