Ekyamateeka
28 “Bw’onoowuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo n’ofuba okukwata ebiragiro bye byonna bye nkuwa leero, Yakuwa Katonda wo ajja kukugulumiza okusinga amawanga amalala gonna agali ku nsi.+ 2 Emikisa gino gyonna gijja kukujjira,+ olw’okuba onooba owulirizza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo:
3 “Onoobanga n’omukisa mu kibuga, era onoobanga n’omukisa mu kyalo.+
4 “Abaana bo* banaabanga n’omukisa,+ n’ebibala by’ettaka lyo binaabanga n’omukisa, era n’abaana b’ensolo zo n’ab’ente zo n’ab’ekisibo kyo nabo banaabanga n’omukisa.+
5 “Ekisero kyo n’ekibya kyo ekikandirwamu binaabanga n’omukisa.+
6 “Onoobanga n’omukisa bw’onooyingiranga, era onoobanga n’omukisa bw’onoofulumanga.
7 “Yakuwa anaaleeteranga abalabe bo abakulumba okuwangulwa mu maaso go.+ Banaakulumbanga nga bava ku luuyi lumu, naye banaakwatanga enjuyi musanvu nga bakudduka.+ 8 Yakuwa anaalagiranga omukisa okubeera ku materekero go+ ne ku byonna by’onookolanga, era anaakuwanga omukisa mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa. 9 Yakuwa alikufuula eggwanga ettukuvu gy’ali+ nga bwe yakulayirira,+ kubanga oliba okwata ebiragiro bya Yakuwa Katonda wo era ng’otambulira mu makubo ge. 10 Amawanga gonna ag’omu nsi galikiraba nti oyitibwa erinnya lya Yakuwa+ era galikutya.+
11 “Yakuwa anaakuwanga abaana bangi, n’ensolo nnyingi, n’ettaka eribala emmere,+ mu nsi Yakuwa Katonda wo gye yalayirira bajjajjaabo okukuwa.+ 12 Yakuwa anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi, eggulu, okuwa ensi yo enkuba mu kiseera kyayo,+ n’okuwa omukisa byonna by’onookolanga. Onoowolanga amawanga mangi naye ggwe teweewolenga.+ 13 Era Yakuwa anaakugulumiza ku balala era taakuleke kufugibwa balala; onoobeeranga waggulu+ so si wansi, bw’onoogonderanga ebiragiro bya Yakuwa Katonda wo bye nkulagira leero okukwata n’okubikolerako. 14 Tovanga ku bigambo byonna bye mbalagira leero n’ogenda ku ddyo oba ku kkono,+ n’ogoberera bakatonda abalala okubaweereza.+
15 “Bw’otoliwuliriza ddoboozi lya Yakuwa Katonda wo n’otofuba kukwata biragiro bye byonna n’amateeka ge bye nkuwa leero, ebikolimo bino byonna birikujjira:+
16 “Onookolimirwanga mu kibuga era onookolimirwanga mu kyalo.+
17 “+Ekisero kyo +n’ekibya kyo ekikandirwamu binaabanga bikolimire.
18 “Abaana bo* banaabanga bakolimire,+ ebibala by’ettaka lyo binaabanga bikolimire, n’abaana b’ente zo n’ab’endiga zo nabo banaabanga bakolimire.+
19 “Onookolimirwanga bw’onooyingiranga era onookolimirwanga bw’onoofulumanga.
20 “Yakuwa anaakuleetangako ebikolimo, okutabulwatabulwa, n’okubonerezebwa, mu buli ky’onookolanga, okutuusa lw’olisaanawo n’ozikirira mu bwangu, olw’ebikolwa byo ebibi n’olw’okumuvaako.*+ 21 Yakuwa anaaleeteranga endwadde okukulemerako okutuusa lw’alikumalawo mu nsi gy’ogenda okutwala.+ 22 Yakuwa anaakuleeteranga akafuba, omusujja omungi,+ okuzimba, okubugujja, ekitala,+ okubabuka n’okugengewala kw’ebirime,+ era binaakulondoolanga okutuusa lw’olizikirira. 23 Eggulu erikuli waggulu linaabanga ng’ekikomo, ate ettaka eriri wansi wo linaabanga ng’ekyuma.+ 24 Yakuwa anaatonnyesanga omusenyu n’enfuufu ng’enkuba ku nsi yo, era binaavanga mu ggulu ne bikukkako okutuusa lw’olisaanawo. 25 Yakuwa anaakuleeteranga okuwangulwa abalabe bo.+ Onoobalumbanga ng’ova ku luuyi lumu, naye n’okwata enjuyi musanvu ng’obadduka; era obwakabaka bwonna obuli ku nsi bunaalabanga ebintu ebibi ebikutuuseeko ne butya.+ 26 Emirambo gyammwe giriba mmere eri ebinyonyi byonna eby’omu bbanga n’eri ensolo zonna ez’oku ttale, era tewaliba n’omu abigoba.+
27 “Yakuwa anaakuleetangako amayute g’e Misiri, ebizimba ebiruma emabega, ebiyobyo, n’amabwa, era toowonenga. 28 Yakuwa anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso,+ era anaakuleeteranga okusoberwa.* 29 Onoowammantanga mu ttuntu nga muzibe bw’awammanta mu nzikiza gy’abaamu,+ era toobenga na mukisa mu byonna by’onookolanga. Onookumpanyizibwanga era onoonyagibwangako ebibyo naye nga tewali akuyamba.+ 30 Onooyogerezanga omukazi naye omusajja omulala n’amukwata. Onoozimbanga ennyumba naye n’otogibeeramu.+ Onoosimbanga ennimiro y’emizabbibu naye n’otobaako ky’oggyamu.+ 31 Ente yo enettirwanga mu maaso go naye toogiryengako. Endogoyi yo eneenyagibwanga ng’olaba naye teekomengawo gy’oli. Endiga yo eneeweebwanga abalabe bo, naye tewaabenga akuyamba. 32 Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala+ ng’olaba era onooyagalanga okubalaba naye nga tolina ky’oyinza kukolawo. 33 By’onookungulanga ne byonna ebinaavanga mu kutegana kwo eggwanga ly’otomanyi linaabiryanga,+ era onoobeeranga muntu gwe bakumpanya era gwe banyigiriza bulijjo. 34 Amaaso go bye ganaalabanga binaakusuulanga eddalu.
35 “Yakuwa anaakulwazangaku maviivi go ne ku magulu go amayute agaluma ennyo era agatayinza kuwonyezebwa, era galibuna omubiri gwo gwonna okuva ku bigere byo okutuuka ku mutwe gwo. 36 Ggwe ne kabaka wo gw’oliba otaddewo Yakuwa alibatwala mu ggwanga ly’otomanyi ne bajjajjaabo lye bataamanya,+ era ng’oli eyo oliweereza bakatonda abalala ab’emiti n’ab’amayinja.+ 37 Era olifuuka ekintu eky’entiisa, ekinyoomebwa,* era ekisekererwa mu mawanga gonna Yakuwa gy’alikugobera.+
38 “Onootwalanga ensigo nnyingi mu nnimiro, naye onookungulanga bitono+ kubanga enzige zinaabiryanga. 39 Onoosimbanga ennimiro z’emizabbibu era n’ozirabirira naye toonywenga mwenge era tookungulengamu kintu,+ kubanga obusaanyi bunaagiryanga. 40 Onoobanga n’emizeyituuni mu nsi yo yonna naye tojja kwesiiganga mafuta, kubanga ezzeyituuni lyo linaakunkumukanga. 41 Ojja kuzaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala naye tebajja kusigala nga babo, kubanga bajja kutwalibwa mu buwambe.+ 42 Emiti gyo gyonna n’ebibala by’ettaka lyo ebiwuka* binaabiryanga. 43 Omugwira ali mu mmwe aneeyongeranga okukulaakulana okukusinga, naye nga ggwe oddirira buddirizi. 44 Anaakuwolanga naye ggwe toomuwolenga.+ Anaagulumizibwa mu maaso go era anaakufuganga.+
45 “Ebikolimo bino byonna+ birikujjira era birikugoberera okutuusa lw’olisaanawo,+ kubanga oliba towulirizza ddoboozi lya Yakuwa Katonda wo, nga tokutte biragiro bye n’amateeka ge bye yakulagira.+ 46 Era binaakubeerangako ggwe n’ezzadde lyo olubeerera ng’akabonero era ng’ekyewuunyo,+ 47 kubanga oliba toweerezza Yakuwa Katonda wo n’omutima omusanyufu so nga walina buli kintu mu bungi.+ 48 Yakuwa alikusindikira abalabe bo okukulwanyisa, era olibaweereza+ ng’olumwa enjala+ n’ennyonta, nga kyenkana oli bukunya, era nga tolina kintu kyonna. Alissa ekikoligo eky’ekyuma ku nsingo yo okutuusa lw’alikusaanyaawo.
49 “Yakuwa alikuleetera eggwanga okuva ewala,+ okuva ku nkomerero y’ensi, era lirifubutuka okukulumba ng’empungu bw’efubutuka okukwakkula omuyiggo gwayo;+ eggwanga eryo liriba lyogera olulimi lw’ototegeera,+ 50 liriba litunuza bukambwe era liriba telifaayo ku mukadde wadde okusaasira omwana omuto.+ 51 Balirya abaana b’ensolo zo n’ebibala by’ettaka lyo okutuusa lw’olisaanawo. Tebalikulekera mmere wadde omwenge omusu wadde amafuta wadde ennyana oba obuliga, okutuusa lwe balikuzikiriza.+ 52 Balikuzingiza ne bakuggalira munda mu bibuga* byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa bbugwe wo omuwanvu era omugumu gwe weesiga lw’aligwa. Mazima ddala balikuzingiza mu bibuga byo byonna mu nsi yo yonna Yakuwa Katonda wo gy’akuwadde.+ 53 Olirya abaana bo,* ennyama ya batabani bo ne bawala bo,+ Yakuwa Katonda wo b’aliba akuwadde, olw’okuzingizibwa okuliba okw’amaanyi n’olw’ennaku ennyingi abalabe bo gye balikulabya.
54 “N’omusajja asingayo okuba omwegendereza mu mmwe era eyeenaanya talisaasira muganda we wadde mukazi we gw’ayagala ennyo wadde abaana be abaliba basigaddewo, 55 era talibawa ku nnyama y’abaana be gy’aliba alya, kubanga taliba na kintu kirala kyonna olw’okuzingizibwa okuliba okw’amaanyi, n’olw’ennaku ennyingi omulabe wo gy’alireeta ku bibuga byo.+ 56 N’omukazi omwegendereza mu mmwe era eyeenaanya, eyali talowooza nti asobola n’okuteeka ekigere kye ku ttaka olw’okwenaanya+ talisaasira bbaawe gw’ayagala ennyo ne mutabani we ne muwala we, 57 era talyagala kubawa ku nnyama y’omwana we gw’aliba azadde wadde ku kitanyi ekiriva mu lubuto lwe. Byonna alibiriira mu nkukutu, olw’okuzingizibwa okuliba okw’amaanyi n’olw’ennaku ennyingi omulabe wo gy’alireeta mu bibuga byo.
58 “Bw’otolifuba kukolera ku bigambo byonna eby’Amateeka gano ebiwandiikiddwa mu kitabo kino,+ n’ototya linnya lino ery’ekitiibwa era ery’entiisa,+ erya Yakuwa+ Katonda wo, 59 Yakuwa alikuleetera ggwe n’ezzadde lyo ebibonyoobonyo eby’amaanyi ennyo;+ biriba binene era nga bimala ekiseera kiwanvu, era alikuleetera endwadde eziruma ennyo era nga zirumira ebbanga ddene. 60 Era alikukomezaawo endwadde zonna ez’e Misiri ze watyanga, era zirikwesibako. 61 Yakuwa era alikuleetako endwadde n’ebibonyoobonyo ebitawandiikiddwa mu kitabo ky’Amateeka gano, okutuusa lw’olisaanawo. 62 Era mulisigalawo batono nnyo+ wadde nga muli bangi ng’emmunyeenye ez’oku ggulu,+ kubanga muliba temuwulirizza ddoboozi lya Yakuwa Katonda wammwe.
63 “Nga Yakuwa bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n’okubaaza, era Yakuwa bw’alisanyuka okubazikiriza n’okubasaanyaawo; era muliggibwa mu nsi gye munaatera okutwala.
64 “Yakuwa alikusaasaanya mu mawanga gonna, okuva ku luuyi olumu olw’ensi okutuuka ku lulala,+ era ng’oli eyo oliweereza bakatonda abalala b’otomanyi era ne bajjajjaabo be bataamanya, bakatonda ab’emiti n’ab’amayinja.+ 65 Toliba na mirembe ng’oli mu mawanga ago+ era ekigere kyo tekirifuna we kiwummulira; era ng’oli eyo Yakuwa alikuwa omutima ogweraliikirira+ n’amaaso agayimbadde era toliba na ssuubi.+ 66 Obulamu bwo buliba mu kabi ka maanyi nnyo era oliba mu kutya ekiro n’emisana, era oliba tomanyi bulamu bwo bwe bunaaba. 67 Ku makya oligambanga nti, ‘Singa nno bubadde bwa kawungeezi!’ ate akawungeezi n’ogamba nti, ‘Singa nno bubadde bwa ku makya!’ olw’entiisa omutima gwo gye gulibaamu n’olw’ebyo amaaso go bye galiraba. 68 Yakuwa alikuddizaayo mu byombo e Misiri ng’akuyisa mu kkubo lye nnakugamba nti, ‘Toliddamu kuliraba,’ era nga muli eyo mulyagala okwetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu abasajja n’abakazi naye nga tewali abagula.”