Okukungubaga
א [Alefu]
4 Zzaabu abadde amasamasa afumye, zzaabu omulungi!+
Amayinja amatukuvu+ gasaasaanyiziddwa mu nguudo zonna!+
ב [Besu]
2 Abaana ba Sayuuni abaagalwa, abaali ab’omuwendo nga zzaabu alongooseddwa,
Kati batwalibwa ng’ebibya eby’ebbumba,
Ebyakolebwa n’emikono gy’omubumbi.
ג [Gimeri]
3 N’ebibe biwa abaana baabyo amabeere okuyonka,
Naye omuwala w’abantu bange afuuse mukambwe+ nga maaya mu ddungu.+
ד [Dalesi]
4 Olulimi lw’omwana ayonka lukwatira ku kibuno kye olw’ennyonta.
Abaana basaba emmere,+ naye tewali agibawa.+
ה [Ke]
5 Abaalyanga emmere ennungi bagalamidde mu nguudo olw’enjala.+
Abaakuzibwa nga bambala engoye ez’ebbeeyi*+ beebaka mu ntuumu z’evvu.
ו [Wawu]
6 Ekibonerezo kya* muwala w’abantu bange kisinga ekibonerezo* ky’ekibuga Sodomu,+
Ekyazikirizibwa mu kaseera obuseera nga tewali akiyamba.+
ז [Zayini]
7 Abanaziri+ ba Sayuuni baali balongoofu okusinga omuzira, baali beeru okusinga amata.
Baali bamyufu okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja; baali ng’amayinja ga safiro amazigule.
ח [Kesu]
8 Kati bafuuse baddugavu okusinga omunyale;
Kizibu okubategeera nga bali mu nguudo.
Olususu lwabwe lukwatidde ku magumba gaabwe;+ lufuuse ng’ekiti ekikalu.
ט [Tesu]
9 Abo abattiddwa ekitala basinga abo abafudde enjala;+
Bakogga olw’obutaba na mmere ne baba ng’abafumitiddwa ekitala.
י [Yodi]
10 Emikono gy’abakazi ab’ekisa gifumbye abaana baabwe.+
Bafuuse mmere yaabwe ey’okukungubaga mu kiseera eky’okugwa kw’omuwala w’abantu bange.+
כ [Kafu]
11 Yakuwa alaze ekiruyi kye;
Afuse obusungu bwe obubuubuuka.+
Akoleeza omuliro mu Sayuuni ogusaanyaawo emisingi gyakyo.+
ל [Lamedi]
12 Bakabaka b’ensi n’abantu bonna ababeera mu nsi baali tebakikkiriza
Nti omulabe n’oyo abawalana bayinza okuyingira mu miryango gya Yerusaalemi.+
מ [Memu]
13 Ekyo kyabaawo olw’ebibi bya bannabbi baakyo n’ensobi za bakabona baakyo,+
Abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaali mu kyo.+
נ [Nuni]
14 Bannabbi ne bakabona babungeetera mu nguudo nga balinga bamuzibe.+
Bafuuse abatali balongoofu olw’omusaayi,+
Ne kiba nti tewali asobola kukwata ku byambalo byabwe.
ס [Sameki]
15 Babagamba nti: “Mugende eri! Temuli balongoofu!” “Mugende eri! Temutukwatako!”
Tebalina wa kubeera era babundabunda.
Abantu ab’omu mawanga bagamba nti: “Tebasobola kubeera naffe wano.*+
פ [Pe]
16 Yakuwa abasaasaanyizza;+
Tajja kuddamu kubakwatirwa kisa.
Abantu tebajja kuwa bakabona kitiibwa+ wadde okulaga abakadde ekisa.”+
ע [Ayini]
17 Ne kaakano amaaso gaffe gakooye okunoonyeza obwereere obuyambi.+
Twanoonya obuyambi okuva eri eggwanga eryali litasobola kutulokola.+
צ [Sade]
18 Batuyigga buli we tugenda+ ne kiba nti tetusobola kutambulira mu bifo byaffe ebya lukale.
Enkomerero yaffe esembedde; ennaku zaffe ziweddeyo, kubanga enkomerero yaffe etuuse.
ק [Kofu]
19 Abaali batuwondera baali bawenyuka okusinga empungu ez’omu bbanga.+
Baatugobera ku nsozi; baatuteegera mu ddungu.
ר [Lesu]
20 Oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta+ era omukka gw’omu nnyindo zaffe, bamukwasizza mu kinnya kyabwe ekinene,+
Oyo gwe twayogerako nti: “Tulituula mu kisiikirize kye mu mawanga.”
ש [Sini]
21 Jaganya era sanyuka ggwe muwala wa Edomu+ abeera mu nsi ya Uzzi.
Naye naawe ekikopo kijja kukuweebwa,+ era ojja kutamiira weeyambule osigale bukunya.+
ת [Tawu]
22 Ggwe muwala wa Sayuuni, ekibonerezo olw’ensobi zo kiweddeyo.
Tajja kuddamu kukutwala mu buwaŋŋanguse.+
Naye Katonda ajja kujjukira ensobi zo, ggwe muwala wa Edomu.
Ajja kwanika ebibi byo.+