Okukungubaga
א [Alefu]*
1 Yerusaalemi eyali ajjudde abantu, kati atudde bw’omu!+
Eyali alimu abantu abangi okusinga amawanga amalala,+ kati afuuse nga nnamwandu!
Eyali ng’omumbejja mu masaza, kati afuuse ng’omuddu!+
ב [Besu]
2 Akaaba nnyo ekiro,+ era amatama ge gabuna maziga ge.
Tewali n’omu ku baganzi be amubudaabuda.+
Banne bonna bamuliddemu olukwe;+ bafuuse balabe be.
ג [Gimeri]
3 Yuda agenze mu buwaŋŋanguse,+ abonaabona era ali mu buddu.+
Ajja kubeera mu mawanga;+ tafuna kiwummulo.
Abamuyigganya bonna bamujjidde ng’ali mu mbeera enzibu.
ד [Dalesi]
4 Enguudo ezigenda mu Sayuuni zikungubaga, olw’okuba tewali ajja ku mbaga.+
Enzigi ze zonna zimenyese;+ bakabona be basinda.
Abawala be embeerera banakuwavu, era naye ali mu bulumi bwa maanyi.
ה [Ke]
5 Abalabe be kati be bakama be;* abalabe be tebeefiirayo.+
Yakuwa amuleetedde okubeera mu nnaku olw’ebibi bye ebingi.+
Abaana be omulabe abatutte mu buwambe.+
ו [Wawu]
6 Muwala wa Sayuuni+ ekitiibwa kyonna kimuvuddeko.
Abakungu be balinga empeewo ezitalina muddo,
Era batambula nga bakooye mu maaso g’abo ababawondera.
ז [Zayini]
7 Mu kiseera ekyo ng’ali mu nnaku era nga talina wa kubeera, Yerusaalemi ajjukira
Ebintu byonna eby’omuwendo bye yalina mu biseera eby’edda.+
Abantu be bwe baagwa mu mukono gw’omulabe nga tewali amuyamba,+
ח [Kesu]
8 Yerusaalemi ayonoonye nnyo.+
Eyo ye nsonga lwaki afuuse ekintu ekitali kirongoofu.
Bonna abaali bamuwa ekitiibwa kati bamuyisaamu amaaso, olw’okuba bamulabye ng’ali bwereere.+
Asinda,+ era olw’obuswavu akyuka n’atunula eri.
ט [Tesu]
9 Obutali bulongoofu bwe buli mu byambalo bye.
Teyalowooza ku biseera bye eby’omu maaso.+
Okugwa kwe kwali kwa maanyi nnyo; talina amubudaabuda.
Ai Yakuwa, laba ennaku gye ndimu, olw’okuba omulabe yeegulumizza.+
י [Yodi]
10 Omulabe anyaze eby’obugagga bye byonna.+
Yerusaalemi alabye ab’amawanga nga bayingira mu kifo kye ekitukuvu,+
Abo be wagamba nti tebalina kujja mu kibiina kyo.
כ [Kafu]
11 Abantu be bonna basinda; banoonya emmere.+
Bawaddeyo ebintu byabwe eby’omuwendo bafune eky’okulya, basobole okusigala nga balamu.
Tunula, Ai Yakuwa, olabe nti nfuuse ng’omukazi* atalina mugaso.
ל [Lamedi]
12 Temufaayo mmwe mmwenna abayitawo ku luguudo?
Mutunule mulabe!
Eriyo obulumi obulinga obwo obwandeetebwako,
Yakuwa bwe yandeetera ku lunaku olw’obusungu bwe obubuubuuka?+
מ [Memu]
13 Yaweereza omuliro okuva mu ggulu n’agusindika mu magumba gange,+ buli limu n’alimala amaanyi.
Ateze ebigere byange ekitimba; ampalirizza okudda emabega.
Anfudde omukazi omunaku.
Mba mulwadde olunaku lwonna.
נ [Nuni]
14 Ebibi byange bisibiddwa ku nsingo yange ng’ekikoligo; abisibye n’omukono gwe.
Biteekeddwa ku nsingo yange, era mpeddemu amaanyi.
Yakuwa ampaddeyo mu mukono gw’abo be sisobola kulwanyisa.+
ס [Sameki]
15 Yakuwa anzigyeeko abasajja bange bonna ab’amaanyi.+
Ayise ekibiina kinnumbe, kibetente abavubuka bange.+
Yakuwa alinnyiridde muwala wa Yuda embeerera mu ssogolero.+
ע [Ayini]
16 Nkaaba olw’ebintu ebyo;+ amaaso gange gakulukusa amaziga.
Omuntu yenna eyandibadde ambudaabuda oba okunzizaamu amaanyi andi wala.
Abaana bange tebalina ssuubi olw’okuba omulabe atuwangudde.
פ [Pe]
17 Sayuuni ayanjadde engalo ze;+ talina amubudaabuda.
Abo bonna abeetoolodde Yakobo Yakuwa abalagidde babeere abalabe be.+
Gye bali Yerusaalemi afuuse ekintu ekitali kirongoofu.+
צ [Sade]
18 Yakuwa mutuukirivu,+ kubanga sigondedde biragiro bye.*+
Mmwe amawanga muwulirize, era mulabe obulumi bwe ndimu.
Abawala bange embeerera n’abavubuka bange bawambiddwa.+
ק [Kofu]
19 Nkoowodde baganzi bange, naye bandiddemu olukwe.+
ר [Lesu]
20 Laba, Ai Yakuwa, ndi mu nnaku ey’amaanyi.
Ebyenda bintokota.
Omutima gwange guli mu bulumi obw’amaanyi, kubanga mbadde mujeemu nnyo nnyini ddala.+
Ebweru ekitala kinzitira abaana;+ ne mu nnyumba mulimu okufa.
ש [Sini]
21 Abantu bawulidde okusinda kwange; teri n’omu ambudaabuda.
Abalabe bange bonna bawulidde akabi akantuuseeko.
Basanyufu olw’okuba okaleese.+
Naye ojja kuleeta olunaku lwe wagamba,+ lwe banaafuuka nga nze.+
ת [Tawu]
22 Ebintu ebibi byonna bye bakola ka bijje mu maaso go, era k’obabonereze,+
Nga bw’ombonerezza olw’ebibi byange byonna.
Kubanga nsinda nnyo, era omutima gwange mulwadde.