Zekkaliya
9 Ekirangiriro:
“Ekigambo kya Yakuwa kiranga akabi akagenda okutuuka ku nsi ya Kadulaki,
Era kyolekezeddwa* Ddamasiko;+
—Kubanga Yakuwa atadde amaaso ge ku bantu+
Ne ku bika bya Isirayiri byonna—
2 Era kiranga akabi akagenda okutuuka ne ku nsi ya Kamasi+ egiriraanye,
3 Ttuulo yeezimbira ekigo.
N’ekuŋŋaanya ffeeza mungi ng’enfuufu,
Ne zzaabu mungi ng’ebitoomi by’omu nguudo.+
Era eryokebwa omuliro.+
5 Asukulooni kiriraba ne kitya,
Ne Gaaza kirirumwa nnyo;
Ekulooni nakyo kirirumwa nnyo kubanga gwe kyali kyesiga aliba aswaziddwa.
Gaaza kirifiirwa kabaka waakyo,
Ate Asukulooni tekiribaamu bantu.+
6 Omwana omweboolereze alituula mu Asudodi,
Era ndimalawo amalala g’Omufirisuuti.+
7 Ndiggya mu kamwa ke ebintu ebirimu omusaayi,
Era ndiggya mu mannyo ge ebintu ebyenyinyaza;
Abalisigalawo ku bantu be baliba ba Katonda waffe;
Aliba ng’omwami mu Yuda,+
Ne Ekulooni kiriba ng’Omuyebusi.+
8 Ndisimba weema ebweru w’ennyumba yange okugikuuma,+
Waleme kubaawo ayingira wadde afuluma;
Tewaliba n’omu ku abo abakozesa abalala emirimu* aliddamu okuyita mu bo,+
Kubanga ndabye n’amaaso gange ekyabatuukako.*
9 Sanyuka nnyo, ggwe muwala wa Sayuuni.
Kuba emizira, ggwe muwala wa Yerusaalemi.
Laba! Kabaka wo ajja gy’oli.+
Yeebagadde omwana gw’endogoyi,* yeebagadde akayana k’endogoyi enkazi.+
10 Ndiggya amagaali g’entalo mu Efulayimu,
N’embalaasi mu Yerusaalemi.
Emitego egikozesebwa mu lutalo giriggibwawo.
Alirangirira emirembe eri amawanga,+
Era alifuga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,
11 Era naawe ggwe omukazi, olw’omusaayi gw’endagaano gye nnakola naawe,
Ndiggya abasibe bo mu kinnya ekitaliimu mazzi.+
12 Muddeeyo mu kigo mmwe abasibe abalina essuubi.+
Era nkugamba leero nti,
‘Ndikuwa omukisa gwa mirundi ebiri,+ ggwe omukazi.
13 Ndiweta* Yuda ng’omutego gwange ogw’akasaale.
Efulayimu ndimukozesa ng’akasaale ku mutego,
Era ndigolokosa abaana bo, ggwe Sayuuni,
Okulwanyisa abaana ba Buyonaani,
Era ndikufuula ng’ekitala eky’omulwanyi.’
14 Yakuwa alikiraga nti ali nabo,
Era akasaale ke kalivaayo ng’ekimyanso.
Yakuwa Mukama Afuga Byonna alifuuwa eŋŋombe,+
Era aligenda n’embuyaga ez’ebukiikaddyo.
15 Yakuwa ow’eggye kennyini alibalwanirira;
Balirya era balirinnyirira envuumuulo.+
Balinywa ne baleekaana ng’abanywedde omwenge;
Balijjula ng’ebbakuli,
Era balijjula ng’ensonda z’ekyoto.+
16 Ku lunaku olwo Yakuwa Katonda waabwe alibalokola
Ng’ekisibo ky’abantu be;+
Baliba ng’amayinja g’engule agamasamasa ku ttaka lye.+
17 Obulungi bwe nga busuffu,+
Era ng’alabika bulungi nnyo!
Emmere erinyiriza abalenzi,
Era omwenge omusu gulinyiriza abawala embeerera.”+