Kaabakuuku
1 Obubaka nnabbi Kaabakuuku* bwe yafuna mu kwolesebwa:
2 Ai Yakuwa, ndituusa wa okukukoowoola onnyambe, naye n’otowuliriza?+
Ndituusa wa okukukoowoola otuwonye ebikolwa eby’obukambwe, naye n’otobaako ky’okolawo?*+
3 Lwaki ondeka okulaba ebikolwa ebibi?
Era lwaki ogumiikiriza ebikolwa eby’okubonyaabonya abalala?
Lwaki okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange?
Era lwaki ennyombo n’enkaayana bingi nnyo?
4 Amateeka tegakyakola
Era tewakyali bwenkanya.
Ababi bakajjala ku batuukirivu,
Eyo ye nsonga lwaki obwenkanya bunyooleddwanyooleddwa.+
5 “Mutunuulire amawanga, mwetegereze!
Musamaalirire era muwuniikirire;
Waliwo ekijja okubaawo mu nnaku zammwe
Kye mutajja kukkiriza ne bwe kinaabagambibwa.+
Batalaaga ebitundu by’ensi eby’ewala
Okutwala ensi ezitali zaabwe.+
7 Ba ntiisa era abantu babatya.
Beeteerawo amateeka era beewa obuyinza.+
Embalaasi zaabwe ez’olutalo ziwenyuka;
Embalaasi zaabwe ziva wala nnyo.
Zikka ng’empungu eyanguwa okukwata eky’okulya.+
9 Bonna bajja nga bamaliridde okukola eby’obukambwe.+
Amaaso gaabwe gatunudde gye balaga ng’embuyaga ey’ebuvanjuba.+
Era bakuŋŋaanya abawambe ng’omusenyu.
Basekerera buli kigo;+
Batuuma ettaka ne bakiwamba.
12 Ai Yakuwa, tobaddeewo okuva edda n’edda?+
Ai Katonda wange, Omutukuvu wange, ggwe tofa.*+
Ai Yakuwa, wabalonda okutuukiriza omusango ogwasalibwa;
13 Amaaso go malongoofu nnyo, tegasobola kutunuulira bintu bibi,
Era tosobola kugumiikiriza bintu bibi.+
Kati lwaki ogumiikiriza abakuusakuusa+
Era n’osirika busirisi ng’omubi amira oyo amusinga obutuukirivu?+
14 Lwaki oleka abantu okuyisibwa ng’ebyenyanja ebiri mu nnyanja,
Ng’ebyewalula ebitalina abifuga?
15 Abo bonna abaggyayo* ng’akozesa eddobo.
Abawalulira mu kitimba kye,
Era abakuŋŋaanyiza mu katimba ke.
Eyo ye nsonga lwaki asanyuka nnyo.+
16 Eyo ye nsonga lwaki awaayo ssaddaaka* eri ekitimba kye,
Era awaayo ssaddaaka eri akatimba ke;
Kubanga bireetera omugabo gwe okuba omusava,
N’emmere ye nnungi nnyo.
17 Kati olwo aneeyongera bweyongezi kufukumula ebiri mu kitimba kye?*
Anaagenda mu maaso okutta amawanga awatali kusaasira?+