Zeffaniya
1 Yakuwa yayogera ne Zeffaniya* mutabani wa Kuusi mutabani wa Gedaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Keezeekiya, mu kiseera kya Yosiya+ mutabani wa Amoni+ kabaka wa Yuda, n’amugamba nti:
2 “Ndisaanyaawo ebintu byonna ku nsi,” Yakuwa bw’agamba.+
3 “Ndisaanyaawo abantu n’ensolo.
Ndisaanyaawo ebinyonyi eby’omu bbanga, n’eby’ennyanja mu nnyanja,+
N’ebyesittaza,*+ awamu n’ababi;
Era ndizikiriza abantu abali ku nsi,” Yakuwa bw’agamba.
4 “Ndigolola omukono gwange ne nnwanyisa Yuda
N’abantu b’omu Yerusaalemi bonna,
Era ndisaanyaawo mu kifo kino abantu ba Bbaali abakyasigaddewo,+
N’amannya ga bakabona ba bakatonda abalala, awamu ne bakabona abalala,+
5 N’abo abavunnamira eggye ery’oku ggulu nga bali waggulu ku busolya,+
N’abo abavunnama ne beeyama okuba abeesigwa eri Yakuwa+
Ate ne beeyama n’okuba abeesigwa eri Malukamu;+
6 N’abo abalekayo okugoberera Yakuwa,+
Era abatanoonya Yakuwa wadde okumwebuuzaako.”+
7 Musirike mu maaso ga Yakuwa Mukama Afuga Byonna, kubanga olunaku lwa Yakuwa luli kumpi okutuuka.+
Yakuwa ateeseteese ssaddaaka, era atukuzza abo b’ayise.
8 “Ku lunaku lwa ssaddaaka ya Yakuwa, ndibonereza abaami,
N’abaana ba kabaka,+ n’abo bonna abambala engoye ez’abagwira.
9 Ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna abalinnya ku kituuti,*
Abo abajjuza ennyumba ya bakama baabwe ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.”
10 Era Yakuwa agamba nti:
“Ku lunaku olwo walibaawo oluyoogaano ku Mulyango gw’Ebyennyanja,+
N’okukuba ebiwoobe mu kitundu ekipya eky’ekibuga,+
N’okubwatuka okw’amaanyi ku busozi.
11 Mukube ebiwoobe mmwe ababeera mu Makutesi,*
Kubanga abasuubuzi bonna basaanyiziddwawo;*
Abo bonna abapima ffeeza bazikiriziddwa.
12 Mu kiseera ekyo ndikwata ettaala ne njaza Yerusaalemi,
Era ndibonereza abo abateefiirayo, era abagamba mu mitima gyabwe nti,
‘Yakuwa talikola kirungi era talikola kibi.’+
13 Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n’ennyumba zaabwe ziryonoonebwa.+
Balizimba ennyumba naye tebalizibeeramu;
Era balisimba ennimiro z’emizabbibu naye tebalinywa mwenge guvaamu.+
14 Olunaku lwa Yakuwa olukulu luli kumpi okutuuka!+
Luli kumpi okutuuka era lwanguwa nnyo!+
Eddoboozi ly’olunaku lwa Yakuwa lya ntiisa.+
Ku lunaku olwo omulwanyi alikaaba.+
15 Olunaku olwo luliba lunaku lwa busungu;+
Luliba lunaku lwa buyinike n’obulumi,+
Luliba lunaku lwa mbuyaga n’okuzikiriza,
Luliba lunaku lwa kizikiza eky’amaanyi,+
Luliba lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte,+
16 Luliba lunaku lwa kufuuwa ŋŋombe n’okulaya enduulu z’olutalo+
Eri ebibuga ebiriko bbugwe n’eminaala emiwanvu egy’oku nsonda.+