Zeffaniya
3 Zikisanze ekibuga ekijeemu, ekyonoonefu, era ekiyisa obubi abantu baakyo!+
2 Tekyawuliriza ddoboozi lyonna;+ era tekyakkiriza kubuulirirwa.+
Tekyesiga Yakuwa,+ era tekyasemberera Katonda waakyo.+
3 Abaami baamu mpologoma eziwuluguma.+
Abalamuzi baamu misege egy’akawungeezi;
Tebafissaawo wadde eggumba ery’okumeketa okutuusa ku makya.
4 Bannabbi baakyo ba malala era bakuusa.+
5 Yakuwa mutuukirivu era abeera mu kyo;+ takola bintu bikyamu.
Buli ku makya alangirira obwenkanya bwe.+
Okufaananako ekitangaala eky’oku makya, tebubulawo.
Naye atali mutuukirivu takwatibwa nsonyi.+
6 “Nnazikiriza amawanga, era eminaala gyago egy’oku nsonda gyasaanawo.
Nnayonoona enguudo zaago ne wataba n’omu aziyitamu.
Ebibuga byago byasigala matongo nga tewali muntu abibeeramu.+
7 Nnagamba ekibuga nti, ‘Mazima ojja kuntya; ojja kukkiriza okukangavvulwa,’*+
Ekifo kyakyo ekibeerwamu kireme kusaanawo+
—Nteekwa okukivunaana* olw’ebintu ebyo byonna.
Naye beeyongera bweyongezi okwagala ennyo okukola ebintu ebibi.+
8 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Kale munnindirire*+
Okutuusa ku lunaku lwe ndijja okutwala omunyago,*
Kubanga nsazeewo okukuŋŋaanya amawanga, okukuŋŋaanya obwakabaka,
Mbafukeko ekiruyi kyange, mbafukeko obusungu bwange bwonna obubuubuuka;+
Kubanga obusungu bwange bulinga omuliro ogulyokya ensi yonna.+
9 Mu kiseera ekyo ndikyusa olulimi lw’amawanga ne ngawa olulimi olulongoofu,
Gonna gasobole okukoowoola erinnya lya Yakuwa,
10 Abantu bange abaasaasaana, abo abanneegayirira,
Baliva mu kitundu ky’emigga gya Esiyopiya ne bandeetera ekirabo.+
11 Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi
Olw’ebyo byonna bye wakola n’onjeemera,+
Kubanga ndiggya mu ggwe ab’amalala abeewaana;
Era toliddamu kuba na malala ku lusozi lwange olutukuvu.+
12 Ndireka mu ggwe abantu abeetoowaze era abawombeefu,+
Era balifuna obuddukiro mu linnya lya Yakuwa.
13 Abantu ba Isirayiri abalisigalawo+ tebalikola bitali bya butuukirivu;+
Tebalirimba, era mu kamwa kaabwe temulibaamu lulimi lukuusa;
Balirya ne bagalamira, era tewaliba abatiisa.”+
14 Yogerera waggulu n’essanyu ggwe muwala wa Sayuuni!
Kuba emizira ggwe Isirayiri!+
Sanyuka era ojaganye n’omutima gwo gwonna ggwe muwala wa Yerusaalemi!+
15 Yakuwa akuggyeeko emisango.+
Aggyeewo omulabe wo.+
Yakuwa kabaka wa Isirayiri ali wakati mu ggwe.+
Toliddamu kutya kabi.+
16 Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti:
“Totya ggwe Sayuuni.+
Toggwaamu maanyi.
17 Yakuwa Katonda wo ali wakati mu ggwe.+
Ajja kukulokola ng’omulwanyi omuzira.
Ajja kukusanyukira era ajja kujaganya nnyo.+
Ajja kusirika olw’okuba ajja kuba mumativu olw’okukulaga okwagala.
Ajja kukusanyukira ng’ayogerera waggulu n’essanyu.
18 Abo abali mu nnaku olw’obutaba ku mbaga zo ndibakuŋŋaanya;+
Tebaali wamu naawe olw’okuba baali baweebuddwa ku lulwe.+
19 Laba! Mu kiseera ekyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya;+
Ndirokola oyo awenyera,+
Era ndikuŋŋaanya abo abaasaasaanyizibwa.+
Ndibaleetera okutenderezebwa n’okuba n’ettutumu*
Mu buli nsi mwe baaswazibwa.
20 Mu kiseera ekyo ndibakomyawo mmwe,
Mu kiseera ekyo ndibakuŋŋaanya.