Abebbulaniya
4 Kale, okuva ekisuubizo ky’okuyingira mu kiwummulo bwe kikyaliwo, twegendereze waleme kubaawo n’omu ku ffe alemererwa okutuukiriza ebisaanyizo eby’okukiyingira.+ 2 Kubanga naffe tubuuliddwa amawulire amalungi+ era nga nabo bwe baabuulirwa; naye ekigambo kye baawulira tekyabaganyula olw’okuba tebaalina kukkiriza ng’okw’abo abaawulira. 3 Era ffe abakkirizza tuyingira mu kiwummulo kye yayogerako nti: “Nnasunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange,’”+ wadde ng’emirimu gye gyamalirizibwa okuva ku ntandikwa y’ensi.*+ 4 Kubanga mu kyawandiikibwa ekimu ayogera bw’ati ku lunaku olw’omusanvu: “Katonda n’awummula emirimu gye gyonna ku lunaku olw’omusanvu,”+ 5 ate era agamba nti: “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”+
6 N’olwekyo, okuva abamu bwe bakyalina okukiyingiramu, ate nga n’abo abaasooka okubuulirwa amawulire amalungi tebaakiyingiramu olw’obujeemu,+ 7 ateekawo nate olunaku olumu ng’ayogera mu zabbuli ya Dawudi oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti, “Leero”; ng’era bwe kyayogeddwako waggulu nti: “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe.”+ 8 Kubanga singa Yoswa+ yali abatuusizza mu kiwummulo, oluvannyuma Katonda teyandyogedde ku lunaku lulala. 9 N’olwekyo, wakyasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.+ 10 Kubanga omuntu ayingidde mu kiwummulo kya Katonda naye kennyini aba awummudde emirimu gye, nga ne Katonda bwe yawummula egigye.+
11 N’olwekyo, ka tufube nnyo okuyingira mu kiwummulo ekyo, waleme kubaawo n’omu agwa n’agoberera ekyokulabirako ekyo eky’obujeemu.+ 12 Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi,+ era kyogi okusinga ekitala ekisala eruuyi n’eruuyi,+ era kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima. 13 Ate era, tewali kitonde kyonna ekitalabika mu maaso ge,+ naye ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa oyo gwe tugenda okunnyonnyola bye twakola.+
14 N’olwekyo, nga bwe tulina kabona asinga obukulu eyagenda mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda,+ ka tweyongere okumulangirira.+ 15 Kubanga kabona asinga obukulu gwe tulina si y’oyo atayinza kutulumirirwa mu bunafu bwaffe,+ wabula y’oyo agezeseddwa mu byonna nga ffe, naye nga ye talina kibi.+ 16 N’olwekyo, ka tusemberere entebe ey’ekisa eky’ensusso era tusabe Katonda nga tetuliimu kutya kwonna,+ tulyoke tusaasirwe era tulagibwe ekisa eky’ensusso mu kiseera we twetaagira obuyambi.