Lukka
18 Awo n’abagerera olugero okubalaga nti kyali kibeetaagisa okusabanga bulijjo n’obutalekulira,+ 2 ng’agamba nti: “Mu kibuga ekimu waaliyo omulamuzi eyali tatya Katonda era nga tawa bantu kitiibwa. 3 Waaliwo ne nnamwandu mu kibuga ekyo eyagendanga gy’ali n’amugamba nti, ‘Beera mwenkanya ng’okola ku nsonga zange n’oyo gwe mpoza naye.’ 4 Omulamuzi n’amala ekiseera ng’akyagaanye okumuyamba, naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Wadde nga sitya Katonda era nga siwa muntu kitiibwa, 5 naye olw’okuba nnamwandu ono antawaanya olutata, nja kuba mwenkanya nga nkola ku nsonga ze alyoke alekere awo okunneetayirira n’okummalako emirembe.’”+ 6 Awo Mukama waffe n’agamba nti: “Muwulire omulamuzi kye yagamba wadde nga teyali mutuukirivu! 7 Mazima ddala, Katonda talifaayo okulaba nti obwenkanya bubaawo eri abalonde be abamukaabirira emisana n’ekiro,+ era n’aba mugumiikiriza gye bali?+ 8 Mazima mbagamba nti, alikakasa nti balagibwa obwenkanya mu bwangu. Naye Omwana w’omuntu bw’alijja, ddala alisanga okukkiriza okw’engeri eno* ku nsi?”
9 N’abo abaali beetwala okuba abatuukirivu era abaali banyooma abalala n’abagerera olugero luno: 10 “Abasajja babiri baagenda mu yeekaalu okusaba; omu yali Mufalisaayo, omulala nga musolooza wa musolo. 11 Awo omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba ng’ayogera ebintu bino mu mutima gwe, ‘Ai Katonda, nkwebaza olw’okuba siri ng’abantu abalala—abanyazi, abatali batuukirivu, abenzi—oba ng’ono omusolooza w’omusolo. 12 Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki era mpaayo ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’+ 13 Naye ye omusolooza w’omusolo n’ayimirira walako, nga tayagala na kuyimusa maaso ge kutunula waggulu, naye n’akuba mu kifuba kye ng’agamba nti, ‘Ai Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.’+ 14 Mbagamba nti, omusajja ono yaddayo ewuwe nga mutuukirivu okusinga Omufalisaayo oyo.+ Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”+
15 Awo abantu ne bamuleetera abaana baabwe abato abakwateko, naye abayigirizwa bwe baakiraba, ne bababoggolera.+ 16 Kyokka Yesu n’ayita abaana ng’agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bw’abo abalinga abaana abato.+ 17 Mazima mbagamba nti, omuntu yenna atakkiriza Bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu.”+
18 Omufuzi omu n’amubuuza nti: “Omuyigiriza Omulungi, kiki kye nteekwa okukola okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?”+ 19 Yesu n’amugamba nti: “Lwaki ompita omulungi? Teri mulungi, okuggyako Katonda.+ 20 Amateeka ogamanyi: ‘Toyendanga,+ tottanga,+ tobbanga,+ towaayirizanga,+ kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’”+ 21 N’agamba nti: “Ago gonna mbadde ngakwata okuva mu buto.” 22 Yesu bwe yawulira ekyo n’amugamba nti: “Waliwo ekintu kimu kyokka ky’obuzaayo: Tunda ebintu byonna by’olina, ssente ezinaavaamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu; bw’omala okukola ekyo, ojje ongoberere.”+ 23 Bwe yawulira kino n’anakuwala nnyo, kubanga yali mugagga nnyo.+
24 Yesu n’amutunuulira, n’agamba nti: “Nga kijja kuba kizibu nnyo abalina ssente okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda!+ 25 Mu butuufu, kyangu eŋŋamira okuyita mu katuli k’empiso etunga, okusinga omugagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.”+ 26 Abo abaawulira ekyo ne bagamba nti: “Ddala ani ayinza okulokolebwa?”+ 27 N’agamba nti: “Ebintu ebitasoboka eri abantu, bisoboka eri Katonda.”+ 28 Naye Peetero n’amugamba nti: “Laba! Twaleka ebintu byaffe ne tukugoberera.”+ 29 N’abagamba nti: “Mazima mbagamba nti, tewali n’omu eyaleka ennyumba, mukazi we, baganda be, bazadde be, oba abaana olw’Obwakabaka bwa Katonda,+ 30 atalifuna ebisingawo emirundi mingi mu kiseera kino, n’obulamu obutaggwaawo+ mu nteekateeka y’ebintu* egenda okujja.”
31 Awo n’azza Ekkumi n’Ababiri ku bbali, n’abagamba nti: “Laba! Tugenda e Yerusaalemi, era ebintu byonna bannabbi bye baawandiika ku Mwana w’omuntu bijja kutuukirira.+ 32 Ng’ekyokulabirako, ajja kuweebwayo eri ab’amawanga,+ ajja kusekererwa,+ ajja kuyisibwa bubi, era ajja kuwandulirwa amalusu.+ 33 Era oluvannyuma lw’okumukuba ennyo, bajja kumutta,+ naye ku lunaku olw’okusatu ajja kuzuukira.”+ 34 Kyokka tebaategeera bintu ebyo kubanga amakulu gaabyo gaali gabakwekeddwa, era tebaategeera bye yali abagambye.
35 Yesu bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko, waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku mabbali g’ekkubo ng’asabiriza.+ 36 Bwe yawulira ekibiina ky’abantu nga kiyitawo, n’abuuza ekyali kigenda mu maaso. 37 Ne bamugamba nti: “Yesu Omunnazaaleesi ayitawo.” 38 Awo n’ayogerera waggulu ng’agamba nti: “Yesu, Omwana wa Dawudi, nsaasira!” 39 Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera nga bamugamba asirike, naye ye ne yeeyongera okwogerera waggulu nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira!” 40 Awo Yesu n’ayimirira era n’alagira baleete omusajja oyo w’ali. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti: 41 “Kiki ky’oyagala nkukolere?” N’amuddamu nti: “Mukama wange, nzibula amaaso.” 42 Yesu n’amugamba nti: “Zibuka; okukkiriza kwo kukuwonyezza.”+ 43 Amangu ago n’azibuka amaaso n’amugoberera+ ng’agulumiza Katonda. N’abantu bonna bwe baakiraba ne batendereza Katonda.+