Isaaya
42 Laba! Omuweereza wange+ gwe mpanirira!
Oyo gwe nnalonda,+ gwe nsanyukira!+
Mu bwesigwa alireeta obwenkanya.+
4 Talizimeera era talyatikayatika; alissaawo obwenkanya mu nsi.+
Era ebizinga birindirira amateeka ge.*
5 Bw’ati Katonda ow’amazima, Yakuwa, bw’agamba,
Oyo eyatonda eggulu era eyalibamba,+
Eyayanjuluza ensi era eyakola byonna ebigiriko.+
6 “Nze Yakuwa, nkuyise mu butuukirivu;
Nkukutte ku mukono.
Nja kukukuuma era nja kukuwaayo ng’endagaano eri abantu+
Era ng’ekitangaala ky’amawanga,+
Okuggya omusibe mu kaduukulu,
N’okuggya mu kkomera abo abatudde mu kizikiza.+
8 Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange;
Ekitiibwa kyange sirina mulala gwe nkiwa,*
N’ettendo lyange siriwa bifaananyi byole.+
9 Laba, ebintu ebyasooka biyise;
Kaakano nnangirira ebintu ebipya.
Nga tebinnabaawo, mbibabuulira.”+
10 Muyimbire Yakuwa oluyimba olupya,+
Muyimbe ettendo lye okuva ensi gy’ekoma,+
Mmwe abasaabala ku nnyanja era ne byonna ebigirimu,
Mmwe ebizinga n’ababibeerako.+
Abatuuze b’oku lwazi ka boogerere waggulu n’essanyu;
Ka baleekaanire ku ntikko z’ensozi.
12 Ka bawe Yakuwa ekitiibwa
Era balangirire ettendo lye mu bizinga.+
13 Yakuwa alifuluma ng’omusajja ow’amaanyi.+
Alizuukusa obumalirivu bwe ng’omulwanyi.+
Alireekaana, aliraya enduulu z’olutalo;
Alyeraga nti wa maanyi okusinga abalabe be.+
14 “Nsirise okumala ekiseera kiwanvu.
Nsirise era ne nneefuga.
Okufaananako omukazi azaala,
Ndisinda, ndiwejjawejja, era ndissa ebikkowe.
15 Ndyonoona ensozi n’obusozi
Era ndikaza ebimera byakwo byonna.
16 Ndikulemberamu abazibe b’amaaso ne mbayisa mu kkubo lye batamanyi+
Ndibatambuliza mu bukubo bwe batamanyi.+
Ekizikiza ekiri mu maaso gaabwe ndikifuula kitangaala+
Era ebifo ebirimu ebisirikko ndibifuula bya museetwe.+
Ebyo bye ndibakolera, era siribaabulira.”
17 Abo abeesiga ebifaananyi ebyole,
Abo abagamba ebifaananyi eby’ekyuma* nti: “Mmwe bakatonda baffe,”+
Balizzibwa emabega era baliswazibwa.
18 Muwulirize mmwe bakiggala;
Mutunule mulabe mmwe bamuzibe.+
19 Ani muzibe? Si ye muweereza wange?
Ani kiggala ng’omubaka gwe ntuma?
Ani azibye amaaso ng’oyo aweebwa empeera?
Ani azibye amaaso ng’omuweereza wa Yakuwa?+
20 Olaba ebintu bingi naye teweetegereza.
Otega amatu naye towulira.+
21 Ku lw’obutuukirivu bwe,
Yakuwa kimusanyusa okulaga nti amateeka ga waggulu era nti ga kitiibwa.
22 Naye abantu bano banyagibwa era babbibwa;+
Bonna basuuliddwa mu bunnya era bakwekeddwa mu makomera.+
Banyagiddwa ne wataba abanunula,+
Era babbiddwa ne wataba agamba nti: “Mubakomyewo!”
23 Ani mu mmwe aliwulira kino?
Ani alissaayo omwoyo n’ayiga ebirimuyamba mu biseera eby’omu maaso?
24 Ani awaddeyo Yakobo okunyagibwa,
Era awaddeyo Isirayiri eri abanyazi?
Si ye Yakuwa, Oyo gwe baajeemera?
25 Kyeyavanga afuka obusungu ku Isirayiri,
Obusungu bwe n’ekiruyi ky’olutalo.+
Olutalo lwayokya buli kintu ekyali kimwetoolodde, naye teyassaayo mwoyo.+
Olutalo lwamwokya, naye n’ateefiirayo.+