1 Bassekabaka
18 Bwe waayitawo ekiseera,+ mu mwaka ogw’okusatu, Yakuwa n’agamba Eriya nti: “Genda weerage eri Akabu; ŋŋenda kutonnyesa enkuba ku nsi.”+ 2 Awo Eriya n’agenda okweraga eri Akabu, ng’enjala ekyali ya maanyi nnyo+ mu Samaliya.
3 Awo Akabu n’ayita Obadiya eyali alabirira ennyumba ya kabaka. (Obadiya yali atya nnyo Yakuwa, 4 era Yezebeeri+ bwe yali atta bannabbi ba Yakuwa, Obadiya yaddira bannabbi 100 n’abakweka, ataano ataano mu buli mpuku, n’abawanga emmere n’amazzi.) 5 Akabu n’agamba Obadiya nti: “Genda otambuletambule mu nsi otuuke ku nzizi zonna ne mu biwonvu* byonna. Oboolyawo tuyinza okusangayo omuddo ogumala okubeesaawo embalaasi n’ennyumbu, tuleme okufiirwa ensolo zaffe zonna.” 6 Ne beegabanyizaamu ekitundu kye baali bagenda okuyitaayitamu. Akabu n’akwata ekkubo erimu n’agenda yekka, ne Obadiya n’akwata ekkubo eddala n’agenda yekka.
7 Obadiya bwe yali agenda, Eriya n’amusisinkana. Obadiya n’amutegeererawo, n’avunnama n’agamba nti: “Ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?”+ 8 Eriya n’amuddamu nti: “Nze nzuuno. Genda ogambe mukama wo nti: ‘Eriya ali wano.’” 9 Naye Obadiya n’amugamba nti: “Kibi ki kye nkoze, olyoke oweeyo omuweereza wo mu mukono gwa Akabu anzite? 10 Nga Yakuwa Katonda wo bw’ali omulamu, tewali ggwanga wadde obwakabaka mukama wange gy’ataatuma bantu kukunoonya. Era bwe baagambanga nti, ‘Tali wano,’ ng’alayiza ab’obwakabaka obwo oba ab’eggwanga eryo okukakasa nti tebakuzudde.+ 11 Kyokka kaakano oŋŋamba nti, ‘Genda ogambe mukama wo nti: “Eriya ali wano.”’ 12 Bwe nnaaba nvudde w’oli, omwoyo gwa Yakuwa gujja kukutwala+ gye simanyi, era bwe nnaategeeza Akabu naye n’atakulaba, ajja kunzita. So ng’ate omuweereza wo abadde atya Yakuwa okuviira ddala mu buto bwe. 13 Mukama wange, tebaakubuulira kye nnakola, Yezebeeri bwe yali atta bannabbi ba Yakuwa, nga bwe nnakweka bannabbi ba Yakuwa 100 mu mpuku mu bibinja, nga buli kibinja kirimu bannabbi 50, ne mbawanga emmere n’amazzi?+ 14 Naye kaakano oŋŋamba nti, ‘Genda ogambe mukama wo nti: “Eriya ali wano.”’ Ajja kunzita.” 15 Kyokka Eriya n’agamba nti: “Nga Yakuwa ow’eggye gwe mpeereza* bw’ali omulamu, olwa leero nja kweraga gy’ali.”
16 Obadiya n’agenda okusisinkana Akabu n’amutegeeza, era Akabu n’agenda okusisinkana Eriya.
17 Akabu olwalaba Eriya, n’amugamba nti: “Ye ggwe wuuyo, aleetedde Isirayiri emitawaana egy’amaanyi?”
18 Eriya n’addamu nti: “Si nze aleetedde Isirayiri emitawaana, wabula ggwe n’ab’ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Yakuwa ne mugoberera Babbaali.+ 19 Kaakano yita Abayisirayiri bonna bajje gye ndi ku Lusozi Kalumeeri+ awamu ne bannabbi ba Bbaali 450, ne bannabbi 400 ab’ekikondo ekisinzibwa,*+ abalya ku mmeeza ya Yezebeeri.” 20 Awo Akabu n’aweereza obubaka mu bantu bonna ab’omu Isirayiri era n’akuŋŋaanya wamu bannabbi ku Lusozi Kalumeeri.
21 Awo Eriya n’asemberera abantu bonna n’abagamba nti: “Mulituusa wa okutta aga n’aga?+ Yakuwa bw’aba nga ye Katonda ow’amazima, mumugoberere;+ naye Bbaali bw’aba nga ye Katonda ow’amazima, ye gwe muba mugoberera!” Naye abantu ne batamunyega kigambo kyonna. 22 Eriya n’agamba abantu nti: “Nze nnabbi wa Yakuwa yekka asigaddewo,+ naye bannabbi ba Bbaali bali 450. 23 Kale batuwe ente ento ennume bbiri, bannabbi ba Bbaali beerondereko emu bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebakoleezaako muliro. Nange nja kukola ku nte ey’okubiri, ngiteeke ku nku naye sijja kukoleezaako muliro. 24 Mujja kukoowoola erinnya lya katonda wammwe,+ nange nja kukoowoola erinnya lya Yakuwa. Katonda anaayanukula n’aweereza omuliro, nga ye Katonda ow’amazima.”+ Abantu bonna ne bagamba nti: “Ky’oyogedde kirungi.”
25 Awo Eriya n’agamba bannabbi ba Bbaali nti: “Mmwe muba musooka okulondako ente emu ennume mugikoleko, kubanga mmwe abangi, oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, kyokka temukoleezaako muliro.” 26 Ne baddira ente eyali ebaweereddwa, ne bagikolako, ne bakoowoola erinnya lya Bbaali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bagamba nti: “Ai Bbaali twanukule!” Kyokka ne wataba kanyego wadde abaanukula.+ Ne babuukabuuka nga bwe beetooloola ekyoto kye baali bazimbye. 27 Bwe bwatuuka mu ttuntu, Eriya n’atandika okubakudaalira ng’agamba nti: “Mumukoowoole mu ddoboozi ery’omwanguka, anti katonda!+ Yandiba ng’alina ky’afumiitirizaako oba ng’agenze kweteewuluza.* Oba ayinza okuba nga yeebase nga kyetaagisa omuntu okumuzuukusa.” 28 Baali bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, era nga beesalaasala ebiso n’amafumu ng’akalombolombo kaabwe bwe kaali, okutuusa lwe baatiiriika omusaayi. 29 Ekiseera ky’ettuntu kyali kiyise, era ne beeyongera okweyisa ng’abaguddemu akazoole* okutuusa ekiseera eky’okuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, naye ne watabaawo kanyego wadde n’omu abaanukula; tewaali assaayo mwoyo.+
30 Nga wayiseewo ekiseera, Eriya yagamba abantu bonna nti: “Musembere we ndi.” Abantu bonna ne basembera we yali. Awo Eriya n’addaabiriza ekyoto kya Yakuwa ekyali kimenyeddwa.+ 31 N’addira amayinja 12, ng’omuwendo bwe guli ogw’ebika by’abaana ba Yakobo, Yakuwa gwe yagamba nti: “Isirayiri lye linaabanga erinnya lyo.”+ 32 Amayinja ago n’agazimbisa ekyoto+ mu linnya lya Yakuwa, era n’asima olukonko okwetooloola ekyoto, ng’obunene bwalwo busobola okusigibwamu ebigera bya seya* bibiri eby’ensigo. 33 Bwe yamala n’atindikira enku ku kyoto, n’atemaatema ente ento ennume n’agiteeka ku nku ezo.+ Awo n’agamba nti: “Mujjuze ensuwa ennene nnya amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku.” 34 N’alyoka abagamba nti: “Mukole bwe mutyo omulundi omulala.” Ne bakola bwe batyo omulundi omulala. Ate era n’abagamba nti: “Mukole bwe mutyo n’omulundi ogw’okusatu.” Awo ne bakola bwe batyo omulundi ogw’okusatu. 35 Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, era n’olukonko n’alujjuza amazzi.
36 Awo nga mu kiseera eky’okuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ nnabbi Eriya n’asembera awaali ekyoto n’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa Ibulayimu,+ Isaaka,+ ne Isirayiri, olwa leero ka kimanyibwe nti ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze ndi muweereza wo, era nti ggwe ondagidde okukola ebintu bino byonna.+ 37 Nnyanukula, Ai Yakuwa, nnyanukula, abantu bano balyoke bamanye nti ggwe, Yakuwa, ggwe Katonda ow’amazima, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.”+
38 Awo omuliro gwa Yakuwa ne guva waggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa+ n’enku n’amayinja n’ettaka, era ne gukaliza n’amazzi agaali mu lukonko.+ 39 Abantu bonna olwakiraba, ne bavunnama ne bagamba nti: “Yakuwa ye Katonda ow’amazima! Yakuwa ye Katonda ow’amazima!” 40 Awo Eriya n’abagamba nti: “Mukwate bannabbi ba Bbaali! Temukkiriza n’omu kutoloka!” Amangu ago ne babakwata, Eriya n’abaserengesa ku kagga* Kisoni+ n’abattira eyo.+
41 Awo Eriya n’agamba Akabu nti: “Yambuka olye era onywe, kubanga mpulira okuwuuma kw’enkuba ey’amaanyi.”+ 42 Akabu n’ayambuka okulya n’okunywa, naye Eriya n’ayambuka ku ntikko y’Olusozi Kalumeeri n’afukamira ku ttaka ng’omutwe agutadde wakati w’amaviivi ge.+ 43 N’agamba omuweereza we nti: “Yambuka otunule ku luuyi awali ennyanja.” N’ayambuka, n’atunulayo, n’agamba nti: “Teri kantu.” Eriya n’amugamba emirundi musanvu nti: “Ddayo.” 44 Ku mulundi ogw’omusanvu, omuweereza we n’agamba nti: “Eriyo akale akatono akalinga ekibatu ky’omuntu akambuka okuva mu nnyanja!” Awo Eriya n’amugamba nti: “Genda ogambe Akabu nti, ‘Teekateeka eggaali lyo oserengete, enkuba ereme kukulemesa kugenda!’” 45 Mu kiseera ekyo eggulu lyakwata ebire, embuyaga n’ekunta, enkuba n’etonnya nnyingi nnyo;+ era Akabu ne yeeyongera okuvuga eggaali n’atuuka e Yezuleeri.+ 46 Naye omukono gwa Yakuwa ne guba ku Eriya, ne yeesiba ekyambalo kye mu kiwato n’adduka ng’akulembeddemu Akabu okutuukira ddala e Yezuleeri.