2 Samwiri
17 Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti: “Ka nnonde abasajja 12,000, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. 2 Nja kumutuukako ng’akooye era ng’aweddemu amaanyi,*+ mmukube entiisa; abantu bonna abali naye bajja kudduka, era nja kutta kabaka yekka.+ 3 Awo nja kukomyawo abantu bonna gy’oli. Okudda kw’abantu bonna kwesigamye ku ekyo ekinaatuuka ku muntu gw’onoonya. Awo abantu bonna bajja kuba mu mirembe.” 4 Ekiteeso ekyo kyali kirungi eri Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri bonna.
5 Naye Abusaalomu n’agamba nti: “Muyite ne Kusaayi+ Omwaluki, tuwulire naye ky’agamba.” 6 Awo Kusaayi n’agenda eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti: “Akisoferi agambye bw’ati ne bw’ati. Tukole nga bw’agambye? Bwe kitaba bwe kityo, ggwe tubuulire kye tuba tukola.” 7 Awo Kusaayi n’agamba Abusaalomu nti: “Amagezi Akisoferi g’akuwadde ku mulundi guno si malungi!”+
8 Kusaayi era n’agamba nti: “Omanyi bulungi nti kitaawo n’abasajja be ba maanyi,+ era nti bakambwe nnyo ng’eddubu eribuliddwako abaana baalyo ku ttale.+ Ate era kitaawo mulwanyi muzira,+ era tajja kusula na bantu. 9 Mu kiseera kino yeekwese mu emu ku mpuku* oba mu kifo ekirala;+ era bw’anaaba nga y’asoose okubalumba, abanaakiwulira bajja kugamba nti, ‘Abantu abagoberera Abusaalomu bawanguddwa!’ 10 N’omusajja omuzira alina omutima ng’ogw’empologoma,+ omutima gwe gujja kusaanuuka olw’okutya, kubanga Abayisirayiri bonna bamanyi nti kitaawo musajja wa maanyi,+ era nti n’abo abali naye basajja bazira. 11 Naye nze amagezi ge mpa ge gano: Kuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba,+ nga bangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja,+ obakulembere mugende mulwane. 12 Tujja kumulumba yonna gy’anaaba, tumugweko ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka; ye n’abasajja abali naye tewajja kubaawo n’omu awonawo. 13 Bw’anaabaako ekibuga ky’addukiramu, Abayisirayiri bonna bajja kuleeta emiguwa mu kibuga ekyo, era tujja kukiwalula tukitwale mu kiwonvu, waleme kusigalawo wadde akayinja.”
14 Awo Abusaalomu n’abasajja ba Isirayiri bonna ne bagamba nti: “Amagezi ga Kusaayi Omwaluki gasinze aga Akisoferi!”+ Yakuwa yali amaliridde* okulemesa amagezi ga Akisoferi wadde nga gaali malungi,+ Yakuwa asobole okuleetera Abusaalomu emitawaana.+
15 Oluvannyuma Kusaayi yagamba Zadooki ne Abiyasaali+ bakabona nti: “Amagezi Akisoferi g’awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri gabadde bwe gati ne bwe gati, ate nze amagezi ge mbawadde gabadde bwe gati ne bwe gati. 16 Kale nno muweereze mangu Dawudi obubaka mumulabule nti: ‘Ekiro kino tosula ku misomoko egy’omu ddungu, naye somoka omugga, si kulwa nga kabaka n’abantu bonna abali naye basaanyizibwawo.’”*+
17 Yonasaani+ ne Akimaazi+ baali babeera bweru wa kibuga okumpi ne Eni-rogeri,+ nga tebaagala kulabibwa muntu yenna. Awo omuwala omuweereza n’agenda n’ababuulira byonna, ne bagenda ne bategeeza Kabaka Dawudi. 18 Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba n’abuulira Abusaalomu. Awo bombi ne bagenda mangu ne batuuka ku nnyumba y’omusajja omu mu Bakulimu,+ eyalina oluzzi mu luggya lwe, ne bakka omwo. 19 Oluvannyuma mukazi w’omusajja oyo n’addira olugoye n’abikka ku luzzi, n’aluyiwako lwonna emmere ey’empeke ensekule; era tewali n’omu eyakimanya. 20 Awo abaweereza ba Abusaalomu ne bajja ew’omukazi oyo ne bamubuuza nti: “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Omukazi n’abaddamu nti: “Bayise wano ne bagenda ku mugga.”+ Abasajja ne babanoonya naye ne batabalaba, bwe batyo ne baddayo e Yerusaalemi.
21 Abasajja bwe baagenda, ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza Kabaka Dawudi. Baamugamba nti: “Muyimuke musomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi agambye bw’ati ne bw’ati.”+ 22 Amangu ago Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bayimuka ne basomoka Omugga Yoludaani. Obudde we bwakeerera, bonna baali bamaze okusomoka Omugga Yoludaani.
23 Akisoferi bwe yalaba ng’amagezi ge tebagagoberedde, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda mu nnyumba ye mu kibuga ky’ewaabwe.+ Bwe yamala okubaako ebiragiro by’awa ab’omu nnyumba ye,+ ne yeetuga.+ Bw’atyo n’afa, era ne bamuziika mu kifo gye baaziika bajjajjaabe.
24 Awo Dawudi n’agenda e Makanayimu,+ era Abusaalomu n’asomoka Yoludaani ng’ali n’abasajja ba Isirayiri bonna. 25 Abusaalomu yafuula Amasa+ omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu;+ Amasa yali mutabani w’omusajja Omuyisirayiri eyali ayitibwa Isira, eyeegatta ne Abbigayiri+ muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya, nnyina wa Yowaabu. 26 Abayisirayiri ne Abusaalomu baasiisira mu kitundu ky’e Gireyaadi.+
27 Dawudi olwatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba+ eky’Abaamoni, ne Makiri+ mutabani wa Ammiyeri ow’e Lo-debali, ne Baluzirayi+ Omugireyaadi ow’e Logerimu, 28 ne baleeta ebitanda, bbenseni, ebibya eby’ebbumba, eŋŋaano, ssayiri, obuwunga, emmere ey’empeke ensiike, ebijanjaalo, empindi, empokya ensiike, 29 omubisi gw’enjuki, omuzigo, endiga, n’amata g’ente aga bbongo. Ebyo byonna baabireetera Dawudi n’abantu abaali naye babirye,+ kubanga baagamba nti: “Abantu balumwa enjala n’ennyonta, era bakooyedde mu ddungu.”+