Ezera
2 Bano be bantu b’omu ssaza* abaava mu abo abaawaŋŋangusibwa,+ Nebukadduneeza kabaka wa Babulooni be yatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni+ oluvannyuma ne bakomawo e Yerusaalemi ne mu Yuda, buli omu mu kibuga kye,+ 2 abo abajja ne Zerubbaberi,+ Yesuwa,+ Nekkemiya, Seraya, Leeraya, Moluddekaayi, Birusani, Misupaali, Biguvayi, Lekumu, ne Bbaana.
Omuwendo gw’abasajja ba Isirayiri gwe guno:+ 3 Abaana ba Palosi, 2,172; 4 abaana ba Sefatiya, 372; 5 abaana ba Ala,+ 775; 6 abaana ba Pakasu-mowaabu+ ab’oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, 2,812; 7 abaana ba Eramu,+ 1,254; 8 abaana ba Zattu,+ 945; 9 abaana ba Zakkayi, 760; 10 abaana ba Bani, 642; 11 abaana ba Bebayi, 623; 12 abaana ba Azugaadi, 1,222; 13 abaana ba Adonikamu, 666; 14 abaana ba Biguvayi, 2,056; 15 abaana ba Adini, 454; 16 abaana ba Ateri ow’omu nnyumba ya Keezeekiya, 98; 17 abaana ba Bezayi, 323; 18 abaana ba Yola, 112; 19 abaana ba Kasumu,+ 223; 20 abaana ba Gibbali, 95; 21 abaana b’e Besirekemu, 123; 22 abasajja b’e Netofa, 56; 23 abasajja b’e Anasosi,+ 128; 24 abaana b’e Azumavesi, 42; 25 abaana b’e Kiriyasu-yalimu, n’e Kefira, n’e Beerosi, 743; 26 abaana b’e Laama+ n’e Geba,+ 621; 27 abasajja b’e Mikumasi, 122; 28 abasajja b’e Beseri n’e Ayi,+ 223; 29 abaana b’e Nebo,+ 52; 30 abaana ba Magubisi, 156; 31 abaana ba Eramu omulala, 1,254; 32 abaana ba Kalimu, 320; 33 abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, 725; 34 abaana b’e Yeriko, 345; 35 abaana ba Sena, 3,630.
36 Bakabona:+ abaana ba Yedaya+ ow’omu nnyumba ya Yesuwa,+ 973; 37 abaana ba Immeri,+ 1,052; 38 abaana ba Pasukuli,+ 1,247. 39 abaana ba Kalimu,+ 1,017.
40 Abaleevi:+ abaana ba Yesuwa n’aba Kadumyeri,+ ab’omu nnyumba ya Kodaviya, 74. 41 Abayimbi:+ abaana ba Asafu,+ 128. 42 Abaana b’abakuumi b’oku miryango:+ abaana ba Salumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni,+ abaana ba Akkubu,+ abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna awamu 139.
43 Abaweereza b’oku yeekaalu:*+ abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi, 44 abaana ba Kerosi, abaana ba Siyaka, abaana ba Padoni, 45 abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Akkubu, 46 abaana ba Kagabu, abaana ba Salumayi, abaana ba Kanani, 47 abaana ba Gidderu, abaana ba Gakali, abaana ba Leyaya, 48 abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, abaana ba Gazzamu, 49 abaana ba Uzza, abaana ba Paseya, abaana ba Besayi, 50 abaana ba Asuna, abaana b’Abamewuni, abaana ba Nefusimu, 51 abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli, 52 abaana ba Bazulusi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa, 53 abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema, 54 abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.
55 Abaana b’abaweereza ba Sulemaani: abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Peruda,+ 56 abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderu, 57 abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresu-kazzebayimu, abaana ba Ami.
58 Abaweereza b’oku yeekaalu* bonna n’abaana b’abaweereza ba Sulemaani baali 392.
59 Bano be baava e Teru-meera, n’e Teru-kalusa, n’e Kyerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye nga baali tebamanyi nnyumba za bakitaabwe oba gye basibuka okukakasa nti Bayisirayiri:+ 60 abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, n’abaana ba Nekoda, 652. 61 Ku baana ba bakabona: abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi,+ n’abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi+ Omugireyaadi n’ayitibwa erinnya lyabwe. 62 Abo baanoonya amannya g’empya zaabwe mu biwandiiko okukakasa obuzaale bwabwe naye ne batagalabamu; kye baava batakkirizibwa kuweereza nga bakabona.+ 63 Gavana* yabagamba nti baali tebasobola kulya ku bintu ebitukuvu ennyo+ okutuusa nga waliwo kabona asobola okwebuuza ng’akozesa Ulimu ne Sumimu.+
64 Ekibiina kyonna awamu kyalimu abantu 42,360,+ 65 nga tobaliddeeko baddu baabwe abasajja n’abakazi abaali 7,337; era baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi 200. 66 Embalaasi zaabwe zaali 736, ennyumbu zaabwe zaali 245, 67 eŋŋamira zaabwe zaali 435, ate endogoyi zaabwe zaali 6,720.
68 Bwe baatuuka awaali ennyumba ya Yakuwa mu Yerusaalemi, abamu ku bakulu b’ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo ebiweebwayo ebya kyeyagalire+ ku lw’ennyumba ya Katonda ow’amazima, esobole okuddamu okuzimbibwa* mu kifo we yabeeranga.+ 69 Okusinziira ku busobozi bwabwe, baawaayo mu ggwanika ly’omulimu gw’okuzimba, dulakima* za zzaabu 61,000, ne mina* za ffeeza 5,000,+ n’ebyambalo bya bakabona 100. 70 Awo bakabona n’Abaleevi n’abamu ku bantu n’abayimbi n’abakuumi b’oku miryango n’abaweereza b’oku yeekaalu* ne batuula mu bibuga byabwe, n’Abayisirayiri abalala bonna ne batuula mu bibuga byabwe.+