Ekyamateeka
33 Guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda ow’amazima gwe yawa Abayisirayiri nga tannafa.+ 2 Yagamba nti:
“Yakuwa yajja ng’ava ku Sinaayi,+
Era yabaakira ng’ayima ku Seyiri.
Yayakira mu kitiibwa ng’ava mu kitundu ky’e Palani eky’ensozi,+
Yali ne bamalayika abatukuvu mitwalo na mitwalo,+
Ku mukono gwe ogwa ddyo waaliwo abalwanyi be.+
5 Katonda yafuuka kabaka mu Yesuluni,*+
Abakulu b’abantu bwe baakuŋŋaana,+
Awamu n’ebika bya Isirayiri byonna.+
7 Guno gwe mukisa gwe yawa Yuda:+
“Ai Yakuwa, wulira eddoboozi lya Yuda,+
Era mukomyewo eri abantu be.
Emikono gye girwaniridde ekikye,
Muyambe okulwanyisa abalabe be.”+
8 Ate ku Leevi yayogera nti:+
“Sumimu yo* ne Ulimu yo+ bya musajja omwesigwa gy’oli.+
Gwe wagezesa e Massa.+
Wawakana naye ku mazzi g’e Meriba,+
9 Omusajja eyagamba kitaawe ne nnyina nti, ‘Sibatwala ng’ekikulu.’
Era ne baganda be yabeesamba,+
N’abaana be teyabassaako mwoyo.
Kubanga yakwata ekigambo kyo,
Era yakuuma endagaano yo.+
11 Ai Yakuwa, wa omukisa amaanyi ge,
Era sanyukira emirimu gy’emikono gye.
Menyaamenya amagulu g’abalabe be,
Abo abamukyawa baleme kuddamu kusituka.”
12 Ate ku Benyamini yayogera nti:+
“Omwagalwa wa Yakuwa k’abeerenga mu mirembe w’ali,
Nga bw’amukuuma olunaku lwonna,
Anaabeeranga wakati w’ebibegaabega bye.”
13 Ate ku Yusufu yayogera nti:+
“Ensi ye Yakuwa agiwenga omukisa+
Ogw’ebirungi ebiva mu ggulu,
Ogw’omusulo n’ogw’amazzi agava mu nsulo wansi mu ttaka,+
14 N’ogw’ebintu ebirungi, enjuba by’esobozesa okukula,
N’ogw’ebikungulwa ebirungi buli mwezi,+
15 N’ogw’ebintu ebisingayo obulungi ebiva ku nsozi ez’edda,*+
N’ogw’ebintu ebirungi eby’oku busozi obw’olubeerera,
16 N’ogw’ebintu ebirungi eby’ensi n’obugagga bwayo bwonna,+
N’ogw’okusiimibwa oyo eyalabikira mu kisaka.+
Ka gibeere ku mutwe gwa Yusufu,
Waggulu ku mutwe gw’oyo eyayawulibwa ku baganda be.+
17 Ekitiibwa kye kiringa ekya sseddume embereberye,
Era amayembe ge galinga aga sseddume ey’omu nsiko.*
Aligakozesa okusindika* amawanga,
Amawanga gonna okutuuka ku nkomerero y’ensi.
Amayembe ago gye mitwalo n’emitwalo gya Efulayimu,+
Era ze nkumi n’enkumi za Manase.”
18 Ate ku Zebbulooni yayogera nti:+
“Sanyukira eŋŋendo zo ggwe Zebbulooni,
Naawe Isakaali sanyukira mu weema zo.+
19 Baliyita amawanga okugenda ku lusozi.
Baliweerayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu.
Balirya* obugagga obungi obw’omu nnyanja
N’eby’obugagga ebyakwekebwa eby’omu musenyu.”
20 Ate ku Gaadi yayogera nti:+
“Aweebwe omukisa oyo agaziya ensalo za Gaadi.+
Agalamira awo ng’empologoma,
Nga yeetegese okuyuzaako omukono n’omutwe.
Abakulu b’abantu banaakuŋŋaana wamu.
Anaatuukiriza obutuukirivu bwa Yakuwa,
N’ebiragiro bye wamu ne Isirayiri.”
22 Ate ku Ddaani yayogera nti:+
“Ddaani mwana gwa mpologoma.+
Anaabuuka okuva mu Basani.”+
23 Ate ku Nafutaali yayogera nti:+
“Nafutaali akkuse okusiimibwa kwa Yakuwa
Era ajjudde omukisa gwe.
Twala ensi y’ebugwanjuba n’ey’ebukiikaddyo.”
24 Ate ku Aseri yayogera nti:+
“Aseri aweereddwa abaana.
K’asiimibwenga baganda be,
Era annyikenga* ebigere bye mu mafuta.
26 Tewali alinga Katonda ow’amazima+ owa Yesuluni,+
Eyeebagala ku ggulu n’ajja okukuyamba,
Era eyeebagala ku bire mu kitiibwa kye.+
28 Isirayiri anaabeeranga mu mirembe,
Era oluzzi lwa Yakobo lunaabeeranga lwokka
Mu nsi ey’emmere ey’empeke n’omwenge omusu,+
Erina eggulu erinaatonnyesanga omusulo.+
29 Weesiimye ggwe Isirayiri!+