Yokaana
15 “Nze muzabbibu ogw’amazima; Kitange ye mulimi. 2 Aggyawo buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, era alongoosa eryo eribala ebibala lisobole okweyongera okubala.+ 3 Mmwe muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye.+ 4 Musigale nga muli bumu nange, era nange nja kusigala nga ndi bumu nammwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo okuggyako nga liri ku muzabbibu, nammwe temuyinza kubala bibala okuggyako nga musigadde nga muli bumu nange.+ 5 Nze muzabbibu; mmwe matabi. Oyo yenna asigala ng’ali bumu nange era nga nange ndi bumu naye, abala ebibala bingi;+ kubanga we siri temuyinza kukola kintu kyonna. 6 Omuntu yenna bw’atasigala ng’ali bumu nange, abeera ng’ettabi erisuulibwa ebweru ne likala. Era abantu bakuŋŋaanya amatabi ago ne bagasuula mu muliro ne gookebwa. 7 Bwe munaasigala nga muli bumu nange era ebigambo byange ne bisigala mu mmwe, mujja kusaba kyonna kye mwagala, era kijja kubaweebwa.+ 8 Kitange agulumizibwa bwe mweyongera okubala ebibala bingi era ne mulaga nti muli bayigirizwa bange.+ 9 Nga Kitange bw’anjagala+ nange bwe mbaagala; musigale mu kwagala kwange. 10 Bwe mukwata ebiragiro byange, mujja kusigala mu kwagala kwange, nga nze bwe nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe.
11 “Mbabuulidde ebintu bino, essanyu lyange lisobole okubeera mu mmwe era essanyu lyammwe libeere lijjuvu.+ 12 Kino kye kiragiro kye mbawa, nti mwagalanenga nga nange bwe mbaagadde.+ 13 Tewali alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.+ 14 Bwe mukwata bye mbalagira, muba mikwano gyange.+ 15 Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya mukama we ky’akola. Naye mbayise mikwano gyange kubanga mbategeezezza ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange. 16 Si mmwe mwannonda, wabula nze nnabalonda, musobole okubalanga ebibala era ebibala byammwe biremenga kuggwaawo, Kitange asobole okubawa buli kintu kye musaba mu linnya lyange.+
17 “Ebintu bino mbibalagira, musobole okuba nga mwagalana.+ 18 Ensi bw’ebakyawanga, mukimanye nti yasooka kukyawa nze nga tennakyawa mmwe.+ 19 Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo. Naye olw’okuba temuli ba nsi,+ era nga nnabalonda okuva mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.+ 20 Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti: Omuddu tasinga mukama we. Bwe baba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya;+ bwe baba nga bakutte ekigambo kyange, n’ekyammwe bajja kukikwata. 21 Naye bajja kubakola ebintu bino byonna olw’erinnya lyange, kubanga tebamanyi Oyo eyantuma.+ 22 Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na kibi.+ Naye kati tebalina kya kwekwasa.+ 23 Oyo ankyawa, aba akyaye ne Kitange.+ 24 Singa saakolera mu bo bikolwa omulala by’atakolangako, tebandibadde na kibi;+ naye bandaba ne bankyawa era ne bakyawa ne Kitange. 25 Naye kyali bwe kityo okusobola okutuukiriza ekyo ekyawandiikibwa mu Mateeka gaabwe nti: ‘Bankyawa awatali nsonga.’+ 26 Omuyambi gwe ndiweereza okuva eri Kitange bw’alijja, omwoyo ogw’amazima+ oguva eri Kitange, alimpaako obujulirwa;+ 27 era nammwe muli ba kumpaako obujulirwa+ kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.