Zabbuli ya Dawudi.
15 Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo?
Ani ayinza okubeera ku lusozi lwo olutukuvu?+
2 Y’oyo atambulira mu bugolokofu,+
Akola ebituufu,+
Era ayogera amazima mu mutima gwe.+
3 Takozesa lulimi lwe kuwaayiriza balala,+
Takola muntu munne kintu kibi,+
Era tayogera bubi ku mikwano gye.+
4 Yeewala omuntu yenna omubi,+
Naye abatya Yakuwa abawa ekitiibwa.
Atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kimukosa.+
5 Bw’awola ssente tasaba magoba,+
Era takkiriza kuweebwa nguzi okulumiriza omuntu atalina musango.+
Oyo akola ebyo taasagaasaganenga.+