Engero
21 Omutima gwa kabaka gulinga emikutu gy’amazzi mu mukono gwa Yakuwa.+
Aguzza buli gy’ayagala.+
3 Okukola ekituufu era eky’obwenkanya
Kisanyusa Yakuwa okusinga ssaddaaka.+
4 Amaaso ag’amalala n’omutima ogwekulumbaza
—Ye ttaala emulisa ababi, era ebyo byonna kwonoona.+
7 Ababi ebikolwa byabwe eby’obukambwe biribasaanyaawo,+
Kubanga tebaagala kukola bya bwenkanya.
8 Ekkubo ly’omuntu aliko omusango si ttereevu,
Naye ebikolwa by’omulongoofu biba birungi.+
11 Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina bumanyirivu yeeyongera okuba ow’amagezi,
12 Katonda omutuukirivu yeetegereza ennyumba y’omubi;
Afufuggaza ababi ne bazikirira.+
14 Ekirabo ekigabibwa mu kyama kikkakkanya obusungu,+
N’enguzi eweebwa mu nkukutu* ekkakkanya ekiruyi.
15 Kya ssanyu omutuukirivu okukola eby’obwenkanya,+
Naye emitawaana girindiridde abo abakola ebibi.
16 Omuntu awaba okuva mu kkubo ery’amagezi
Ajja kwegatta ku abo abaafa.+
17 Omuntu ayagala eby’amasanyu ajja kwavuwala;+
N’oyo ayagala ennyo omwenge n’amafuta tajja kugaggawala.
20 Ebintu eby’omuwendo omungi n’amafuta biba mu nnyumba z’abo abalina amagezi,+
21 Buli afuba okunoonya obutuukirivu n’okwagala okutajjulukuka
Ajja kufuna obulamu, obutuukirivu, n’ekitiibwa.+
22 Omuntu ow’amagezi asobola okulinnya bbugwe w’ekibuga* eky’ab’amaanyi,
N’amenya ekigo kyabwe kye beesiga.+
23 Omuntu afuga akamwa ke n’olulimi lwe
Yeewala emitawaana.+
24 Omuntu eyeetulinkiriza era eyeewaana
Ayitibwa mwetulinkirize.+
25 Omugayaavu kye yeegomba kijja kumutta,
Kubanga tayagala kukola.+
26 Olunaku lwonna asiiba yeegomba,
Naye ye omutuukirivu agaba era takodowala.+
27 Ssaddaaka z’ababi za muzizo.+
Naye ate kiba kitya bwe ziweebwayo n’ekigendererwa ekibi!*
28 Awa obujulizi obw’obulimba ajja kuzikirira,+
Naye omuntu awuliriza n’obwegendereza ajja kuwa obujulizi obukkirizibwa.*
30 Tewayinza kubaawo magezi, kutegeera, wadde okuteesa mu kuwakanya Yakuwa.+